2 Ebyomumirembe 11:1-23 LGCB2014 - Bible AI

1 Awo Lekobowaamu bwe yatuuka mu Yerusaalemi, nʼakuŋŋaanya ennyumba ya Yuda nʼeya Benyamini, bonna nga bawera abasajja abalwanyi emitwalo kkumi na munaana, bagende balwanyise Isirayiri, obwakabaka babuddize Lekobowaamu.

2Naye ekigambo kya Mukama ne kijjira Semaaya omusajja wa Katonda nti,

3“Gamba Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani kabaka wa Yuda, nʼAbayisirayiri bonna abali mu Yuda ne Benyamini nti,

4Bwʼati bwʼayogera Mukama, ‘Temulumba baganda bammwe. Buli omu ku mmwe addeyo ewuwe, kubanga kino kivudde gye ndi.’” Awo ne bagondera ekigambo kya Mukama, ne baddayo, ne batagenda kulumba Yerobowaamu.

5Lekobowaamu nʼabeera mu Yerusaalemi, nʼazimba ebibuga ebyʼokwerinda mu Yuda:

6nʼazimba Besirekemu, ne Etamu, ne Tekowa,

7ne Besuzuli, ne Soko, ne Adulamu,

8ne Gaasi, ne Malesa, ne Zifu,

9ne Adorayimu, ne Lakisi, ne Azeka,

10ne Zola, ne Ayalooni, ne Kebbulooni nga byʼebibuga ebiriko bbugwe ebyali mu Yuda ne Benyamini.

11Nʼanyweza bbugwe waabyo, nʼateekayo abaduumizi, nʼemmere eyʼokwerinzisa nʼamafuta agʼomuzeeyituuni ne wayini.

12Nʼateekayo engabo nʼamafumu mu bibuga byonna, nʼabinywereza ddala, Yuda ne Benyamini ne biba bibye.

13Bakabona nʼAbaleevi okuva mu Isirayiri yonna ne bakkiriziganya naye.

14Abaleevi ne bava mu butaka bwabwe ne baleka nʼebyʼobugagga bwabwe ne bajja mu Yuda ne Yerusaalemi, kubanga Yerobowaamu ne batabani be babagobaganya era ne babagaana okuweereza Mukama mu bwakabaka bwabwe,

15 nga balonda bakabona abaabwe okuweerezanga ku bifo ebigulumivu, ne bakatonda baabwe abʼebifaananyi ebyʼembuzi nʼente, bye yali abumbye.

16Nʼabo bonna abaali beewaddeyo mu mitima gyabwe okunoonya Mukama Katonda wa Isirayiri ne bagenda nʼAbaleevi e Yerusaalemi okuwaayo ssaddaaka eri Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.

17Ne banyweza obwakabaka bwa Yuda, era ne bawagira Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani okumala emyaka esatu, nga batambulira mu kkubo lya Dawudi ne Sulemaani.

18 Lekobowaamu nʼawasa Makalasi muwala wa Yerimosi mutabani wa Dawudi, ne Abikayiri muwala wa Eriyaabu mutabani wa Yese,

19Makalasi nʼazaalira Lekobowaamu abaana aboobulenzi: Yewusi, ne Semaliya ne Zakamu.

20Oluvannyuma Lekobowaamu nʼawasa Maaka muwala wa Abusaalomu, nʼamuzaalira Abiya, ne Attayi, ne Ziza ne Seromisi.

21Lekobowaamu nʼayagala nnyo Maaka muwala wa Abusaalomu okusinga bakazi be abalala. Bonna awamu nʼawasa abakazi kkumi na munaana nʼafunayo nʼabalala nkaaga, abaamuzaalira abaana aboobulenzi amakumi abiri mu munaana nʼabaana aboobuwala nkaaga.

22Lekobowaamu nʼalonda Abiya mutabani wa Maaka okuba omukulu wa baganda be, ngʼagenderera okumufuula kabaka.

23Nʼakola ekyʼamagezi, nʼasaasaanya batabani be abamu mu masaza agʼenjawulo aga Yuda ne Benyamini, ne mu bibuga byonna ebyaliko bbugwe, nʼabawa ebyʼobugagga bingi, nʼabafunira nʼabakazi bangi.

cle>