1
2Yatandika okugizimba mu mwezi ogwokubiri mu mwaka ogwokuna ogwʼobufuzi bwe.
3
4Ekisasi ekyali mu maaso ga yeekaalu kyali obuwanvu mita mwenda nʼobugazi nga kye kimu, nʼobugulumivu kyali mita mwenda. Munda mu yeekaalu nʼasiigamu ne zaabu ennongoofu.
5
6Nʼayonja yeekaalu nʼamayinja agʼomuwendo, ne zaabu gwe yakozesa yali zaabu owa Paluvayimu.
7
8Nʼazimba nʼEkifo Ekitukuvu Ennyo, ngʼobuwanvu kyenkanankana obugazi bwa yeekaalu, obuwanvu kyali mita mwenda nʼobugazi mita mwenda. Munda waakyo nʼasiigamu ttani amakumi abiri mu ssatu eza zaabu ennongoofu.
9Obuzito bwʼemisumaali bwali desimoolo mukaaga era nga gya zaabu.
10Mu Kifo Ekitukuvu Ennyo nʼabajjirayo bakerubi babiri nʼabasiiga ne zaabu.
11Obugazi bwe biwaawaatiro bya bakerubi bwali mita mwenda, ngʼekimu obuwanvu bwakyo kiri mita bbiri ne desimoolo ssatu, nga kituuka ku kisenge kya yeekaalu, nʼekirala obuwanvu nga kiri mita bbiri ne desimoolo ssatu, nga kituuka ku kerubi omulala.
12Nʼekiwaawaatiro kya kerubi omulala kyali obuwanvu mita bbiri ne desimoolo ssatu nga kituuka ku ludda lwʼekisenge kya yeekaalu ekirala, nʼekiwaawaatiro ekirala obuwanvu nga kiri mita bbiri ne desimoolo ssatu, nga kituuka ku kerubi oli omulala.
13Obuwanvu bwʼebiwaawaatiro bya bakerubi bwali mita mwenda awamu, era baasimbibwa ku bigere byabwe, nga batunuuliraganye.
14Nʼakola olutimbe nga lulimu bbululu, effulungu, era nga lutwakaavu, ne bafuta ennungi nʼalukubako ebifaananyi bya bakerubi.
15Mu maaso ga yeekaalu yassaawo empagi bbiri, obuwanvu bwazo mita kkumi na mukaaga, nga buli emu ku zo eriko omutwe ogwenkana mita bbiri ne desimoolo ssatu.
16
17Nʼasimba empagi mu maaso ga yeekaalu, emu ku luuyi olwʼebugwanjuba obwa ddyo, nʼendala ku luuyi olwʼebugwanjuba obwa kkono. Eyʼoku luuyi olwʼebugwanjuba obwa ddyo yagituuma Yakini