1
2Awo Asa nʼaddira ffeeza ne zaabu ebyali mu mawanika ga yeekaalu ya Mukama, nʼebyali mu lubiri lwa kabaka, nʼabiweereza Benikadadi kabaka wʼe Busuuli, eyabeeranga e Ddamasiko, nʼaweereza nʼobubaka nti,
3“Wabeerewo endagaano wakati wo nange, ngʼeri eyaliwo wakati wa kitange ne kitaawo. Laba, nkuweerezza ffeeza ne zaabu omenyewo endagaano yo wakati wo ne Baasa kabaka wa Isirayiri, anveeko.”
4Benikadadi nʼakkiriziganya ne kabaka Asa, era nʼaweereza abaduumizi bʼeggye lye okulumba ebibuga bya Isirayiri; ne bawamba Yiyoni, ne Ddaani ne Aberumayimu, nʼebibuga byonna ebyʼamaterekero ebya Nafutaali.
5Awo Baasa bwe yawulira ekyo, nʼalekeraawo okuzimba mu Laama, nʼomulimu nʼagukomya.
6Kabaka Asa nʼaleeta Yuda yenna e Laama, ne baggyayo amayinja nʼembaawo Baasa bye yali azimbisa, Asa nʼabikozesa okuzimba Geba ne Mizupa.
7Mu biro ebyo Kanani omulabi nʼajja eri Asa kabaka wa Yuda, nʼamugamba nti, “Olwʼokwesiga kabaka wʼe Busuuli mu kifo kyʼokwesiga Mukama Katonda wo, eggye lya kabaka wʼe Bwasuli kye livudde likuddukako.
8Abaesiyopiya nʼAbalubimu tebaali ggye ddene nga balina amagaali mangi nʼabeebagala embalaasi bangi? Naye, olwokubanga weesiga Mukama, kyeyava abagabula mu mukono gwo.
9
10
11
12Mu mwaka ogwʼamakumi asatu mu mwenda ogwʼobufuzi bwe, Asa nʼalwala ebigere. Newaakubadde ngʼobulwadde bweyongera, teyanoonyanga buyambi okuva eri Mukama, yabunoonyanga mu basawo bokka.
13
14Nʼaziikibwa mu ntaana gye yali yeezimbidde mu kibuga kya Dawudi. Ne bamuteeka ku kitanda ekyaliko obuloosa obwenjawulo nʼobuwoowo obwa buli kika, ne bamukumira nʼekyoto kyʼomuliro kinene nnyo okujjukira bye yakola.