1
2Keezeekiya nʼakola ebirungi mu maaso ga Mukama, nga jjajjaawe Dawudi bwe yakola.
3Mu mwaka gwe ogwasooka, mu mwezi ogwʼolubereberye, nʼaggulawo enzigi za yeekaalu ya Mukama, nʼaziddaabiriza.
4Nʼayingiza bakabona nʼAbaleevi, nʼabakuŋŋaanyiza mu luggya olugazi ku luuyi olwʼebuvanjuba,
5nʼabagamba nti, “Mumpulirize Abaleevi, kaakano mwetukuze, ate mutukuze ne yeekaalu ya Mukama Katonda wa bajjajjammwe, muggye buli kitali kirongoofu mu watukuvu.
6
7Baggalawo nʼenzigi ezʼekisasi ne bazikiza nʼettabaaza, so tebootereza bubaane wadde okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa mu watukuvu eri Katonda wa Isirayiri.
8Obusungu bwa Mukama kyebwava bukka ku Yuda ne ku Yerusaalemi, era abafudde ekikangabwa, nʼekisekererwa era ekinyoomebwa, nga bwe mulaba nʼamaaso gammwe.
9Bajjajjaffe kyebaava bagwa nʼekitala, ate batabani baffe, ne bawala baffe ne bakyala baffe bo ne batwalibwa mu busibe.
10Kaakano mmaliridde mu mutima gwange okukola endagaano ne Mukama, Katonda wa Isirayiri obusungu bwe obwʼamaanyi butuveeko.
11
12Awo Abaleevi ne batandika okukola era baali:
13
14
15Ne bakuŋŋaanya baganda baabwe, ne beetukuza bo bennyini, nʼoluvannyuma ne bayingira okutukuza yeekaalu ya Mukama nga kabaka bwe yali alagidde, ngʼagoberera ebigambo bya Mukama.
16Bakabona ne bayingira mu watukuvu wa Mukama ne batukuzaamu. Ne bafulumya ebitaali birongoofu byonna ebyasangibwa mu yeekaalu ya Mukama ne babiteeka mu luggya lwa yeekaalu ya Mukama, Abaleevi ne babitwala ebweru mu Kiwonvu Kiduloni.
17Okutukuza ne kutandika ku lunaku olusooka mu mwezi ogwʼolubereberye; ku lunaku olwʼomunaana mu mwezi ogwo ne batuuka ku kisasi kya Mukama. Ne bamala ennaku munaana nga batukuza yeekaalu ya Mukama; ku lunaku olwʼekkumi nʼomukaaga olwʼomwezi ogwʼolubereberye ne bamaliriza.
18Awo ne bagenda eri kabaka Keezeekiya ne bamutegeeza nti, “Tutukuzizza yeekaalu ya Mukama yonna, ekyoto ekyʼokuweerayo ebiweebwayo ebyokebwa nʼebintu byakwo byonna, nʼemmeeza eyʼemigaati egyʼokulaga nʼebintu byakwo byonna.
19Nʼebintu byonna kabaka Akazi bye yaggyamu olwʼobutali bwesigwa bwe, tubiteeseteese ne tubitukuza, era laba biri mu maaso gʼekyoto kya Mukama.”
20Awo bwe bwakya, enkeera kabaka Keezeekiya nʼakuŋŋaanya abakungu abʼomu kibuga, ne balaga mu yeekaalu ya Mukama.
21
22
23Embuzi ennume ezaali ezʼekiweebwayo ku lwʼekibi ne zireetebwa mu maaso ga kabaka nʼekibiina, ne bazisaako emikono gyabwe,
24
25Nʼateeka Abaleevi mu yeekaalu ya Mukama nga balina ebitaasa, entongooli, nʼennanga, ngʼekiragiro kya Dawudi, ne Gaadi omulabi wa kabaka ne Nasani nnabbi bwe kyali; kubanga ekiragiro ekyo kyava eri Mukama ngʼayita mu bannabbi be.
26Awo Abaleevi ne bayimirira nga bakutte ebivuga bya Dawudi, ne bakabona nga bakutte amakondeere.
27Keezeekiya nʼalagira okuwaayo ssaddaaka eyʼekiweebwayo ekyokebwa ku kyoto. Era okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa bwe kwatandika, abayimbi nabo ne batandika okuyimbira Mukama, nʼamakondeere nʼebivuga ebirala ebya Dawudi kabaka wa Isirayiri nabyo ne bivuga.
28Ekibiina kyonna ne basinza, abayimbi ne bayimba, nʼabamakondeere ne bagafuuwa, era ebyo byonna ne byongerwa okukolebwa okutuusa okuwaayo ssaddaaka eyʼekiweebwayo ekyokebwa bwe kwaggwa.
29Awo okuwaayo ebiweebwayo bwe kwaggwa, kabaka nʼabo bonna abaaliwo ne bavuunama ne basinza.
30Kabaka Keezeekiya nʼabakungu ne balagira Abaleevi okuyimba nga batendereza Mukama mu bigambo bya Dawudi nʼebya Asafu omulabi. Ne bayimba nga batendereza nʼessanyu, ne bavuunama ne basinza.
31Awo Keezeekiya nʼayogera nti, “Kaakano mwetukuzizza eri Mukama, musembere, muleete ssaddaaka nʼebiweebwayo ebyokwebaza mu yeekaalu ya Mukama.” Ekibiina ne kireeta ssaddaaka nʼebiweebwayo ebyʼokwebaza, nʼabo bonna abeesiimira ne baleeta ebiweebwayo ebyokebwa.
32Omuwendo gwʼebiweebwayo ebyokebwa ekibiina gwe kyaleeta gwali ente ennume nsanvu, nʼendiga ennume kikumi, nʼendiga ento nga nnume ebikumi bibiri, ngʼebyo byonna bye byali ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama.
33Nʼensolo ezatukuzibwa okuba ssaddaaka zaali ente ennume lukaaga, nʼendiga enkumi ssatu.
34Wabula bakabona ne baba batono ne batayinza kubaaga biweebwayo ebyokebwa byonna, baganda baabwe Abaleevi ne babayambako okutuusa bakabona abalala bwe beetukuza; omulimu ne guggwa, kubanga Abaleevi baali beegendereza nnyo mu kwetukuza okusinga bakabona.
35
36Awo Keezeekiya nʼabantu bonna ne bajaguza olwʼekyo Katonda kye yali akoledde abantu be mu bbanga ettono ennyo.