2 Ebyomumirembe 18:1-34 LGCB2014 - Bible AI

1 Yekosafaati yali mugagga nnyo era nga wa kitiibwa kinene nnyo, ate nga mukoddomi wa Akabu.

2 Bwe waayitawo emyaka, nʼaserengeta okugenda okulaba ku Akabu e Samaliya. Akabu nʼamuteekerateekera ekijjulo ekyʼamaanyi nʼamuttira endiga nnyingi nʼente nnyingi, ye nʼabantu be yagenda nabo, era nʼamusendasenda okulumba Lamosugireyaadi.

3Akabu kabaka wa Isirayiri nʼabuuza Yekosafaati kabaka wa Yuda nti, “Onoogenda nange okulumba Lamosugireyaadi?” Yekosafaati nʼaddamu nti, “Kyʼoli kye ndi, era nʼabantu bo be bantu bange, tujja kukwegattako mu lutalo.”

4Naye Yekosafaati nʼalabula kabaka wa Isirayiri nti, “Sooka weebuuze ku Mukama.”

5Awo kabaka wa Isirayiri nʼakuŋŋaanya bannabbi bonna awamu; baali abasajja ebikumi bina, nʼababuuza nti, “Tugende tulumbe Lamosugireyaadi nantiki tulekeyo?” Ne bamuddamu nti, “Tugende, kubanga Mukama anaakigabula mu mukono gwa kabaka.”

6 Naye Yekosafaati nʼabuuza nti, “Tewaliwo wano nnabbi wa Mukama gwe tuyinza okwebuuzaako?”

7Awo kabaka wa Isirayiri nʼaddamu Yekosafaati nti, “Waliyo omusajja omulala gwe tuyinza okwebuuzaako ku Mukama, ye Mikaaya mutabani wa Imula, naye namukyawa kubanga tandagulako birungi, wabula ebibi ebyereere.” Yekosafaati nʼayogera nti, “Kabaka teyandiyogedde bwʼatyo.”

8Kabaka wa Isirayiri nʼalyoka alagira omu ku bakungu be nti, “Kima Mikaaya mutabani wa Imula ku bwangu.”

9Awo kabaka wa Isirayiri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne batuula ku ntebe zaabwe ezʼobwakabaka mu gguuliro ku mulyango gwa wankaaki wʼe Samaliya, nga bambadde ebyambalo byabwe, nga ne bannabbi bonna balagulira mu maaso gaabwe.

10 Zeddekiya mutabani wa Kenaana yali yeeweesereza amayembe agʼekyuma, nʼayogera nti, “Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, ‘Abasuuli balitomerwa na gano okutuusa lwe balimalibwawo.’ ”

11Era ne bannabbi abalala bonna baalagulanga kye kimu nti, “Yambuka olumbe Lamosugireyaadi onoowangula kubanga Mukama anaakiwaayo mu mukono gwa kabaka.”

12Awo omubaka eyali agenze okuyita Mikaaya, nʼamugamba nti, “Laba, ebigambo ebya bannabbi bali abalala byogera kyekimu, kale naawe ba bumu nabo.”

13 Naye Mikaaya nʼayogera nti, “Nga Mukama bwʼali omulamu Katonda kyʼanaŋŋamba ekyo kye nnaayogera.”

14Awo bwe yatuuka ewa kabaka, kabaka nʼamubuuza nti, “Mikaaya tulumbe Lamosugireyaadi, oba tulekeyo?” Nʼamuddamu nti, “Mugende mukirumbe, munaakiwangula, kubanga banaaweebwayo mu mukono gwo.”

15Naye kabaka nʼamugamba nti, “Nnaakulayizanga emirundi emeka, obutannimbanga wabula okuntegeezanga amazima mu linnya lya Mukama?”

16Awo Mikaaya nʼaddamu nti, “Nalaba Isirayiri yenna, nga basaasaanye ku nsozi ngʼendiga ezitalina musumba, Mukama nʼayogera nti, ‘Abantu bano tebalina abakulembera, buli omu addeyo ewaabwe mirembe.’ ”

17Kabaka wa Isirayiri nʼagamba Yekosafaati nti, “Sakugambye nti talina kirungi kya ndagulako, okuggyako ebibi?”

