2 Ebyomumirembe 19:1-11 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Yekosafaati kabaka wa Yuda nʼakomawo mirembe mu lubiri lwe mu Yerusaalemi.

2 Yeeku, Omulabi, mutabani wa Kanani nʼagenda okumusisinkana, nʼagamba Yekosafaati nti, “Kituufu ggwe okuyamba ababi, ate nʼokukolagana nʼabo abakyawa Mukama? Olwʼekikolwa ekyo, obusungu bwa Mukama kyebuvudde bukubuubukirako.

3Kyokka mu ggwe mulimu ebirungi, kubanga wazikiriza Baaserosi nʼobaggya mu nsi, nʼomalirira mu mutima gwo okunoonya Katonda.”

4Awo Yekosafaati nʼabeeranga mu Yerusaalemi, nʼaddayo eri abantu okuva e Beeruseba okutuuka mu Efulayimu mu nsi eyʼensozi, bonna nʼabakomyawo eri Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe.

5Nʼalonda abalamuzi mu nsi, ne mu buli kibuga kya Yuda ekiriko Bbugwe.

6Nʼabategeeza nti, “Mufumiitirize nnyo ku bye mukola, kubanga temulamula ku bwʼabantu wabula ku bwa Mukama, abeera nammwe buli bwe musala omusango.

7Noolwekyo entiisa ya Mukama ebeere mu mmwe, musale omusango nga mugwekanyizza bulungi, kubanga Mukama Katonda waffe takkiriziganya na butali butuukirivu, era tewali kusosola mu bantu wadde okulya enguzi.”

8Ate ne mu Yerusaalemi Yekosafaati yalonda abamu ku Baleevi, ne bakabona, nʼemitwe gyʼennyumba za Isirayiri okulamulanga ku bwa Mukama, nʼokusalangawo ensonga enzibu.

9Nʼabakuutira ngʼagamba nti, “Mukole nga mutya Mukama, nʼobwesigwa era nʼomutima gumu.

10Bwe wanaabangawo ensonga evudde eri baganda bammwe okuva mu bibuga byabwe, ngʼekwata ku kuyiwa omusaayi, oba ku nsonga endala yonna ekwata ku kiragiro, ku mateeka oba ku biragiro, munaabalabulanga obutayonoona Mukama, obusungu bwe muleme okubatuukako mmwe ne baganda bammwe. Bwe mutyo bwe munaakolanga muleme okubaako omusango.

11 “Era Amaliya kabona asinga obukulu yʼanaababeerangako nʼobuvunaanyizibwa mu nsonga zonna eza Mukama, ate Zebadiya mutabani wa Isimayiri omukulu owʼekika kya Yuda ye nʼavunaanyizibwanga mu nsonga zonna eza kabaka, era nʼAbaleevi banaaweerezanga ngʼabaami mu maaso gammwe. Mube nʼobuvumu, era Mukama abeere nʼabo abakola obutuukirivu.”

cle>