2 Ebyomumirembe 24:1-27 LGCB2014 - Bible AI

1 Yowaasi yalina emyaka musanvu we yafuukira kabaka, era nʼafugira emyaka amakumi ana mu Yerusaalemi nʼerinnya lya nnyina ye yali Zebbiya owʼe Beeruseba.

2Yowaasi nʼakola ebirungi mu maaso ga Mukama mu biro byonna ebya Yekoyaada kabona.

3Yekoyaada nʼamulondera abakyala babiri, era ne bamuzaalira abaana aboobulenzi nʼaboobuwala.

4Bwe waayitawo ebbanga, Yowaasi nʼayagala okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama.

5 Nʼayita bakabona nʼAbaleevi, nʼabagamba nti, “Mugende mu bibuga bya Yuda, musolooze ensimbi eza buli mwaka okuva mu Isirayiri yenna, olwʼokuddaabiriza yeekaalu ya Mukama, era mutandikirewo.” Naye Abaleevi ne batakikolerawo.

6 Awo kabaka nʼatumya Yekoyaada kabona asinga obukulu, nʼamubuuza nti, “Kiki ekyakulobera okugamba Abaleevi, nʼekibiina kya Isirayiri ku lwʼeweema eyʼObujulirwa, okuva eri Yuda ne Yerusaalemi okuleetanga omusolo, Musa omuddu wa Katonda gwe yalagira?”

7Mu biro ebyʼemabegako, batabani ba Asaliya, omukazi oli omubi, baali baamenya ne bayingira mu yeekaalu ya Mukama, ne bakozesa ebintu byonna ebyawongebwa mu yeekaalu ya Mukama, emirimu gya Baali.

8 Awo kabaka nʼalagira ne bakola essanduuko, ne bagissa ebweru wa wankaaki wa yeekaalu ya Mukama.

9Ekiragiro ne kiyita mu Yuda yonna ne mu Yerusaalemi yonna, okuleeteranga Mukama omusolo, Musa omuddu wa Katonda gwe yalagira Isirayiri nga bali mu ddungu.

10Abakungu bonna nʼabantu bonna ne baleetanga omusolo ogwo nga basanyufu, ne baguteekanga mu ssanduuko, okutuusa lwe yajjulanga.

11 Buli essanduuko bwe yaleetebwanga Abaleevi eri abakungu ba kabaka ne balaba ngʼerimu sente nnyingi, omuwandiisi wa kabaka nʼomukungu wa kabona asinga obukulu, baagitwalanga ne baziggyamu, ne bagikomyawo mu kifo kyayo. Kino baakikolanga buli lunaku, era ne bakuŋŋaanya ensimbi nnyingi.

12Kabaka ne Yekoyaada ne bazikwasa abo abaavunaanyizibwanga omulimu gwa yeekaalu ya Mukama, bo ne bapangisa abaagula amayinja nʼababazzi okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama, nʼabalala baali baweesi ba byuma nʼebikomo era nabo nga baakuddaabiriza yeekaalu ya Mukama.

13Abasajja abaavunaanyizibwanga omulimu ogwo baali banyiikivu, era nʼomulimu ogwo gwali mu mikono gyabwe, era ne baddaabiriza yeekaalu ya Katonda okutuuka ku mutindo gwayo ogugisaanira, ne baginyweza.

14 Awo bwe baamaliriza, ensimbi ezafikkawo ne bazikomyawo ewa kabaka ne Yekoyaada, ate ezo ne zikozesebwa okukola ebintu ebyʼomu yeekaalu ya Mukama, ebyʼobuweereza nʼebyʼebiweebwayo ebyokebwa, ne bbakuli ezʼobubaane, nʼebibya ebya zaabu ne ffeeza. Era ne baweerangayo ebiweebwayo ebyokebwa mu yeekaalu ya Mukama ennaku zonna eza Yekoyaada.

15Yekoyaada nʼakaddiwa, nʼawangaala nnyo, nʼafa ngʼaweza emyaka kikumi mu asatu egyʼobukulu.

16Nʼaziikibwa mu kibuga kya Dawudi ne bassekabaka, kubanga yakola ebirungi mu Isirayiri, ku lwa Katonda ne ku lwa yeekaalu ye.

17Awo Yekoyaada ngʼamaze okufa, abakungu ba Yuda ne bajja ne bavuunamira kabaka, nʼabawuliriza.

18 Ne baleka yeekaalu ya Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe, ne baweerezanga Baasera nʼebifaananyi, obusungu bwa Katonda kyebwava bubuubuukira ku Yuda ne Yerusaalemi.

19Newaakubadde nga Mukama yabatumira bannabbi okubakomyawo gyʼali, ne babalumiriza, tebassaayo mwoyo.

20 Awo Omwoyo wa Katonda nʼakka ku Zekkaliya muzzukulu wa Yekoyaada, nʼayimirira mu maaso gʼabantu nʼayogera nti, “Bwʼati bwʼayogera Katonda nti, ‘Lwaki mujeemera amateeka ga Mukama? Temujja kufuna mukisa kukulaakulana. Kubanga muvudde ku Mukama naye kyavudde abaleka.’ ”

21 Naye ne basala olukwe okutta Zekkaliya, kabaka nʼalagira nʼakubibwa amayinja, nʼafiira mu luggya lwa yeekaalu ya Mukama.

22Kabaka Yowaasi nʼatajjukira kisa Yekoyaada kitaawe wa Zekkaliya kye yamulaga, nʼatta mutabani we. Zekkaliya bwe yali ngʼafa nʼayogera nti, “Mukama kino akirabe, era akuvunaane.”

23 Ku nkomerero eyʼomwaka, eggye eryʼAbasuuli ne lirumba Yowaasi. Ne bajja mu Yuda ne mu Yerusaalemi ne bazikiriza abakungu bonna, ne baweereza omunyago gwonna eri kabaka waabwe e Ddamasiko.

24Newaakubadde ngʼeggye eryʼAbasuuli lyʼajja nʼabasajja batono, Mukama yawaayo eggye eddene ennyo erya Yuda mu mukono gwʼAbasuuli kubanga Yuda baava ku Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe. Abasuuli ne babonereza Yowaasi.

25 Awo Abasuuli bwe baavaayo, ne baleka nga Yowaasi alumizibbwa nnyo, era abaddu be ne bamusalira olukwe, olwʼomusaayi gwʼabaana ba Yekoyaada kabona, gwe yayiwa, ne bamuttira mu kitanda kye. Bwe yafa, nʼaziikibwa mu kibuga kya Dawudi, naye si mu masiro ga bassekabaka.

26 Abaamusalira olukwe baali Zabadi mutabani wa Simeyaasi omukazi Omwamoni, ne Yekozabadi mutabani wa Simulisi omukazi Omumowaabu.

27Ebyafaayo ebikwata ku batabani be, nʼebyamulagulwako, nʼebyʼokuddaabiriza kwa yeekaalu ya Katonda, byawandiikibwa mu ngero ezʼekitabo ekya bassekabaka. Amaziya mutabani we nʼamusikira.

cle>