18 Mikaaya nʼayongerako na bino nti, “Noolwekyo muwulire ekigambo kya Mukama: Nalaba Mukama ngʼatudde ku ntebe ye eyʼobwakabaka nʼeggye lyonna eryʼomu ggulu nga liyimiridde okumwetooloola ku mukono gwe ogwa kkono.

19Awo Mukama nʼabuuza nti, ‘Ani anasendasenda Akabu kabaka wa Isirayiri okulumba Lamosugireyaadi nʼoluvannyuma afiire eyo?’

19“Omu ku bo nʼateesa kino, nʼomulala kiri.

20 Ku nkomerero, omwoyo ogumu ne gusembera, ne guyimirira mu maaso ga Mukama ne gwogera nti, ‘Nze nzija kumusendasenda.’

20“Mukama nʼagubuuza nti, ‘Ekyo onookikola otya?’

21“Ne guddamu nti, ‘Nzija kugenda, mbeere omwoyo omulimba mu kamwa ka buli nnabbi we.’ “Mukama nʼagugamba nti, ‘Ggwe onoosobola okumusendasenda, era genda okole bwʼotyo.’

22 “Kale nno Mukama atadde omwoyo ogwʼobulimba mu kamwa ka bannabbi bo, era Mukama akwogeddeko kabi keereere.”

23Awo Zeddekiya mutabani wa Kenaana nʼasembera okumpi ne Mikaaya we yali nʼamukuba oluyi mu maaso, nʼamubuuza nti, “Omwoyo wa Mukama yampiseeko wa okwogera naawe?”

24Mikaaya nʼamuddamu nti, “Laba, ekyo olikimanya ku lunaku lwʼoligenda okwekweka mu kisenge ekyʼomunda.”

25Awo kabaka wa Isirayiri nʼalagira nti, “Mukwate Mikaaya mumuzzeeyo ewa Amoni ewʼomukulu wʼekibuga nʼewa Yowaasi omulangira,

26mwogere nti, ‘Bwʼati bwʼayogera kabaka nti, Omuntu ono mumuteeke mu kkomera, temumuwa kintu kyonna wabula omugaati omutono nʼamazzi amatono, okutuusa lwe ndikomawo mirembe.’ ”

27Awo Mikaaya nʼalangirira nti, “Bwʼolikomawo mirembe, Mukama nga tayogeredde mu nze,” ate nʼayongerako na kino nti, “Mmwe mwenna, mwekuume ebigambo byange.”

28Awo kabaka wa Isirayiri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne bambuka e Lamosugireyaadi.

29Kabaka wa Isirayiri nʼagamba Yekosafaati nti, “Nze nzija kugenda mu lutalo nga nneefudde ngʼomuntu omulala, naye ggwe yambala ebyambalo byo.” Awo kabaka wa Isirayiri ne yeefuula ngʼomuntu omulala, ne bagenda mu lutalo.

30Naye kabaka wʼe Busuuli yali alagidde abaduumizi abʼamagaali ge nti, “Temulwanagananga na muntu yenna, oba wa kitiibwa oba si wa kitiibwa, okuggyako kabaka wa Isirayiri.”

31Awo abaduumizi abʼamagaali bwe balaba Yekosafaati, ne boogera nti, “Oyo ye kabaka wa Isirayiri.” Ne bakyuka ne bamulumba, naye Yekosafaati nʼayogera mu ddoboozi eryʼomwanguka, Mukama nʼamubeera, era Katonda nʼabaziyiza, nʼokubaggyawo nʼabaggyawo.

32Abaduumizi abʼamagaali bwe baakizuula nti si ye kabaka wa Isirayiri, ne balekeraawo okumugoba.

33Naye omu ku basajja nʼamala ganaanuula omutego gwe, nʼalasa kabaka wa Isirayiri mu kifo ekimu ebyambalo bye ebyʼolutalo we byegattira. Kabaka nʼagamba omugoba wʼeggaali lye nti, “Kyusa onzigye mu lutalo kubanga nfumitiddwa.”

34Olutalo ne lukanya olunaku lwonna, kyokka kabaka wa Isirayiri ne yeewaliriza okusigala mu gaali lye ngʼatunuulidde Abasuuli okutuusa akawungeezi, era enjuba bwe yali ngʼegwa nʼafa.

cle>