1
2Nʼatambulira mu makubo ga bassekabaka ba Isirayiri, nʼokukola nʼakola ebifaananyi ebisaanuuse ebyakozesebwanga mu kusinza Baali.
3Nʼayoterezanga obubaane mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, nʼawaayo batabani be okuba ebiweebwayo ebyokebwa, ngʼagoberera emizizo gyʼabannaggwanga, Mukama be yagoba mu maaso gʼAbayisirayiri.
4Nʼawangayo ssaddaaka wamu nʼokwoterezanga obubaane mu bifo ebigulumivu, ne ku ntikko zʼensozi, ne wansi wa buli muti omubisi.
5
6
7Ne Zikuli, omusajja omulwanyi omuzira owa Efulayimu nʼatta Maaseya mutabani wa kabaka, ne Azulikamu omukulu wʼolubiri ne Erukaana omukungu, addirira kabaka.
8Abayisirayiri ne bawamba abakyala, nʼabaana aboobulenzi, nʼaboobuwala, emitwalo amakumi abiri ku baganda baabwe, ne babatwala nga basibe e Samaliya, ate ne babatwalako nʼomunyago mungi.
9
10Kaakano, abasajja nʼabakazi aba Yuda ne Yerusaalemi mumaliridde, okubafuula abaddu bammwe. Naye bwe mmwekebera, temulina kyemwali musobezza Mukama Katonda wammwe?
11
12Awo abamu ku bakadde ba Efulayimu, Azaliya mutabani wa Yokanaani, ne Berakiya mutabani wa Mesiremosi, ne Yekizukiya mutabani wa Sallumu, ne Amasa mutabani wa Kadalayi, ne bayimirira okuziyiza abo abaali bava mu lutalo.
13Ne babagamba nti, “Temujja kuleeta basibe abo wano, kubanga mujja kutuleetako omusango eri Mukama nga mwongereza ku kibi ne ku musango bye tulina. Omusango gwaffe munene, nʼobusungu bwe buli ku Isirayiri.”
14Awo abaserikale ne basumulula abasibe, nʼomunyago ne baguwaayo mu maaso gʼabakungu nʼekibiina kyonna.
15Ne balonda abasajja abaatwala abasibe ne baggya engoye mu munyago ne bambaza abo bonna abaali obwereere, ne babawa engoye endala, nʼengatto, ne babawa emmere nʼekyokunywa, ne babanyiga nʼebiwundu. Nʼabaali abanafu ennyo bonna ne babasitulira ku ndogoyi, ne babazzaayo eri baganda baabwe e Yeriko, ekibuga ekyʼenkindu, bo ne bakomawo e Samaliya.
16
17
18Mu kiseera kyekimu Abafirisuuti baali balumbye ebibuga ebyʼomu nsenyi nʼebyʼomu bukiikaddyo obwa Yuda, nga bawambye Besusemesi, ne Ayalooni, ne Gederosi, ne Soko, ne Timuna, ne Gimuzo nʼebyalo ebyali byetoolodde ebibuga ebyo, era ngʼomwo mwe babeera.
19Mukama yakkakkanya nnyo Yuda olwʼebibi nʼobutali bwesigwa bwa Akazi kabaka wa Isirayiri eri Mukama, Akazi bye yakola mu Yuda.
20Tigulasupireseri kabaka wʼe Bwasuli nʼajja gyʼali, nʼamucocca mu kifo ekyʼokumuyamba.
21Akazi nʼaggya ebimu ku bintu ebyali mu yeekaalu ya Mukama, ne ku ebyo ebyali mu lubiri lwa kabaka, ne ku bya balangira nʼabiwa kabaka wʼe Bwasuli; naye ekyo ne kitamuyamba.
22Mu kiseera ekyo kabaka Akazi we yalabira ennyo ennaku, yeeyongera obutaba mwesigwa eri Mukama.
23Nʼawangayo ssaddaaka eri bakatonda bʼe Ddamasiko, abaali bamuwangudde, kubanga yalowooza nti, “Engeri bakatonda ba bakabaka bʼe Busuuli bwe babayambye, nnaawaayo ssaddaaka gye bali, nange bannyambe.” Naye okwo kwe kwali okuzikirira kwe nʼokwa Isirayiri yenna.
24Akazi nʼakuŋŋaanya ebintu ebyʼomu yeekaalu ya Katonda, nʼabiggyamu, nʼaggalawo enzigi za yeekaalu ya Mukama, ne yeezimbira ebyoto mu buli nsonda mu Yerusaalemi.
25Mu buli kibuga kya Yuda nʼazimbamu ebifo ebigulumivu okuwerangayo ssaddaaka eri bakatonda abalala, nʼasunguwaza Mukama Katonda wa bajjajjaabe.
26
27Akazi nʼafa nʼaziikibwa mu kibuga kya Yerusaalemi, naye si mu masiro ga bassekabaka ba Isirayiri. Keezeekiya mutabani we nʼamusikira.