1
2Keezeekiya nʼaddira bakabona nʼAbaleevi nʼabassa mu bibinja, buli omu ngʼobuweereza bwe bwali, oba kabona oba muleevi, okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa nʼebiweebwayo olwʼemirembe okuweerezanga, nʼokwebazanga, nʼokutenderezanga ku nzigi eza yeekaalu ya Mukama.
3Kabaka nʼawaayo ku byobugagga bwe ebiweebwayo ebyokebwa ebyʼenkya nʼebyʼakawungeezi, nʼebiweebwayo ebyokebwa ebya ssabbiiti, nʼebyʼemyezi egyakaboneka, nʼassaawo nʼembaga ezaalagirwa nga bwe kyawandiikibwa mu tteeka lya Mukama.
4
5Awo ekiragiro ekyo bwe kyabuna wonna, amangwago Abayisirayiri ne bawaayo ku bibala byabwe ebibereberye bingi ebyʼeŋŋaano, nʼebya wayini omusu, nʼebyʼamafuta, nʼebyʼomubisi gwʼenjuki ne ku ebyo byonna ebyava mu nnimiro. Ne baleeta bingi nnyo, ekitundu ekyʼekkumi ku buli kintu.
6
7Baatandika okutuuma ebintu ebyo entuumo mu mwezi ogwokusatu ne bamaliriza mu mwezi ogwʼomusanvu.
8Awo Keezeekiya nʼabakungu be, bwe bajja ne balaba entuumo ne beebaza Mukama, ne basabira nʼabantu be, Isirayiri, omukisa.
9Keezeekiya nʼabuuza bakabona nʼAbaleevi ebikwata ku ntuumu.
10Azaliya kabona asinga obukulu owʼomu nnyumba ya Zadooki nʼamuddamu nti, “Okuva abantu lwe baatandika okuleeta ebirabo byabwe mu yeekaalu ya Mukama, tubadde nʼebyokulya ebiwera nʼebirala ne bifikkawo, kubanga Mukama awadde abantu be omukisa, nʼebifisseewo bye bino obungi.”
11Awo Keezeekiya nʼalagira bateeketeeke amaterekero mu yeekaalu ya Mukama, ne bagateekateeka.
12Ne balyoka baleeta ebirabo, ebintu ebyʼekimu ekyʼekkumi, nʼebintu ebyatukuzibwa. Konaniya Omuleevi ye yavunaanyizibwanga ebintu ebyo, ate nga Simeeyi muganda we ye mumyuka we.
13Yekyeri, ne Azaziya, ne Nakasi, ne Asakeri, ne Yerimosi, Yozabadi, ne Eryezi, ne Isumakiya, ne Makasi ne Benaya be baabayambangako. Konaniya ne Simeeyi muganda we, baalondebwa Kabaka Keezeekiya ne Azaliya omukungu omukulu eyavunaanyizibwanga yeekaalu ya Katonda.
14
15Edene, ne Miniyamini, ne Yesuwa, ne Semaaya, ne Amaliya ne Sekaniya, be baamuyambangako nʼobwesigwa mu bibuga bya bakabona okugabiranga bakabona bannaabwe ngʼebibinja byabwe bwe byali, abakulu nʼabato.
16Ate era baagabiranga nʼabalenzi abʼemyaka esatu nʼokukirawo abaali babalibbwa ngʼokuzaalibwa kwe mbala bwe kwalinga, abo bonna abayingiranga mu yeekaalu ya Mukama okutuukirizanga emirimu gyabwe nga bwe kyabagwaniranga, mu bibinja byabwe.
17Ne bagabiranga ne bakabona abaabalibwa ngʼenzaalwa mu kubala okwʼokuzaalibwa kwabwe bwe kwali, nʼAbaleevi abaali abʼemyaka amakumi abiri nʼokukirawo ne babagabira ngʼebyʼobuvunaanyizibwa bwabwe mu bibinja byabwe bwe byali.
18Omwo mwe mwali abaana abato, nʼabakyala, ne batabani baabwe, ne bawala baabwe ngʼebitundu byabwe bwe byali biwandiikiddwa mu byafaayo ebyʼokuzaalibwa. Ne babeera beesigwa mu kwekuuma nga batukuvu.
19
20Bwʼatyo Keezeekiya bwe yakola ne mu Yuda yonna, nʼakola ebirungi era ebituufu nʼobwesigwa mu maaso ga Mukama Katonda we.
21