2 Ebyomumirembe 25:1-28 LGCB2014 - Bible AI

1 Amaziya yalina emyaka amakumi abiri mu etaano we yafuukira kabaka, era nʼafugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi. Nnyina ye yali Yekoyadaani owʼe Yerusaalemi.

2Nʼakola ebirungi mu maaso ga Mukama, naye si na mutima ogutuukiridde.

3 Obwakabaka bwe bwanywezebwa mu buyinza bwe, nʼatta abakungu abatta kabaka kitaawe.

4 Naye nʼatatta baana baabwe, wabula nʼakola ngʼetteeka mu kitabo kya Musa, Mukama we yalagira nti, “Abazadde tebattibwenga olwʼekibi kyʼabaana baabwe, so nʼabaana tebattibwenga olwʼekibi kyʼabazadde baabwe, naye buli muntu anaafanga olwʼekibi kye ye.”

5 Amaziya nʼakuŋŋaanya abasajja ba Yuda, nʼabategeka mu nnyiriri zʼennyumba zaabwe, nga baduumirwa abʼenkumi nʼabʼebikumi mu Yuda yonna ne mu Benyamini. Nʼoluvannyuma nʼabala abo abaalina emyaka amakumi abiri nʼokusingawo, ne baba abasajja emitwalo amakumi asatu, abaali basobola okugenda mu lutalo, era nga bayinza nʼokukwata effumu nʼekitala.

6Ate era nʼagulayo nʼabasajja abalala abʼamaanyi nga bazira emitwalo kkumi okuva mu Isirayiri, olwa ttani ssatu ne bisatu bya kuna ebya ffeeza.

7Naye ne wabaawo omusajja wa Katonda eyagenda gyʼali nʼamugamba nti, “Ayi kabaka, tokkiriza eggye lya Isirayiri okugenda naawe, kubanga Mukama tali wamu ne Isirayiri, talina nʼomu gwali naye ku bantu ba Efulayimu.

8Ate ne bwʼonoogenda ngʼolowooza nti Oli muzira nnyo mu ntalo, Katonda alikuwaayo mu maaso gʼomulabe, kubanga Katonda alina obuyinza okuyamba, nʼokulekerera.”

9 Awo Amaziya nʼabuuza omusajja wa Katonda nti, “Naye tunaakola tutya ku bya ttani esatu nʼebisatu bya kuna ebya ffeeza ze nasasula eggye lya Isirayiri?” Omusajja wa Katonda nʼaddamu nti, “Mukama ayinziza ddala okukuwa nʼebisinga ku ebyo.”

10Awo Amaziya nʼalagira eggye eryali lizze gyʼali okuva mu Efulayimu okuddayo ewaabwe waalyo. Ne banyiigira nnyo Yuda, era ne baddayo ewaabwe nga banyiize nnyo.

11 Amaziya ne yeefungiza, nʼakulembera abantu be, nʼagenda mu kiwonvu ekyʼomunnyo nʼatta abasajja omutwalo gumu abʼe Sayiri.

12Eggye lya Yuda ne liwamba nʼabasajja abalala omutwalo gumu nga balamu, ne babatwala waggulu ku lwazi, ne babasuula wansi okuva ku bbangabanga, ne basesebbuka ebifiififi.

13Naye eggye liri Amaziya lye yasindika okuddayo, nʼataliganya kugenda naye mu lutalo; lyalumba ebibuga bya Yuda okuva e Samaliya okutuuka e Besukolooni, ne litta abantu enkumi ssatu ku bo, era ne litwala nʼomunyago mungi.

14Awo Amaziya bwe yakomawo ngʼamaze okutta Abayedomu, nʼaleeta bakatonda bʼabantu abʼe Sayiri, nʼabassaawo nga bakatonda be, nʼabasinzanga, era nʼabaweerangayo ebiweebwayo ebyokebwa.

