2 Ebyomumirembe 26:1-23 LGCB2014 - Bible AI

1 Awo Uzziya bwe yali ngʼaweza emyaka kkumi na mukaaga egyʼobukulu, abantu bonna aba Yuda, ne bamufuula kabaka nʼasikira kitaawe Amaziya.

2Nʼaddaabiriza Erosi, nʼakiddiza Yuda nga Amaziya amaze okuziikibwa.

3Uzziya yali awezezza emyaka kkumi na mukaaga we yaliira obwakabaka, nʼafugira emyaka amakumi ataano mu ebiri mu Yerusaalemi. Nnyina ye yali Yekkiriya owʼe Yerusaalemi.

4Nʼakola ebirungi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe Amaziya bwe yasooka okukola.

5Nʼamalirira okunoonya Katonda mu biro bya Zekkaliya eyamubuuliriranga okutya Katonda. Era ebbanga lyonna lye yanoonya Mukama, Katonda nʼamuwa omukisa.

6Nʼagenda nʼalwana nʼAbafirisuuti, nʼamenyaamenya bbugwe wa Gaasi, ne bbugwe wa Yabune ne bbugwe wa Asudodi, nʼoluvannyuma nʼazimba ebibuga okumpi ne Asudodi ne mu bitundu ebirala wakati mu Bafirisuuti.

7Katonda nʼamuyambanga ngʼalwana nʼAbafirisuuti, nʼAbawalabu abaabeeranga mu Gulubaali, era nʼAbamewunimu.

8Abamoni ne bawanga Uzziya busuulu, era nʼerinnya lye ne lyatiikirira nʼokutuusa ku nsalo ya Misiri, kubanga yali afuuse wa maanyi nnyo.

9 Uzziya nʼazimba eminaala mu Yerusaalemi ku wankaaki owʼoku Nsonda, ne ku wankaaki owʼomu Kiwonvu, ne mu kifo bbugwe wʼakyukira, era nʼagissaako bbugwe.

10Era nʼazimba nʼeminaala mu ddungu, ate era nʼasima nʼebidiba bingi mu biwonvu ne mu lusenyi, olwʼamaggana amanene ge yalina. Yalina nʼabantu abaakolanga mu nnimiro ze ezʼemizabbibu mu nsozi nʼabaalimanga ettaka eggimu, kubanga yayagalanga nnyo okulima.

11Uzziya yalina eggye eryʼabasajja abalwanyi abaatendekebwa obulungi, abaatabaalanga mu bibinja ngʼemiwendo gyabwe bwe gyali, Yeyeri omuwandiisi gye yabala ne Maaseya omukungu, eyali wansi wa Kananiya, omu ku baduumizi bʼeggye lya kabaka.

12Omuwendo gwonna awamu ogwʼabakulu bʼennyumba ezʼabasajja abalwanyi gwali enkumi bbiri mu lukaaga (2,600).

13Abo be baaduumiranga eggye eryʼabasajja abatendeke mu kulwana, abaawera emitwalo amakumi asatu mu kasanvu mu ebikumi bitaano (307,500), abaakuumanga kabaka.

14Uzziya nʼawa eggye lyonna, engabo, nʼamafumu, nʼenkuufiira ezʼebyuma, nʼebizibaawo ebyʼebyuma, nʼemitego emigumu, nʼenvuumuulo.

15 Nʼakozesa ebyuma mu Yerusaalemi ebyayiyizibwa abasajja abamanyirivu, ebyakozesebwanga ku minaala ne ku nkomera okulasa obusaale nʼokuvuumuula amayinja amanene. Yayambibwa nnyo, nʼatutumuka era erinnya lye ne lyatiikirira nnyo.

16Kyokka Uzziya bwe yatutumuka, ne yeegulumiza, nʼokugwa nʼagwa kubanga teyali mwesigwa eri Mukama Katonda we, nʼokuyingira nʼayingira mu yeekaalu ya Mukama okwotereza obubaane ku kyoto ekyʼobubaane.

17Azaliya kabona ne bakabona ba Mukama abalala abazira kinaana ne bagenda gyʼali,

18ne bamuziyiza, nga bamugamba nti, “Si mulimu gwo, Uzziya, okwotereza Mukama obubaane, naye mulimu gwa bakabona bazzukulu ba Alooni abaayawulibwa okwotezanga obubaane. Ffuluma ove mu watukuvu, kubanga osobezza, era tojja kusiimibwa Mukama Katonda.”

19Awo Uzziya nʼasunguwala ngʼakyakutte ekyoterezo mu mukono gwe. Mu kiseera ekyo ngʼasunguwalidde bakabona ngʼayimiridde ku mabbali gʼekyoto ekyʼobubaane mu yeekaalu ya Mukama, ebigenge ne bimukwata ekyenyi kyonna.

20Awo Azaliya kabona asinga obukulu ne bakabona abalala bwe bamutunuulira, ne balaba ngʼakwatiddwa ebigenge mu kyenyi kye ne banguwa okumufulumya ebweru. Ate era naye yennyini nʼayagala okufuluma kubanga Mukama yali amukubye omuggo.

21 Kabaka Uzziya nʼaba mugenge okutuusa lwe yafa, ngʼabeera mu nnyumba eyayawulibwa ku ndala zonna olwʼobugenge bwe, nga nʼobuvunaanyizibwa bwonna bumuggyibbwako, ate era nga takkirizibwa kuyingira mu yeekaalu ya Mukama. Yosamu mutabani we nʼatwala obuvunaanyizibwa obwʼolubiri nʼafuga abantu abʼeggwanga.

22 Ebyafaayo ebirala ebyʼomu mirembe gya Uzziya, okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero, byawandiikibwa Isaaya nnabbi, mutabani wa Amozi.

23 Uzziya nʼafa, nʼaziikibwa okumpi ne bajjajjaabe mu kiggya kya bakabaka, kubanga, yali mugenge. Yosamu mutabani we nʼamusikira, bwʼatyo nʼafuga mu kifo kye.

cle>