2 Ebyomumirembe 20:1-37 LGCB2014 - Bible AI

1Bwe wayitawo ebbanga, Abamowaabu nʼAbamoni nga bali wamu nʼabamu ku Bamoni ne balumba Yekosafaati okumulwanyisa.

2 Abasajja abamu ne bagenda ne bategeeza Yekosafaati nti, “Eggye ddene eriva e Busuuli okuva emitala wʼEnnyanja eyʼOmunnyo, likulumbye, era lituuse mu Kazazonutamali, ye Engedi,”

3 Yekosafaati nʼatya nnyo nʼamalirira okwebuuza ku Mukama, era nʼalangirira okusiiba mu Yuda yonna.

4Yuda yonna nʼekuŋŋaana okunoonya okubeerwa okuva eri Mukama okuva mu bibuga byonna ebya Yuda.

5Awo Yekosafaati nʼayimirira mu maaso gʼekkuŋŋaaniro lya Yuda ne Yerusaalemi, mu yeekaalu ya Mukama mu maaso gʼoluggya olupya,

6nʼayogera nti,

6“Ayi Mukama, Katonda wa bajjajjaffe, si ggwe Katonda owʼomu ggulu? Si ggwe ofuga obwakabaka bwonna mu nsi? Obuyinza nʼamaanyi biri mu mukono gwo, nʼokubaawo ne watabaawo nʼomu ayinza okuyimirira mu maaso go.

7 Ayi Katonda waffe, si ggwe wagobamu abatuuze abaali mu nsi eno mu maaso gʼabantu bo Isirayiri, nʼogiwa ezzadde lya Ibulayimu mukwano gwo okugibeerangamu emirembe gyonna?

8Era bagibaddemu ne bazimbamu ekifo owʼokusinziza erinnya lyo, nga boogera nti,

9‘Bwe tulituukibwako akabi konna, oba ekitala ekyʼokusala omusango, oba lumbe, oba njala, tunaayimiriranga mu maaso go, ne mu maaso ga yeekaalu eno okuli erinnya lyo, ne tukukaabiriranga mu kulumwa kwaffe nʼotuwulira era nʼotulokola.’

10Naye kaakano laba, abasajja ba Amoni ne Mowaabu nʼabʼoku Lusozi Seyiri, abʼomu kibangirizi kye wagaana Isirayiri okulumba bwe baava mu nsi yʼe Misiri, era babeewala ne batagenda kubazikiriza,

11 laba bwe baagala okutusasula nga batugobaganya mu kifo kye watuwa ngʼomugabo gwaffe.

12 Ayi Katonda waffe, toobasalire musango? Kubanga tetulina maanyi ga kulwana na ggye lino eddene eritulumbye. Tetumanyi kya kukola, wabula amaaso gaffe gatunuulidde ggwe.”

13Abasajja bonna aba Yuda, wamu ne bakyala baabwe, nʼabaana baabwe, nʼabaana abasemberayo ddala obuto, ne bayimirira mu maaso ga Mukama.

14Awo Omwoyo wa Mukama nʼakka ku Yakaziyeeri mutabani wa Zekkaliya, muzzukulu wa Benaya muzzukulu wa Yeyeri, muzzukulu wa Mattaniya, Omuleevi owʼezzadde lya Asafu ngʼayimiridde wakati mu lukuŋŋaana.

15Nʼayogera nti, “Kabaka Yekosafaati, ne Yuda yenna, nʼabatuuze ba Yerusaalemi, kino Mukama kyʼabagamba nti, ‘Temutya era temuggwaamu mwoyo olwʼeggye eryo eddene, kubanga olutalo si lwammwe, naye lwa Katonda.

16Enkya muserengete mubasisinkane; laba bajja kwambukira awalinnyirwa e Zizi, era munaabasisinkana ekiwonvu we kikoma mu ddungu lya Yerweri.

17Tekijja kubeetagisa kulwana lutalo luno. Mubeere mu bifo byammwe, mube bagumu mulabe obuwanguzi Mukama bwʼanaabawa mmwe Yuda ne Yerusaalemi. Temutya wadde okuggwaamu omwoyo; enkya mugende mubasisinkane, Mukama anaabeera nammwe.’ ”

18Awo Yekosafaati nʼavuunama amaaso ge ku ttaka, era ne Yuda yenna nʼabatuuze bonna abʼe Yerusaalemi ne bavuunama wansi mu maaso ga Mukama ne bamusinza.

19Abamu ku Baleevi, Abakokasi nʼabalala nga Bakoola ne bayimirira okutendereza Mukama, Katonda wa Isirayiri, nʼeddoboozi eryʼomwanguka.

