1Abantu abʼomu Yerusaalemi ne bafuula Akaziya, mutabani wa Yekolaamu omuggalanda, kabaka, kubanga abasajja abanyazi abajja nʼAbawalabu baali bamaze okutta abaana be bonna abakulu. Awo Akaziya mutabani wa Yekolaamu nʼatandika okufuga Yuda.
2ⓢ Akaziya yalina emyaka amakumi ana mu ebiri bwe yatandika okufuga, era nʼafugira omwaka gumu mu Yerusaalemi. Erinnya lya nnyina yali Asaliya, muzzukulu wa Omuli.
3Ne Akaziya nʼatambulira mu makubo agʼennyumba ya Akabu, kubanga nnyina yamupikirizanga okukola ebibi.
4Nʼakola ebibi mu maaso ga Mukama, ngʼennyumba ya Akabu bwe yakola, kubanga oluvannyuma olwʼokufa kwa kitaawe be baamuwabyanga, okukola ebikyamu.
5Era naye yagobereranga ebirowoozo byabwe, era nʼagenda ne Yekolaamu, mutabani wa Akabu kabaka wa Isirayiri okutabaala Kazayeeri kabaka wʼe Busuuli e Lamosugireyaadi. Abasuuli ne bafumita Yolaamu ebiwundu
6ⓣ era nʼaddayo e Yezuleeri okujjanjabibwa ebiwundu bye yali afunidde e Laama, bwe yali ngʼalwana ne Kazayeeri kabaka wʼe Busuuli. Awo Akaziya mutabani wa Yekolaamu kabaka wa Yuda nʼagenda okulaba ku Yolaamu mutabani wa Akabu olwʼebisago ebyali bimutuusibbwako.
7Naye kyali kyategekebwa Katonda, nti okugwa kwa Akaziya kulimutuukako ngʼakyalidde Yolaamu. Awo Akaziya bwe yatuuka eyo, nʼagenda ne Yolaamu okusisinkana Yeeku mutabani wa Nimusu, Mukama gwe yali afuseeko amafuta okuzikiriza ennyumba ya Akabu.
8ⓤ Awo Yeeku bwe yali ngʼasalira ennyumba ya Akabu omusango, nʼasanga abakungu ba Yuda, ne batabani ba baganda ba Akaziya, abaaweerezanga Akaziya, nʼabatta.
9ⓥ Nʼoluvannyuma nʼanoonya Akaziya, era abasajja be ne bamuwambira e Samaliya gye yali yeekwese, nʼaleetebwa ewa Yeeku nʼattibwa. Ne bamuziika nga boogera nti, “Ono ye muzzukulu wa Yekosafaati, eyanoonya Mukama, nʼomutima gwe gwonna.” Era mu nnyumba ya Akaziya ne wataba nʼomu eyayinza okusikira obwakabaka.
10ⓦ Awo Asaliya, nnyina Akaziya bwe yalaba nga mutabani we afudde, nʼasitula olutalo era nʼazikiriza ennyumba yonna eyʼobwakabaka bwa Yuda.
11ⓧ Naye Yekosabeyaasi, muwala wa kabaka Yekolaamu, nʼabba Yowaasi mutabani wa Akaziya okuva mu balangira abaali bagenda okuttibwa, nʼamukweka ye nʼomukozi we mu kimu ku bisenge. Awo Yekosabeyaasi muwala wa kabaka Yekolaamu, ate nga ye yali mukyala wa Yekoyaada kabona, nʼakweka omwana, Asaliya aleme okumutta. Yekosabeyaasi, yali mwannyina Akaziya.
12Omwana nʼakwekebwa okumala emyaka mukaaga mu nnyumba ya Katonda, nga Asaliya yʼafuga ensi.