2 Ebyomumirembe 21:1-20 LGCB2014 - Bible AI

1 Awo Yekosafaati ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, nʼaziikibwa mu kibuga kya Dawudi; Yekolaamu mutabani we nʼamusikira.

2Yekolaamu yalina baganda be, batabani ba Yekosafaati, nga be ba Azaliya, ne Yekyeri, ne Zekkaliya, ne Azaliya, ne Mikayiri ne Sefatiya. Abo bonna bali baana ba Yekosafaati kabaka wa Yuda.

3Kitaabwe yabawa ebyʼobugagga bingi, ebya ffeeza ne zaabu, nʼebintu ebyʼomuwendo ebirala, wamu nʼebibuga ebiriko bbugwe mu Yuda, naye obwakabaka nʼabuwa Yekolaamu kubanga ye yali omuggulanda.

4Awo Yekolaamu bwe yamala okwenywereza ddala ku ntebe ye eyʼobwakabaka, nʼatta baganda be bonna nʼekitala, era nʼabakungu abamu aba Isirayiri.[4]

5 Yekolaamu yalina emyaka amakumi asatu mu ebiri we yafuukira kabaka, era nʼafugira emyaka munaana mu Yerusaalemi.

6Nʼatambulira mu makubo ga bakabaka ba Isirayiri, ngʼennyumba ya Akabu bwe yakolanga, era nʼokuwasa nʼawasa muwala wa Akabu. Nʼakola ebyʼebibi mu maaso ga Mukama.

7 Newaakubadde ngʼebyo byonna byali bwe bityo, Mukama teyayagala kusaanyaawo nnyumba ya Dawudi, kubanga yali akoze endagaano ne Dawudi, ate ngʼasuubizza okukuuma ettabaaza ye nʼeya bazzukulu be ngʼeyaka emirembe gyonna.

8 Mu biro bya Yekolaamu Edomu nʼajeemera okufuga kwa Yuda ne beeteekerawo kabaka owaabwe.

9Awo Yekolaamu nʼagendayo nʼabakungu be nʼamagaali ge gonna. Abayedomu ne bamutaayiza ye nʼabaduumizi abʼamagaali ge mu kiro, naye nʼabagolokokerako nʼabakuba.

10Okuva ku olwo Edomu ne bajeemera Yuda nʼokutuusa leero. Mu kiseera ekyo Libuna naye ne nʼamujeemera, kubanga Yekolaamu yali avudde ku Mukama Katonda wa bajjajjaabe.

11Yali azimbye nʼebifo ebigulumivu ku nsozi za Yuda, era ngʼaleetedde nʼabatuuze ba Yerusaalemi obutaba beesigwa, nga ne Yuda bawabye.

12Yekolaamu nʼafuna ebbaluwa okuva eri Eriya nnabbi ngʼegamba nti, “Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda wa jjajjaawo Dawudi nti, ‘Olwʼobutatambulira mu makubo ga kitaawo Yekosafaati, wadde mu makubo ga Asa kabaka wa Yuda,

13naye nʼotambulira mu kkubo lya bakabaka ba Isirayiri, nʼoleetera Yuda nʼabantu bʼe Yerusaalemi obutaba beesigwa, ngʼennyumba ya Akabu bwe yakola, era nʼotta ne baganda bo abʼennyumba ya kitaawo, abaali bakusinga empisa,

14Mukama kyaliva aleeta kawumpuli owʼamaanyi, ku bantu bo, nʼabaana bo, nʼabakyala bo, ne ku bintu byo byonna,

15ate naawe olirwala obulwadde obwʼamaanyi mu lubuto, erireetera ebyenda byo okuvaayo, buli lunaku.’ ”

16Awo Mukama nʼasitusa obusungu bwʼAbafirisuuti nʼAbawalabu abaabeeranga okumpi nʼAbaesiyopiya eri Yekolaamu,

17ne balumba Yuda, ne bakiwangula, ne batwala ebintu byonna ebyali mu lubiri lwa kabaka, ne batabani be, ne bakazi be, ne wataba mutabani we nʼomu eyalekebwa okuggyako Yekoyakaazi, omuggalanda.

18Oluvannyuma lwʼebyo byonna, Mukama nʼaleetako Yekolaamu obulwadde obutawonyezeka obwʼomu lubuto.

19Awo ebiro bwe byayitawo, nga wayiseewo emyaka ebiri, ebyenda bye ne bitanula okumuvaamu, olwʼobulwadde, nʼafa mu bulumi bungi. Abantu be ne batamukumira lumbe, nga bwe baali bakoledde bajjajjaabe.

20Yekolaamu yali wa myaka amakumi asatu mu ebiri bwe yatandika okuba kabaka, era nʼafugira mu Yerusaalemi emyaka munaana. Okufa kwe tekwaleetera muntu nʼomu kwejjusa, nʼaziikibwa mu kibuga kya Dawudi naye si ku biggya bya bassekabaka.

cle>