2 Ebyomumirembe 10:1-19 LGCB2014 - Bible AI

1 Lekobowaamu nʼagenda e Sekemu, Abayisirayiri bonna gye baali bagenze okumufuula kabaka.

2Yerobowaamu mutabani wa Nebati bwe yakiwulira, kubanga yali mu Misiri gye yali addukidde mu buwaŋŋanguse, nga yeewala kabaka Sulemaani, nʼakomawo.

3Awo ne bamutumira, Yerobowaamu ne Isirayiri yenna ne bagenda eri Lekobowaamu ne bamugamba nti,

4“Kitaawo yatuteekako ekikoligo ekinene, naye kaakano tukendeereze ku lyanyi nʼekikoligo kye yatuteekako, naffe tunaakuweereza.”

5Nʼabaddamu nti, “Mulikomawo gye ndi mu nnaku ssatu.” Abantu ne bagenda.

6 Awo kabaka Lekobowaamu ne yeebuuza ku bakadde abaaweerezanga kitaawe Sulemaani ngʼakyali mulamu. Nʼababuuza nti, “Mumpa kya kuddamu ki eri abantu bano?”

7 Ne bamugamba nti, “Bwʼonooba owʼekisa eri abantu bano, nʼobasanyusa, nʼobaddamu bulungi, banaabeeranga baddu bo ennaku zonna.”

8Naye Lekobowaamu nʼaggaya amagezi abakadde ge baali bamuwadde, nʼagenda ne yeebuuza ku bavubuka be yali akuze nabo, ate nga be bamuweereza mu kiseera ekyo.

9Nʼababuuza nti, “Mumpa magezi ki okuddamu abantu bano abaŋŋambye nti, ‘Tukendeereze ku kikoligo kitaawo kye yatuteekako?’ ”

10Abavubuka be yali akuze nabo ne bamuddamu nti, “Gamba abantu abakugambye nti, ‘Ekikoligo kitaawo kye yatuteekako kyali kizito, naye kaakano kitukendeerezeko,’ nti, ‘Nasswi wange asinga ekiwato kya kitange obunene. Kitange yababinika ekikoligo ekizito, naye nze nzija kwongera ku kikoligo kyammwe obuzito.

11Kitange yabakangavvulanga na nkoba naye nze nzija kubakangavvulanga na njaba ezʼobusagwa.’ ”

12Bwe waayitawo ennaku essatu Yerobowaamu nʼabantu bonna ne bagenda eri Lekobowaamu, nga kabaka bwe yali ayogedde nti, “Mukomeewo oluvannyuma lwe nnaku ssatu.”

13Kabaka nʼaddamu nʼebboggo. Nʼagaana okuwuliriza amagezi gʼabakadde,

14nʼagoberera amagezi agʼabavubuka, nʼayogera nti, “Kitange yababinika ekikoligo ekizito, naye nze nzija kukyongerako obuzito. Kitange yabakangavvulanga na nkoba, naye nze nzija kubakangavvulanga na njaba ezʼobusagwa.”

15Kabaka nʼatawuliriza bantu kubanga bwʼatyo Katonda bwe yasiima, okutuukiriza ekigambo Mukama kye yayogera ku Yerobowaamu mutabani wa Nebati ngʼayita mu Akiya Omusiiro.

16Awo Isirayiri yenna bwe baalaba nga kabaka agaanye okubawuliriza, ne bamuddamu nti, “Mugabo ki gwe tulina mu Dawudi, era busika ki bwe tulina mu mutabani wa Yese? Buli omu ku mmwe, addeyo mu weema ye, ayi Isirayiri! Mmwe ennyumba ye Dawudi mwerabirire.” Awo Abayisirayiri bonna ne baddayo ewaabwe.

17Naye abo abaabeeranga mu bibuga bya Yuda, Lekobowaamu nʼasigala ngʼabafuga.

18Kabaka Lekobowaamu nʼatuma Kadolaamu eyavunaanyizibwanga emirimu egyʼekipakasi, naye Abayisirayiri ne bamukuba amayinja ne bamutta. Kabaka Lekobowaamu ye nʼayanguwa okulinnya eggaali lye nʼaddukira e Yerusaalemi.

19 Awo Isirayiri ne bajeemera ennyumba ya Dawudi nʼokutuusa leero.

cle>