2 Ebyomumirembe 14:1-15 LGCB2014 - Bible AI

1 Abiya ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe nʼaziikibwa mu kibuga kya Dawudi. Asa mutabani we nʼamusikira, era ku mulembe gwe ensi nʼeba nʼemirembe okumala emyaka kkumi.

2Asa nʼakola ebyali ebirungi nga bituufu mu maaso ga Mukama Katonda we.

3 Nʼaggyawo ebyoto ebyʼabannamawanga nʼebifo ebigulumivu, era nʼamenyaamenya empagi, nʼebifaananyi bya Asera nʼabitemaatema.

4Nʼalagira Yuda okunoonya Mukama Katonda wa bajjajjaabe, era nʼokukuuma amateeka ge nʼebiragiro bye.

5Era nʼaggyawo ebifo ebigulumivu nʼebyoto ebyʼobubaane mu bibuga byonna ebya Yuda, nʼobwakabaka ne buba nʼemirembe mu bufuzi bwe.

6Nʼazimba ebibuga ebiriko bbugwe mu Yuda, era ne wataba nʼomu eyayaŋŋanga okulwana naye, kubanga Mukama yamuwa okuwummula ku njuyi zonna.

7Nʼagamba Yuda nti, “Tuzimbe ebibuga bino, tubiteekeko bbugwe, ne wankaaki nʼemitayimbwa. Ensi ekyali yaffe, kubanga tunoonyezza Mukama Katonda waffe; tumunoonyezza, nʼatuwa emirembe ku buli luuyi.” Ne bazimba era ne bagaggawala.

8Asa yalina eggye nga lya basajja emitwalo amakumi asatu okuva mu Yuda, ngʼabalina engabo ennene nʼamafumu, nʼabalala emitwalo amakumi abiri mu munaana abaava mu Benyamini ngʼabalina engabo entono nʼobusaale, era bonna nga basajja bazira.

9Olunaku lumu, Zeera Omwesiyopya nʼabalumba ngʼalina eggye lyʼabasajja akakadde kamu, nʼamagaali ebikumi bisatu, nʼatuuka nʼe Malesa.

10Asa nʼagenda okumutabaala, buli omu ku bo nʼasimba ennyiriri ezʼentalo mu kiwonvu Zefasa e Malesa.

11Awo Asa nʼakoowoola Mukama Katonda we ngʼagamba nti, “Mukama, tewali akwenkana mu kuyamba abanafu, nga balumbiddwa abʼamaanyi. Tuyambe Ayi Mukama Katonda waffe, kubanga twesize ggwe, era mu linnya lyo tuzze okutabaala eggye lino eddene. Ayi Mukama, oli Katonda waffe, toganya muntu yenna okutuwangula.”

12Awo Mukama nʼakubira Abaesiyopiya mu maaso ga Asa ne mu maaso ga Yuda, Abaesiyopiya ne badduka.

13Asa nʼeggye lye ne babagoba okutuuka e Gerali, era bangi ku Baesiyopya ne bagwa, ne wataba nʼomu ku bo alama, kubanga eggye lya Mukama lyabazikiriza. Abasajja aba Yuda ne beetikka omunyago mungi.

14Ne bazikiriza ebibuga byonna ebyali byetoolodde Gerali, kubanga entiisa ya Mukama yabagwira. Ne banyaga ebyalo byonna, kubanga byalimu omunyago mungi.

15Ne balumba nʼebibinja byʼabalaalo, ne batwala ente, nʼendiga, nʼembuzi, nʼeŋŋamira nnyingi nnyo, ne balyoka baddayo e Yerusaalemi.

cle>