2 Ebyomumirembe 27:1-9 LGCB2014 - Bible AI

1 Yosamu yali wa myaka amakumi abiri mu etaano, bwe yalya obwakabaka, nʼafugira mu Yerusaalemi emyaka kkumi na mukaaga. Nnyina ye yali Yerusa muwala wa Zadooki.

2 Newaakubadde ngʼabantu beeyongera okukola ebitali bya butuukirivu, Yosamu yakola ebirungi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe Uzziya bwe yakola; naye obutafaanana nga kitaawe bwe yakola, teyayingira mu yeekaalu ya Mukama.

3Nʼaddaabiriza Omulyango ogwʼEkyengulu ogwa yeekaalu ya Mukama, ate era nʼakola omulimu munene ogwʼokuddaabiriza bbugwe wa Oferi.

4Nʼazimba nʼebibuga mu nsozi za Yuda, ate mu bibira nʼazimbamu ebigo nʼasimbamu nʼeminaala.

5Yosamu nʼalwana ne kabaka wʼAbamoni nʼamuwangula, era omwaka ogwo Abamoni ne bamuwa ttani ssatu eza ffeeza ne desimoolo nnya, nʼebigero byʼeŋŋaano obukadde bubiri mu emitwalo amakumi abiri, nʼebigero bya sayiri obukadde bubiri mu emitwalo amakumi abiri. Abamoni ne bamuleeteranga ebintu byebimu mu bigero byebimu mu mwaka ogwokubiri ne mu mwaka ogwokusatu.

6Yosamu nʼaba nʼobuyinza bungi kubanga yatambuliranga mu makubo ga Mukama Katonda we.

7Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Yosamu, entalo ze yalwana, ne bye yakola, byawandiikibwa mu kitabo kya Bassekabaka ba Isirayiri ne Yuda.

8Yosamu yali wa myaka amakumi abiri mu etaano bwe yalya obwakabaka, era nʼafugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemi.

9 Ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, nʼaziikibwa mu Kibuga kya Dawudi; Akazi mutabani we nʼamusikira.

le>