2 Ebyomumirembe 33:1-25 LGCB2014 - Bible AI

1Manase yalya obwakabaka nga wa myaka kkumi nʼebiri, nʼafugira emyaka amakumi ataano mu etaano mu Yerusaalemi.

2Nʼakola ebitaali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama, ngʼagoberera ebikolwa ebyʼekivve ebyʼamawanga Mukama ge yagoba mu maaso gʼAbayisirayiri.

3Nʼaddaabiriza ebifo ebigulumivu kitaawe Keezeekiya bye yali amenyeemenye, nʼazimbira ne Baali ebyoto, nʼakola ne Baasera, nʼasinza era nʼaweereza nʼeggye lyonna eryʼoku ggulu.

4Nʼazimba ebyoto mu yeekaalu ya Mukama, Mukama gye yayogerako nti, “Mu Yerusaalemi erinnya lyange mwe linaabeeranga emirembe gyonna.”

5Nʼazimba ebyoto ebyʼokusinzizangako eggye lyonna eryʼoku ggulu, mu mpya zombi eza yeekaalu ya Mukama.

6Nʼawaayo abaana be ngʼekiweebwayo, nʼabookera mu kiwonvu ekya mutabani wa Kinomu, nʼakola ebyʼobufumu, nʼalagulira mu bire, nʼakola ebyʼobulogo, nʼagendanga nʼeri abaliko emizimu ne ddayimooni. Nʼakola ebitaali bya butuukirivu bingi mu maaso ga Mukama, nʼasunguwaza nnyo Mukama.

7Nʼaddira ekifaananyi ekyole kye yakola, nʼakiteeka mu yeekaalu ya Katonda, Katonda gye yayogerako eri Dawudi ne Sulemaani mutabani we nti, “Mu yeekaalu eno ne mu Yerusaalemi muno, bye nalonda mu bika byonna ebya Isirayiri, mwe munaabeeranga Erinnya lyange emirembe gyonna.

8Sijjululenga nate kigere kya Isirayiri okuva mu nsi gye nawa bajjajjammwe, bwe baneekuumanga okukola bye mbalagidde, nga bagoberera amateeka gonna, nʼebiragiro, nʼobulombolombo bye nnawa Musa.”

9Naye Manase nʼasendasenda Yuda nʼabantu bʼe Yerusaalemi okukola ebitaali bya butuukirivu okusinga amawanga Mukama ge yazikiririza mu maaso gʼAbayisirayiri.

10Mukama nʼayogera ne Manase nʼabantu be, kyokka ne batassaayo mwoyo.

11Mukama kyeyava abasindikira abaduumizi bʼeggye lya kabaka wʼe Bwasuli, ne basiba Manase mu njegere ne mu masamba, ne bamutwala e Babulooni nga musibe.

12Ngʼali eyo mu nnaku ye, ne yeegayirira Mukama Katonda we, ne yeetoowaza nnyo mu maaso ga Katonda wa bajjajjaabe.

13Nʼamusaba, Mukama nʼawulira okwegayirira kwe, nʼamukomyawo e Yerusaalemi nʼeri obwakabaka bwe. Awo Manase nʼategeera nga Mukama ye Katonda.

14Oluvannyuma lwʼebyo nʼaddaabiriza bbugwe owʼebweru owʼekibuga kya Dawudi, ku luuyi olwʼebugwanjuba olwa Gikoni, mu kiwonvu, okutuuka awayingirirwa mu Mulyango ogwʼEbyennyanja, nʼokwetooloola olusozi lwa Oferi, nʼokumuzimba nʼamuzimba ngʼasingako bbugwe eyaliwo obuwanvu. Nʼateeka nʼabaduumizi bʼeggye mu bibuga byonna ebiriko bbugwe mu Yuda.

15Nʼaggyamu bakatonda abamawanga nʼekifaananyi ekyole mu yeekaalu ya Mukama, nʼebyoto byonna bye yazimba ku kasozi ka yeekaalu ne mu Yerusaalemi, nʼabisuula ebweru wʼekibuga.

16Nʼaddaabiriza ekyoto kya Mukama, nʼaweerayo ssaddaaka ezʼebiweebwayo olwʼemirembe nʼezʼokwebaza, nʼalagira Yuda okuweerezanga Mukama Katonda wa Isirayiri.

17Wabula abantu bo, ne beeyongera okuweerangayo ssaddaaka ku bifo ebigulumivu, nga baziwaayo eri Mukama Katonda waabwe.

18Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Manase, ngʼomwo mwe muli okusaba kwe eri Mukama nʼebigambo abalabi bye baamutegeezanga mu linnya lya Mukama Katonda wa Isirayiri, byawandiikibwa mu bitabo ebyʼomu mirembe gya bassekabaka ba Isirayiri.

19Okusaba kwe, nʼokusaasira kwa Katonda gyʼali, nʼebibi bye, nʼobutali bwesigwa bwe, nʼebifo ebigulumivu bye yazimba, ne Baasera, nʼebifaananyi ebyole bye yassaawo nga taneetoowaza, byonna byawandiikibwa mu bitabo ebyʼomu mirembe gyʼabalabi.

20Manase ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, nʼaziikibwa mu lubiri lwe, Amoni mutabani we nʼamusikira.

21Amoni yali wa myaka amakumi abiri mu ebiri we yaliira obwakabaka.

22Nʼakola ebitaali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama, nga Manase kitaawe bwe yakola.

23Naye obutafaanana nga kitaawe Manase, Amoni nʼayongera ekibi ku kibi, nʼateetoowaza mu maaso ga Mukama.

24Abakungu ba Amoni ne bamusalira olukwe ne bamuttira mu lubiri lwe.

25Naye Abantu abʼomu nsi ne batta abo bonna abasala olukwe okutta kabaka Amoni; ne bafuula Yosiya mutabani we okuba kabaka mu kifo kye.

cle>