2 Ebyomumirembe 2:1-18 LGCB2014 - Bible AI

1 Sulemaani nʼawa ebiragiro okuzimbira erinnya lya Mukama eyeekaalu, ate naye okwezimbira olubiri olwa kabaka.

2Nʼalonda abasajja emitwalo musanvu okuba abeetissi, nʼabalala emitwalo munaana okutema amayinja mu nsozi, nʼabalala enkumi ssatu mu lukaaga okubakuliranga.

3Awo Sulemaani nʼaweereza Kulamu kabaka wʼe Ttuulo obubaka nti, “Nga bwe wakolagananga ne Dawudi kitange, nʼomuweereza emivule egyʼokwezimbira olubiri lwe okubeeramu, nange kolagana nange mu ngeri yʼemu.

4 Laba kaakano nnaatera okuzimbira erinnya lya Mukama Katonda wange eyeekaalu, era ngiwonge olwʼokwoterezaayo obubaane obwʼebyakaloosa obulungi mu maaso ge, nʼokuweerayo emigaati egya buli lunaku, nʼolwʼokuweerayo ebiweebwayo ebyokebwa enkya nʼakawungeezi buli ssabbiiti ne ku myezi nga kye gijje giboneke ne ku mbaga ezaatekebwawo eza Mukama Katonda waffe, ngʼekiragiro ekyʼenkalakkalira eri Isirayiri.

5 Eyeekaalu gye ŋŋenda okuzimba ejja kuba yaakitiibwa, kubanga Katonda waffe waakitiibwa okusinga bakatonda abalala bonna.

6 Naye ani ayinza okumuzimbira eyeekaalu, nga nʼeggulu erya waggulu ddala taligyamu? Noolwekyo nze ani okumuzimbira eyeekaalu, okuggyako okumuzimbira ekifo ekyʼokwoterezangamu obubaane mu maaso ge?

7 Noolwekyo mpeereza omusajja omumanyirivu nga mugezi asobola okuweesa zaabu, ne ffeeza, nʼebikomo, nʼebyuma, ate era asobola okuluka engoye eza kakobe, nʼentwakaavu, nʼeza bbululu, ate era nga mumanyirivu mu kukola enjola ezʼengeri zonna, ngakolaganira wamu nʼabasajja bange abamanyirivu mu byo mu Yuda ne mu Yerusaalemi, Dawudi kitange be yateekateeka.

8Era mpeereza nʼemivule, nʼemiberosi, nʼemitoogo okuva e Lebanooni, kubanga mmanyi nti abasajja bo bamanyirivu mu kutema emiti mu Lebanooni. Abaddu bange banaakolagananga nʼababo

9okunteekerateekera embaawo mu bungi, kubanga eyeekaalu gyʼeŋŋenda okuzimba egenda kuba nnene era nga yaakitiibwa.

10Laba, ndiwa abaweereza bo, abasajja ababazzi, lita ezʼeŋŋaano ense emitwalo amakumi ana mu ena, ne lita eza sayiri, emitwalo amakumi ana mu ena, nʼebita ebyʼomwenge emitwalo ebiri, nʼebita ebyʼamafuta agʼomuzeeyituuni emitwalo ebiri.”

11Awo Kulamu nʼaddamu ebbaluwa Sulemaani gye yamuweereza ngʼagamba nti, “Kubanga Mukama ayagala abantu be, kyavudde akufuula kabaka waabwe.”

12 Nʼayongerako na kino nti, “Mukama Katonda wa Isirayiri eyakola eggulu nʼensi, yeebazibwe, kubanga awadde kabaka Dawudi omwana omutegeevu, alina okutegeera nʼokwawula ebirungi nʼebibi, agenda okuzimbira Mukama eyeekaalu, nʼokwezimbira olubiri.

13 Nkuweereza Kulamu omusajja omumanyirivu, era alina okutegeera nʼobumanyirivu bungi,

14 ne nnyina yʼomu ku bazzukulu ba Ddaani, nga ne kitaawe musajja wʼe Ttuulo. Yatendekebwa mu kuweesa zaabu nʼeffeeza, nʼebikomo nʼebyuma nʼokutema amayinja era nga mubazzi, ate nʼokuluka engoye eza kakobe, nʼeza bbululu, nʼentwakaavu, nʼeza bafuta. Era alina obumanyirivu mu kwola enjola ezʼengeri zonna, era ayinza okuyiiya engeri yonna eyʼokukolamu ekintu kyonna ekimuweereddwa. Yʼanaakolanga nʼabaweesi bo nʼaba mukama wange Dawudi.

15Kaakano mukama wange aweereze abaddu be eŋŋaano ne sayiri, nʼamafuta agʼomuzeeyituuni ne wayini gwe yasuubiza,

16 tulyoke tuteme emiti gyonna gye weetaaga okuva e Lebanooni. Tunaagiseeyeeyeteza ku nnyanja okutuuka e Yopa, naawe oligyambusa e Yerusaalemi.”

17Awo Sulemaani nʼabala bannaggwanga bonna abaali mu nsi eya Isirayiri, ngʼokubala Dawudi kitaawe kwe yakola bwe kwali; baali abasajja emitwalo kkumi nʼettaano mu enkumi ssatu mu lukaaga.

18 Nʼalonda mu bo emitwalo musanvu okuba abeetissi, nʼabalala emitwalo munaana okutemanga amayinja mu nsozi, nʼabalala enkumi ssatu mu lukaaga okulabiriranga abantu abaakolanga.

le>