1
2Awo Keezeekiya bwe yalaba nga Sennakeribu azze, era ngʼamaliridde okulwana ne Yerusaalemi,
3nʼateesa nʼabakungu be nʼabasajja be abalwanyi abazira, ku kyʼokuziba enzizi ezaali ebweru wʼekibuga, era ne bakikola.
4
5Nʼafuba nnyo nʼaddaabiriza ebitundu byonna ebya bbugwe ebyali bimenyese, nʼazimba nʼeminaala ku bbugwe, nʼanyweza nʼebigulumu ebyanywezanga ekibuga kya Dawudi. Nʼakozesa nʼebyokulwanyisa bingi nʼengabo nnyingi.
6Nʼalonda abaduumizi bʼeggye okukulembera abantu, ne babakuŋŋaanyiza gyʼali mu kifo ekigazi awali wankaaki wʼekibuga; nʼabagumya ngʼagamba nti,
7“Mube nʼamaanyi, mugume omwoyo. Temutya so temwelariikirira olwa kabaka wʼe Bwasuli nʼeggye lye eddene, kubanga waliwo eggye eririsinga eriri awamu naffe.
8Sennakeribu akozesa omukono ogwʼomubiri, naye ffe tulina Mukama Katonda waffe atulwanirira mu ntalo zaffe.” Abantu ne baguma omwoyo olwʼebigambo Keezeekiya kabaka wa Yuda bye yayogera.
9
10
11
12
13
14Ani ku bakatonda abamawanga ago bajjajjange ge baazikiriza, eyayinza okubalokola mu mukono gwange? Katonda wammwe anaabawonya atya mu mukono gwange?
15
16Abakungu ba Sennakeribu ne boogera bingi nnyo nʼokusingawo ku Mukama Katonda ne ku muddu we Keezeekiya.
17
18
19Ne boogera ku Katonda wa Yerusaalemi nga bwe baayogeranga ku bakatonda abamawanga amalala agʼomu nsi endala, abakolebwa abantu.
20
21Mukama nʼatuma malayika, nʼatemaatema abasajja abalwanyi abazira abʼamaanyi bonna nʼabaduumizi, nʼabakungu mu nkambi ya kabaka wʼe Bwasuli. Sennakeribu nʼaddayo mu nsi ye ngʼensonyi zimukutte. Bwe yayingira mu yeekaalu ya katonda we, abamu ku batabani be ne bamutta nʼekitala.
22Awo Mukama nʼalokola Keezeekiya nʼabantu ba Yerusaalemi mu mukono gwa Sennakeribu kabaka wʼe Bwasuli ne mu mukono gwʼabalabe baabwe bonna abalala. Nʼabaakuumanga enjuuyi zonna.
23Bangi ne baleetera Mukama ebirabo e Yerusaalemi, ne Keezeekiya kabaka wa Yuda nʼafuna ebirabo ebyʼomuwendo omungi. Nʼokuva ku lunaku olwo nʼaweebwa ekitiibwa kinene mu mawanga gonna.
24Mu biro ebyo, Keezeekiya nʼalwala nnyo kumpi nʼokufa. Nʼasaba Mukama amuwonye, nʼamuddamu nʼakabonero.
25Naye Keezeekiya nʼateebaza ebyekisa ekya mukolerwa, olwʼamalala agaali mu ye. Obusungu bwa Mukama kyebwava bubuubuukira ku ye ne ku Yuda ne ku Yerusaalemi.
26Oluvannyuma, Keezeekiya ne yeenenya amalala agaali mu ye, ku lulwe ne ku lwʼabantu abʼomu Yerusaalemi, ekiruyi kya Mukama ne butababuubuukirako mu mirembe gya Keezeekiya.
27Keezeekiya yalina ebyʼobugagga bingi nnyo nʼekitiibwa, ne yeezimbira nʼamawanika agʼokukuumirangamu effeeza, ne zaabu, nʼamayinja agʼomuwendo omungi, nʼebyakaloosa, nʼengabo, nʼebintu ebyʼengeri zonna ebyʼomuwendo.
28Nʼazimba nʼamaterekero agʼeŋŋaano, ne wayini, nʼamafuta; nʼazimba nʼebiraalo ebyʼebika byʼente byonna, nʼebifo ebyʼebisibo byʼendiga.
29Ne yeezimbira ebibuga, ne yeefunira nʼebisibo nʼamagana mangi, kubanga Katonda yali amuwadde ebyʼobugagga bingi nnyo nnyini.
30Keezeekiya, ye yaziba oluzzi olwa waggulu olwa Gikoni, amazzi nʼagaserengesa ku luuyi olwʼebugwanjuba olwʼekibuga kya Dawudi. Nʼalaba omukisa mu buli kye yakolanga.
31Naye mu bigambo ebyʼababaka abaatumibwa abakungu bʼe Babulooni okumubuuza ku byamagero ebyakolebwa mu nsi ye, Katonda nʼamugeza alyoke ategeere byonna ebyali mu mutima gwe.
32Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Keezeekiya, nʼebikolwa bye ebirungi ebyʼobunyiikivu, byawandiikibwa mu kwolesebwa kwa Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi, mu kitabo kya bassekabaka ba Yuda ne Isirayiri.
33Keezeekiya ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, nʼaziikibwa mu masiro ga bazzukulu ba Dawudi, era Yuda yonna, nʼabatuuze bonna aba Yerusaalemi ne bamukungubagira ne bamuwa ekitiibwa ne mu kufa kwe. Manase mutabani we nʼamusikira.