15Obusungu bwa Mukama kye bwava bubuubuukira ku Amaziya, nʼamuweereza nnabbi, eyamutegeeza nti, “Lwaki ogoberera bakatonda bʼabantu, abataayinza kulokola bantu baabwe mu mukono gwo?”

16 Naye bwe yali ngʼakyayogera, kabaka nʼamubuuza nti, “Twali tukulonze okuba omuwi wa magezi owa kabaka? Sirika! Lwaki onoonya okuttibwa?” Awo nnabbi nga tannasirika, nʼayogera kino nti, “Mmanyi nga Katonda amaliridde okukuzikiriza, kubanga tossizaayo mwoyo ku kubuulirira kwange.”

17 Awo Amaziya kabaka wa Yuda ne yeebuuza ku bawi bʼamagezi be, nʼaweereza obubaka eri Yowaasi mutabani wa Yekoyakaazi, muzzukulu wa Yeeku, kabaka wa Isirayiri, ngʼagamba nti, “Jjangu tusisinkane amaaso nʼamaaso.”

18Naye Yowaasi kabaka wa Isirayiri nʼaddamu Amaziya kabaka wa Yuda bwʼati nti, “Omwennyango ogwali mu Lebanooni gwʼaweereza obubaka eri omuvule ogwali mu Lebanooni, nga gugamba nti, ‘Waayo muwala wo eri mutabani wange, amufumbirwe,’ naye ensolo eyʼomu nsiko eyali mu Lebanooni, ngʼeyitawo, nʼerinnyirira omwennyango.

19Weewaana nga bwʼowangudde Edomu, era omutima gwo gujjudde okwegulumiza nʼokwenyumiriza. Naye sigala ewuwo. Lwaki onoonya emitawaana, ne weeretera okugwa, ggwe ne Yuda?”

20 Naye Amaziya nʼatawuliriza, kubanga okuwangulwa abalabe baabwe kwava eri Katonda, kubanga bava ku Katonda waabwe ne banoonya bakatonda ba Edomu.

21Awo Yowaasi kabaka wa Isirayiri nʼalumba, ye ne Amaziya kabaka wa Yuda ne basisinkana amaaso nʼamaaso mu lutalo e Besusemesi ekya Yuda.

22Isirayiri nʼawangula Yuda, buli muntu nʼaddukira ewuwe.

23Yowaasi kabaka wa Isirayiri nʼawambira Amaziya kabaka wa Yuda mutabani wa Yowaasi, muzzukulu wa Yekoyakaazi e Besusemesi, nʼamuleeta e Yerusaalemi. Yowaasi nʼamenyaamenya nʼekitundu ekya bbugwe wa Yerusaalemi okuva ku mulyango gwa Efulayimu okutuuka ku Mulyango ogwʼoku Nsonda, eyali mita kikumi mu kinaana obuwanvu.

24Nʼatwala ezaabu nʼeffeeza yonna, nʼebintu ebirala byonna ebyali mu yeekaalu ya Katonda ebyali bikuumibwa Obededomu, wamu nʼebyʼobugagga ebyʼomu lubiri, nʼabawambe, nʼaddayo e Samaliya.

25 Awo Amaziya mutabani wa Yowaasi kabaka wa Yuda nʼawangaala emyaka emirala kkumi nʼettaano, oluvannyuma olwʼokufa kwa Yowaasi mutabani wa Yekoyakaazi, kabaka wa Isirayiri.

26Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Amaziya, okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero, tebyawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Yuda ne Isirayiri?

27Okuva mu kiseera, Amaziya lwe yakyuka okuva ku Mukama, baamusalira olukwe mu Yerusaalemi, nʼaddukira e Lakisi. Kyokka ne bamusindikira abasajja abaamugoberera okutuuka e Lakisi, era ne bamuttira eyo.

28Omulambo gwe ne baguleetera ku mbalaasi, nʼaziikibwa mu masiro ga bajjajjaabe mu kibuga kya Yuda.

cle>