20 Ne bakeera mu makya ne bagenda mu ddungu lya Tekowa. Bwe baali nga bagenda Yekosafaati nʼayimirira nʼabagamba nti, “Mumpulirize, Yuda nʼabantu abʼe Yerusaalemi! Mube nʼokukkiriza mu Mukama Katonda wammwe munaanywezebwa; mukkirize bannabbi be, munaalaba omukisa.”

21Awo bwe yamala okwebuuza ku bantu, nʼalonda abasajja abʼokuyimbira Mukama, nʼokumutendereza olwʼekitiibwa kyʼobutuukirivu bwe, abakulemberamu eggye, nga boogera nti,

21 “Mwebaze Mukama kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”

22Awo bwe batandika okuyimba nʼokutendereza, Mukama nʼataayiza abasajja ba Amoni, nʼaba Mowaabu, nʼabʼoku Lusozi Sayiri, abaali balumbye Yuda, ne bawangulwa.

23Abasajja ba Amoni nʼaba Mowaabu ne bagolokokera ku basajja abʼoku Lusozi Seyiri ne babazikiriza, era bwe baamala okubazikiriza, ne bakyukiragana ne battiŋŋana.

24Awo abasajja aba Yuda bwe baatuuka ku munaala ogwʼeddungu, ne batunuulira eggye eddene, laba nga bonna mirambo egigudde, nga tewaliwo nʼomu eyawonyeewo.

25Yekosafaati nʼabantu be bwe bajja okutwala omunyago, basangawo ebintu bingi nʼengoye nnyingi, nʼebyʼobugagga bingi, okusinga nʼebyo bye baali basobola okwetikka. Baamala ennaku ssatu nga babisomba, olwʼobungi bwabyo.

26Ku lunaku olwokuna ne bakuŋŋaanira mu kiwonvu ekya Beraka, okutendereza Mukama, kyekyava kituumibwa Ekiwonvu kya Beraka, ne leero.

27Oluvannyuma, buli musajja wa Yuda nʼowa Yerusaalemi, nga bakulemberwamu Yekosafaati, ne baddayo e Yerusaalemi nga basanyuse, kubanga Mukama yali abawadde essanyu olwʼokuwangula abalabe baabwe.

28Ne bayingira Yerusaalemi, ne bagenda mu yeekaalu ya Mukama nga bakutte entongooli, nʼennanga, nʼamakondeere.

29Entiisa ya Mukama nʼejja ku bwakabaka bwonna obwʼomu mawanga, bwe baawulira nga Mukama yalwana nʼabalabe ba Isirayiri[3].

30Era obwakabaka bwa Yekosafaati ne buba nʼemirembe, kubanga Katonda we yamuwa emirembe enjuuyi zonna.

31Yekosafaati nʼafuga Yuda. Yalina emyaka amakumi asatu mu etaano we yafuukira kabaka wa Yuda, era nʼafugira emyaka amakumi abiri mu etaano mu Yerusaalemi, ne nnyina erinnya lye nga ye Azuba muwala wa Siruki.

32Nʼatambulira mu kkubo lya Asa kitaawe, nʼatalivaamu, era nʼakola ebyali ebirungi mu maaso ga Mukama.

33Naye ebifo ebigulumivu teyabiggyaawo, so nʼabantu ne bataweerayo ddala mitima gyabwe eri Katonda wa bajjajjaabwe.

34 Ebyafaayo ebirala ebyaliwo mu mulembe gwa Yekosafaati, okuva ku ntandikwa ye okutuusa ku nkomerero ye, byawandiikibwa mu bitabo bya Yeeku mutabani wa Kanani, era biri ne mu kitabo ekya bassekabaka ba Isirayiri.

35Bwe waayitawo ebbanga, Yekosafaati kabaka wa Yuda nʼakola endagaano ne Akaziya kabaka wa Isirayiri, omukozi wʼebibi.

36 Nʼateesa naye okuzimba ebyombo ebyamaguzi biseeyeeyenga okugenda e Talusiisi, era ne babizimbira mu Eziyonigeba.

37Mu kiseera ekyo Eryeza mutabani wa Dodavaku owʼe Malesa nʼayogera ebyobunnabbi eri Yekosafaati ngʼagamba nti, “Kubanga okoze endagaano ne Akaziya, nʼomwegattako, Mukama alizikiriza byʼokoze.” Era ebyombo ne bimenyekamenyeka, ne bitasobola kugenda Talusiisi.

cle>