2 Ebyomumirembe 17:1-19 LGCB2014 - Bible AI

1 Yekosafaati mutabani wa Asa nʼasikira Asa bwʼatyo nʼafuuka kabaka, nʼokwenyweza ne yeenyweza eri Isirayiri.

2Nʼateeka abaserikale mu bibuga ebiriko bbugwe ebya Yuda, nʼateeka nʼeggye mu Yuda, ne mu bibuga ebya Efulayimu, kitaawe Asa bye yali awambye.

3Mukama nʼabeera wamu ne Yekosafaati kubanga mu buto bwe yatambuliranga mu makubo ga jjajjaawe Dawudi ge yatambulirangamu. Teyeebuuza ku Babaali,

4naye yanoonya Katonda wa kitaawe, era nʼagoberera amateeka ge okusinga engeri za Isirayiri.

5 Mukama nʼanyweza obwakabaka mu mukono gwe, era Yuda yenna ne baleetera Yekosafaati ebirabo, nʼaba nʼobugagga bungi nʼekitiibwa kinene.

6 Omutima gwe ne gunywerera mu kkubo lya Mukama, nʼokuggyawo nʼaggyawo ebifo ebigulumivu nʼebifaananyi bya Baasera mu Yuda.

7Mu mwaka ogwokusatu ogwʼobufuzi bwe, nʼatuma abakungu be bano: Benikayiri, ne Obadiya, ne Zekkaliya, ne Nesaneeri, ne Mikaaya okugenda nga bayigiriza mu bibuga bya Yuda.

8Ne wabaawo nʼAbaleevi abagenda nabo: Semaaya, ne Nesaniya, ne Zebadiya, ne Asakeri, ne Semiramoosi, ne Yekonasaani, ne Adoniya, ne Tobbiya, ne Tobadoniya, wamu ne Erisaama ne Yekolaamu.

9 Ne bayigiriza mu Yuda yonna, nga bakozesa Ekitabo ekya Mateeka ga Mukama; ne babuna mu bibuga byonna ebya Yuda ne bayigiriza abantu.

10Awo entiisa ya Mukama nʼegwa ku bwakabaka obwʼamawanga agaali geetoolodde Yuda, ne batakola ntalo na Yekosafaati.

11Abamu ku Bafirisuuti ne baleetera Yekosafaati ebirabo, ne ffeeza ngʼomusolo, ate Abawalabu ne bamuleetera ebisibo ebyʼendiga ennume kasanvu mu lusanvu, nʼembuzi kasanvu mu lusanvu.

12Yekosafaati ne yeeyongeranga amaanyi, nʼazimba ebigo nʼebibuga ebyʼamaterekero mu Yuda,

13nʼabeera nʼebyamaguzi bingi ddala mu bibuga bya Yuda. Yalina nʼabaserikale abatendeke mu Yerusaalemi nga bazira.

14Okubalibwa ngʼenju za bakitaabwe bwe zaali kwali bwe kuti; Aduna omuduumizi owʼabasajja abalwanyi emitwalo amakumi asatu (300,000),

14Okuva mu Yuda, abaduumizi abʼebibinja ebyʼolukumi (1,000) baali:

15nʼeyamuddiriranga yali Yekokanani omuduumizi owʼabasajja emitwalo amakumi abiri mu munaana (280,000);

15

16 nʼeyamuddiriranga yali Amasiya mutabani wa Zikuli, eyeewaayo obwebange okuweerezanga Mukama, omuduumizi owʼabasajja emitwalo amakumi abiri (200,000).

16

17Okuva mu Benyamini:

17Eriyada, omuserikale omuzira, eyaduumiranga abasajja abʼobusaale nʼengabo emitwalo amakumi abiri (200,000),

18nʼeyamuddiriranga ye yali Yekozabadi eyaduumiranga abasajja emitwalo kkumi na munaana abaali beeteeseteese okulwana (180,000).

19Abo be basajja abaaweerezanga kabaka, obutassaako abo abaali mu bibuga ebyaliko bbugwe nʼebigo okubuna Yuda yonna.

cle>