2 Ebyomumirembe 12:1-16 LGCB2014 - Bible AI

1 Awo Lekobowaamu bwe yanywera ku bwakabaka, nʼaba mugumu, ye ne Isirayiri yonna ne bava ku mateeka ga Mukama.

2 Mu mwaka ogwokutaano ogwʼobufuzi bwa kabaka Lekobowaamu, Sisaki kabaka wʼe Misiri nʼalumba Yerusaalemi kubanga tebaali beesigwa eri Mukama.

3Nʼajja nʼamagaali lukumi mu bibiri, nʼabeebagala embalaasi emitwalo mukaaga, ate nʼabaserikale abʼebigere bangi nnyo: Abalubimu, nʼAbasukkiyimu, nʼAbaesiyopiya okuva e Misiri.

4Nʼawamba ebibuga ebiriko bbugwe ebya Yuda nʼatuuka nʼe Yerusaalemi.

5Awo Semaaya nnabbi nʼagenda eri Lekobowaamu nʼeri abakulembeze ba Yuda abaali bakuŋŋaanidde mu Yerusaalemi olwʼokutya Sisaki, nʼabagamba nti, “Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, ‘Mwanvaako, nange kyenvudde mbawaayo mu mukono gwa Sisaki.’ ”

6Awo abakulembeze ba Isirayiri, nga bali wamu ne kabaka ne beetoowaza ne boogera nti, “Mukama asala bulungi emisango.”

7 Awo Mukama bwe yalaba okwetoowaza kwabwe, ekigambo kya Mukama ne kijjira Semaaya nti, “Beetoowazizza noolwekyo siribazikiriza. Ndibalokola, era nʼobusungu bwange tebulifukibwa ku Yerusaalemi nga buyita mu mukono gwa Sisaki.

8Wabula baliba baddu be, balyoke bategeere enjawulo eriwo wakati wʼokumpeereza nʼokuweereza bakabaka baamawanga amalala.”

9 Awo Sisaki kabaka wʼe Misiri nʼalumba Yerusaalemi nʼatwala obugagga obwʼomu yeekaalu ya Mukama, nʼobugagga obwʼomu lubiri lwa kabaka, nʼatwala buli kintu kyonna, era nʼatwala nʼengabo eza zaabu Sulemaani ze yali akoze.

10 Awo kabaka Lekobowaamu nʼakola engabo ezʼekikomo okudda mu kifo kyaziri eza zaabu, nʼazikwasa abaduumizi bʼabambowa abaakuumanga wankaaki owʼolubiri lwa kabaka.

11Buli kabaka bwe yalaganga mu yeekaalu ya Mukama, abakuumi baazeetikkanga nga bamuwerekera, nʼoluvannyuma ne bazizaayo mu kisenge kyʼabakuumi.

12Lekobowaamu bwe yeetoowaza, Mukama nʼalekeraawo okumusunguwalira nʼatasaanyizibwawo ddala, ne mu Yuda ne mubaamu emirembe.

13 Kabaka Lekobowaamu ne yeenyweza mu Yerusaalemi, nʼafuga nga ye kabaka. Yalina emyaka amakumi ana mu gumu we yafuukira kabaka, era nʼafugira emyaka kkumi na musanvu mu Yerusaalemi, ekibuga Mukama kye yalonda mu bika byonna ebya Isirayiri nʼateekamu Erinnya lye. Nnyina erinnya lye ye yali Naama Omwamoni.

14Lekobowaamu nʼakola ebibi, nʼatamalirira kunoonya Mukama mu mutima gwe.

15Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Lekobowaamu okuva ku ntandikwa ye okutuusa ku nkomerero ye, tebyawandiikibwa mu byafaayo bya Semaaya nnabbi nʼebya Iddo omulabi? Ne wabangawo entalo wakati wa Lekobowaamu ne Yerobowaamu.

16Awo Lekobowaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, nʼaziikibwa mu kibuga kya Dawudi, Abiya mutabani we nʼamusikira.

cle>