2 Ebyomumirembe 13:1-22 LGCB2014 - Bible AI

1 Awo mu mwaka ogwʼekkumi nʼomunaana ogwʼobufuzi bwa Yerobowaamu, Abiya nʼafuuka kabaka wa Yuda,

2 era nʼafugira mu Yerusaalemi emyaka esatu. Erinnya lya nnyina yali Mikaaya muwala wa Wiyeeri owʼe Gibea.

3Ne waba olutalo wakati wa Abiya ne Yerobowaamu. Abiya nʼagenda mu lutalo ngʼalina eggye lya basajja emitwalo amakumi ana, ate Yerobowaamu ngʼalina abasajja emitwalo kinaana.

4Awo Abiya nʼayimirira ku Lusozi Zemalayimu mu nsi eyʼensozi eya Efulayimu, nʼayogera nti, “Yerobowaamu ne Isirayiri yenna, mumpulirize!

5 Temumanyi nga Mukama Katonda wa Isirayiri, yagabula obwakabaka bwa Isirayiri eri Dawudi ne zadde lye emirembe gyonna olwʼendagaano eyʼomunnyo?

6 Naye Yerobowaamu mutabani wa Nebati, omuddu wa Sulemaani mutabani wa Dawudi, nʼamugolokokerako nʼamujeemera.

7Era waaliwo abasajja abalalulalu abamu abeegatta ku Yerobowaamu ne bajeemera Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani bwe yali omuto, nga talina kyayinza kusalawo, nga nʼamaanyi agʼokubaziyiza tagalina.

8 “Kaakano mulowooza nti muyinza okwaŋŋanga obwakabaka bwa Mukama obuli mu mikono gyʼabazzukulu ba Dawudi, kubanga muli ekibiina kinene, abalina nʼennyana eza zaabu Yerobowaamu ze yabakolera okuba bakatonda bammwe abalala?

9Mwagoba bakabona ba Mukama, batabani ba Alooni, nʼAbaleevi, ne mussaawo bakabona abammwe ngʼamawanga agʼomu nsi endala bwe gakola. Buli aleeta ente ennume ento nʼendiga ennume musanvu ayinza okwewaayo okufuuka kabona wa bakatonda abalala.

10“Naye ffe, Mukama ye Katonda waffe, era tetumuvangako. Bakabona abaweereza Mukama, batabani ba Alooni, era bayambibwako Abaleevi.

11Buli nkya na buli kawungeezi bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa nʼobubaane obwakawoowo eri Mukama, ne bategeka nʼemigaati egyʼokulaga ku mmeeza eya zaabu omwereere, ne bakoleeza nʼettaala eziri ku bikondo ebya zaabu buli kawungeezi. Tugondera Mukama Katonda waffe nga tukola bye yatukuutira, naye mmwe mwamuvaako.

12Laba, Katonda ali naffe, era ye mukulembeze waffe, era ne bakabona be banaafuuwa amakondeere mu maloboozi agʼolutalo, okuggulawo okulwana nammwe. Abasajja Abayisirayiri temulwanyisa Mukama, Katonda wʼabajjajjammwe, temujja kuwangula.”

13Naye mu kiseera kye kimu Yerobowaamu yali asindise abaserikale be okutaayiza emabega ne mu maaso ga Yuda.

14Laba Yuda bwe baakyuka ne balaba nga balumbiddwa okuva mu maaso nʼemabega, ne bakaabira Mukama, ne bakabona ne bafuuwa amakondeere.

15Awo abasajja ba Yuda olwa wowogganira waggulu nʼeddoboozi eryʼolutalo, Katonda nʼawangula Yerobowaamu ne Isirayiri yenna mu maaso ga Abiya ne Yuda.

16Abayisirayiri ne badduka okuva mu maaso ga Yuda, naye Mukama nʼabawaayo mu mukono gwa Yuda.

17Abiya nʼabasajja be ne batta bangi nnyo ku Bayisirayiri, ne waba emitwalo amakumi ataano ku abo abaafa.

18Mu kiseera ekyo abasajja Abayisirayiri ne bawangulwa; abasajja ba Yuda ne baba bawanguzi kubanga beesiga Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe.

19Abiya nʼagoba Yerobowaamu, nʼamutwalako Beseri, ne Yesana, ne Efulooni wamu nʼebyalo ebiriraanye ebibuga ebyo.

20 Yerobowaamu nʼataddamu nate kuba na buyinza mu mirembe gya Abiya, Mukama nʼalwaza Yerobowaamu nʼafa.

21Awo Abiya nʼaba wʼamaanyi nʼawasa abakazi kkumi na bana, nʼabeera nʼabaana aboobulenzi amakumi abiri mu babiri nʼabaana aboobuwala kkumi na mukaaga.

22Ebyafaayo ebirala ebyomumirembe gya Abiya, ne bye yakola ne bye yayogera, byawandiikibwa mu ngero za nnabbi Iddo.

cle>