1Awo Keezeekiya nʼaweereza obubaka eri Isirayiri yonna ne Yuda, nʼawandiikira ne Efulayimu ne Manase amabaluwa, ngʼabayita okujja e Yerusaalemi mu yeekaalu ya Mukama, okukwata Embaga eyʼOkuyitako eya Mukama Katonda wa Isirayiri.
2Kabaka nʼabakungu be, nʼekibiina kyonna mu Yerusaalemi baasalawo okukwata Embaga eyʼOkuyitako mu mwezi ogwokubiri;
3baali tebasobola kukwata mbaga eyo mu kiseera kyayo kubanga bakabona abaali beetukuzizza, baali batono ate nga nʼabantu tebanakuŋŋaanira mu Yerusaalemi.
4Enteekateeka eyo nʼerabika nga nnungi eri kabaka nʼekibiina kyonna.
5Ne basalawo okulangirira mu Isirayiri yenna, okuva e Beeruseba okutuuka e Ddaani, nga bategeeza abantu okujja e Yerusaalemi okukwata Embaga eyʼOkuyitako eya Mukama Katonda wa Isirayiri; baali batutte ebbanga nga tebagikwata ngʼekibiina ekinene ekyʼawamu, nga bwe kyawandiikibwa.
6Awo ababaka ne batwala amabaluwa mu Isirayiri yonna ne mu Yuda okuva ewa kabaka nʼabakungu be, ngʼekiragiro kya kabaka bwe kyali nti,
7
8So temuba ba nsingo nkakanyavu nga bajjajjammwe bwe baali, naye mukkakkane eri Mukama, mujje mu watukuvu we, we yatukuza emirembe gyonna, muweereze Mukama Katonda wammwe, obusungu bwe bubaveeko.
9
10Ababaka ne bagenda mu buli kibuga mu nsi ya Efulayimu ne Manase, ne batuuka ne mu Zebbulooni, naye abasinga obungi ne babasekerera, ne babaduulira.
11Kyokka abamu ku bantu abʼe Aseri, ne Manase ne Zebbulooni ne beetoowaza ne bagenda e Yerusaalemi.
12Ne mu Yuda, omukono gwa Katonda ne gukwata ku bantu ne bakkiriziganya ku ekyo kabaka nʼabakungu kye baalagira, nga bagoberera ekigambo kya Mukama.
13
14Ne baggyawo ebyoto ebyali mu Yerusaalemi, nʼebyoto byonna ebyʼokwoterezaako obubaane, ne babisuula mu Kiwonvu Kidulooni.
15Ne batta Endiga Ento eyʼEmbaga eyʼOkuyitako ku lunaku olwʼekkumi nʼennya olwʼomwezi ogwokubiri. Bakabona nʼAbaleevi ne baswala, ne beetukuza, ne baleeta ebiweebwayo ebyokebwa mu yeekaalu ya Mukama.
16Ne bayimirira mu bifo byabwe ngʼetteeka lya Musa omusajja wa Katonda bwe lyali libalagira. Bakabona ne bamansira omusaayi ogwabaweerezebwa Abaleevi.
17Bangi ku bo, baali tebeetukuzizza nga tebasobola kuwaayo ndiga zaabwe; Abaleevi kyebaava battira buli muntu ataali mulongoofu Endiga Ento eyʼEmbaga eyʼOkuyitako, okubatukuza eri Mukama.
18Newaakubadde ngʼabantu abasinga abaava mu Efulayimu, ne Manase, ne Isakaali, ne Zebbulooni baali tebeetukuzizza, baalya Embaga eyʼOkuyitako, ekyali tekikkiriziganya na biwandiike. Naye Keezeekiya nʼabasabira ngʼagamba nti, “Mukama omulungi asonyiwe buli muntu
19amaliridde mu mutima gwe okunoonya Katonda, Mukama Katonda wa bajjajjaabe, newaakubadde nga tabadde mulongoofu okusinziira ku mateeka gʼawatukuvu.”
20Mukama nʼawulira okusaba kwa Keezeekiya, nʼatabazikiriza.
21Abayisirayiri abaali mu Yerusaalemi ne bakwata Embaga eyʼEmigaati Egitali Mizimbulukuse okumala ennaku musanvu nga bajjudde essanyu lingi; Abaleevi ne bakabona ne batenderezanga Mukama buli lunaku, nga bakuba nʼebivuga ebyʼokumutendereza.
22Keezeekiya nʼayogera ebigambo ebyʼokugumya Abaleevi bonna abaalaga nga bategeera obuweereza bwa Mukama. Abantu ne balya emmere eyʼembaga okumala ennaku musanvu, ne bawaayo ssaddaaka ezʼebiweebwayo olwʼemirembe, ne batendereza Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
23
24Keezeekiya kabaka wa Yuda nʼawa ekibiina ente ennume nga nto lukumi nʼendiga kasanvu okuba ebiweebwayo, ne bakabona bangi nnyo ne beetukuza.
25Ekibiina kyonna ekya Yuda, ne bakabona, nʼAbaleevi, nʼekibiina kyonna ekyava mu Isirayiri, nʼabagenyi abaali bavudde mu nsi ya Isirayiri, nʼabagenyi abaabeeranga mu Yuda ne bajaguliza wamu.
26Ne waba essanyu lingi mu Yerusaalemi kubanga okuva mu biro bya Sulemaani mutabani wa Dawudi kabaka wa Isirayiri, waali tewabangawo kintu kifaanana bwe kityo mu Yerusaalemi.
27