2 Ebyomumirembe 15:1-19 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Omwoyo wa Katonda nʼakka ku Azaliya mutabani wa Obedi,

2nʼagenda nʼasisinkana Asa nʼamugamba nti, “Mumpulirize, mmwe Asa, ne Yuda ne Benyamini mwenna, Mukama ali nammwe bwe muba mu ye. Bwe munaamunoonyanga, munaamulabanga, naye bwe munaamulekuliranga naye anaabalekuliranga.

3 Isirayiri yamala ebbanga ddene nga tegondera Katonda owʼamazima, nga tebalina kabona abayigiriza, wadde okuba nʼamateeka.

4Naye wakati mu nnaku yaabwe ne bakyukira Mukama Katonda wa Isirayiri, ne bamunoonya, era ne bamulaba.

5Mu biro ebyo tewaali mirembe abantu okutambula nga bwe baayagalanga, kubanga baali mu kweraliikirira kungi nnyo.

6 Amawanga nʼamawanga gaalwanagananga, nʼebibuga ne birumbagananga kubanga Katonda yabaleetako ebizibu bingi nnyo.

7Naye mmwe mugume omwoyo! Temuganya mikono gyammwe kunafuwa kubanga omulimu gwammwe guliko empeera.”

8Awo Asa bwe yawulira ebigambo ebyo, nʼebyobunnabbi bwa Azaliya mutabani wa Obedi, nʼaguma omwoyo, nʼaggyawo ebifaananyi ebyole okuva mu nsi yonna eya Yuda ne Benyamini, nʼokuva mu bibuga bye yali awambye mu nsi eyʼensozi eya Efulayimu. Nʼaddaabiriza ekyoto kya Mukama ekyali mu maaso gʼekisasi ekya yeekaalu ya Mukama.

9Nʼakuŋŋaanya aba Yuda nʼaba Benyamini bonna, nʼabantu bʼe Efulayimu, nʼe Manase, nʼe Simyoni abaabeeranga nabo, kubanga bangi basenga gyali okuva mu Isirayiri bwe baalaba nga Mukama Katonda ali wamu naye.

10Ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemi mu mwezi ogwokusatu mu mwaka ogwʼekkumi nʼettaano ogwʼobufuzi bwa Asa.

11Ku lunaku olwo ne bawaayo eri Mukama ebimu ku byʼomunyago: ente lusanvu, nʼendiga nʼembuzi zonna kasanvu.

12 Ne beeyama okunoonyanga Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe, nʼomutima gwabwe gwonna, nʼemmeeme yaabwe yonna.

13Era abo bonna abatanoonyanga Mukama, Katonda wa Isirayiri battibwanga, oba bato oba bakulu, oba bakazi oba basajja.

14Ne balayirira Mukama mu ddoboozi eryʼomwanguka, wamu nʼokufuuwa amakondeere nʼeŋŋombe.

15Yuda yonna ne basanyukira ekirayiro ekyo, kubanga baali balayidde nʼomutima gwabwe gwonna, era nga bamunoonyezza nʼokwagala kwabwe kwonna, ne bamulaba. Era Mukama nʼabawa emirembe enjuuyi zonna.

16 Kabaka Asa nʼagoba jjajjaawe Maaka ku bwannamasole kubanga yali akoze ekifaananyi ekyole ekya Asera. Asa nʼakitemaatema nʼakimenyaamenya, nʼakyokera mu kagga Kidulooni.

17 Newaakubadde nga teyaggyawo bifo ebigulumivu mu Isirayiri, Asa yamalirira mu mutima gwe okunywerera ku Mukama ennaku ze zonna.

18Mu yeekaalu ya Mukama nʼaleetamu effeeza ne zaabu, nʼebintu ye ne kitaawe bye baawonga.

19Ne wataba ntalo nate okumala emyaka amakumi asatu mu etaano egyʼobufuzi bwa Asa.

cle>