1
2
3Ekibiina kyonna ne bakola endagaano ne kabaka mu yeekaalu ya Katonda.
4Era bwe muti bwe munaakola: kimu kya kusatu ku mmwe bakabona nʼAbaleevi abanaaberanga ku luwalo ku ssabbiiti munaakuumanga wankaaki,
5ate kimu kya kusatu ekirala munaakuumanga olubiri lwa kabaka, nʼekimu kya kusatu ekirala munaakuumanga Omulyango ogwʼOmusingi, nʼabantu abalala bonna banaabeeranga mu luggya olwa yeekaalu ya Mukama.
6Tewabanga nʼomu ayingira mu yeekaalu ya Mukama wabula bakabona, nʼAbaleevi abanaabeeranga mu luwalo; abo banaayingiranga kubanga batukuvu, naye abantu abalala bonna banaagobereranga ekyo Mukama kye yalagira.
7Abaleevi banaayimiriranga okwetooloola kabaka, buli omu ku bo ngʼakutte ebyokulwanyisa bye mu mukono gwe, na buli anaayingiranga mu yeekaalu wa kuttibwa. Mubeere kumpi nnyo ne kabaka, buli gyʼanaalaganga.”
8Abaleevi nʼabantu bonna aba Yuda ne bakola nga Yekoyaada kabona bwe yalagira. Buli omu ku bo nʼatwala abasajja be, abo abaali mu luwalo ku Ssabbiiti, wamu nʼabo abaali bamaliriza olwabwe, kubanga Yekoyaada kabona yali tannabagaba mu mpalo.
9
10Era nʼateekateeka buli musajja okuba omukuumi wa kabaka, nga buli omu ku bo akutte ekyokulwanyisa mu mukono gwe, nga beetoolodde kabaka, nʼokwetooloola ekyoto ne yeekaalu, okuva mu bukiikaddyo, okutuuka ku bukiikakkono obwa yeekaalu.
11
12Naye Asaliya bwe yawulira oluyoogaano lwʼabantu nga badduka era nga batendereza kabaka, nʼagenda gye bali mu yeekaalu ya Mukama.
13Nʼatunula, laba, kabaka ngʼayimiridde okuliraana empagi ye ku mulyango, nʼabakungu nʼabafuuwa amakondeere nga bayimiridde okumwetooloola, era nga nʼabantu bonna abʼensi nga basanyuka nga bafuuwa nʼamakondeere, nʼabayimbi nga bakutte ebivuga byabwe nga bakulembedde okujaguza. Awo Asaliya nʼayuza ebyambalo bye, nʼaleekaanira waggulu nti, “Bujeemu! Bujeemu!”
14Yekoyaada kabona nʼatuma abaduumizi abʼebibinja ebyʼekikumi, abaavunaanyizibwanga eggye, nʼabagamba nti, “Mumufulumye mumuteeke wakati wʼenyiriri, mutte nʼekitala omuntu yenna anaamugoberera.” Kabona yali ayogedde nti, “Temumuttira mu yeekaalu ya Mukama.”
15Bwe yali ngʼanaatera okutuuka ku mulyango ogwʼembalaasi mu luggya olwokubiri, ne bamukwata ne bamuttira eyo.
16
17
18Awo Yekoyaada nʼassaawo abanaalabiriranga yeekaalu ya Mukama, era nʼalonda bakabona nʼAbaleevi Dawudi be yali awadde obuvunaanyizibwa obwʼokuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama, nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa, nga bajaguza era nga bayimba, nga Dawudi bwe yalagira.
19Nʼateeka nʼabaggazi ku wankaaki za yeekaalu ya Mukama, waleme okubaawo omuntu yenna atali mulongoofu ayingira.
20
21Abantu bonna abʼensi ne bajaguza, nʼekibuga ne kitereera, kubanga Asaliya yali attiddwa nʼekitala.