2 Ebyomumirembe 34:1-33 LGCB2014 - Bible AI

1Yosiya yali wa myaka munaana bwe yalya obwakabaka, era nʼafugira emyaka amakumi asatu mu gumu mu Yerusaalemi.

2Nʼakola ebirungi mu maaso ga Mukama, nʼatambulira mu makubo ga Dawudi jjajjaawe, nʼakwata ekkubo lya Mukama eggolokofu.

3Mu mwaka ogwʼomunaana ogwʼokufuga kwe, ngʼakyali muto, nʼatandika okunoonya Katonda wa Dawudi jjajjaawe, era mu mwaka ogwʼekkumi nʼebiri nʼatandika okuggya ebifo ebigulumivu, ne Baasera, nʼebifaananyi ebyole, nʼebifaananyi ebisaanuuse mu Yuda ne mu Yerusaalemi.

4Nʼalagira bamenyeemenye ebyoto bya Baali, nʼatemaatema ebyoto kwe baayoterezanga obubaane ebyali waggulu waabyo, nʼamenyaamenya ne Baasera, nʼebifaananyi ebyole, nʼebifaananyi ebisaanuuse; nʼabisesebbula, enfuufu yaabyo nʼagimansula ku malaalo gʼabo abaaweerangayo ssaddaaka.

5Nʼayokera amagumba ga bakabona abaakolanga ebyʼebivve ebyo ku byoto ebyo, nʼatukuza Yuda ne Yerusaalemi.

6Ne mu bibuga bya Manase, ne Efulayimu, ne Simyoni, okutuukira ddala mu Nafutaali, ne mu matongo gaabyo okubyetooloola,

7nʼamenyaamenya ebyoto ne Baasera, nʼasesebbula nʼebifaananyi ebyole, nʼatemaatema ebyoto byonna kwe baayokeranga obubaane mu Isirayiri yonna, nʼoluvannyuma nʼaddayo e Yerusaalemi.

8Awo mu mwaka ogwʼekkumi nʼomunaana ogwʼokufuga kwe ngʼamaze okulongoosa ensi ne yeekaalu, nʼalonda Safani mutabani wa Azaliya, ne Maaseya omwami wʼekibuga, ne Yowa mutabani wa Yowakazi omujjukiza, okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama Katonda we.

9Ne bagenda eri Kirukiya kabona asinga obukulu ne bawaayo ensimbi ezaaleetebwa mu yeekaalu ya Katonda, Abaleevi abaggazi ze baali basoloozezza mu bantu bʼe Manase, ne Efulayimu, nʼekitundu kyonna ekyasigalawo, ne Yuda yonna, ne Benyamini, nʼokuva eri abantu bʼe Yerusaalemi.

10Ne bazikwasa abakozi abaalondebwa okulabirira omulimu gwa yeekaalu ya Mukama. Abo be basajja abaasasulanga abakozi abaddaabirizanga nʼokulongoosa yeekaalu.

11Ababazzi nʼabazimbi nabo ne baweebwa ensimbi okugula amayinja amawoole, nʼembaawo ezʼebizimbe bakabaka ba Yuda bye baalagajjalira okuddaabiriza.

12Abasajja ne bakola omulimu nʼobwesigwa. Abaabalabiriranga baali: Yakasi ne Obadiya Abaleevi abʼomu kika kya Merali, ne Zekkaliya ne Mesullamu abʼomu kika kyʼAbakokasi. Abaleevi bonna abaakubanga ebivuga

13be baavunaanyizibwanga abapakasi, nʼokulabirira abakozi bonna mu kuweereza okwʼengeri zonna. Abamu ku Baleevi baali bawandiisi, nʼabalala ngʼabaami, nʼabalala nga baggazi.

14Awo bwe baali bakuŋŋaanya ensimbi ze baggya mu yeekaalu ya Mukama, Kirukiya kabona, nʼazuula ekitabo ekyʼamateeka ga Mukama agaaweebwa Musa.

15Awo Kirukiya kabona nʼagamba Safani omuwandiisi nti, “Nzudde ekitabo ekyʼamateeka mu yeekaalu ya Mukama.” Nʼakiwa Safani.

16Safani nʼakitwalira kabaka, nʼamutegeeza ne ku byʼomulimu ngʼagamba nti, “Byonna abaddu bo bye baalagirwa babikola.

17Ensimbi ezaali mu yeekaalu ya Mukama ziweereddwa abalabirira nʼabakozi.”

18Safani omuwandiisi nʼategeeza kabaka nti, “Kirukiya kabona ampadde ekitabo.” Awo Safani nʼakisomera kabaka.

19Kabaka bwe yawulira ebigambo byʼamateeka, nʼayuza ebyambalo bye.

20Nʼalagira Kirukiya ne Akikamu mutabani wa Safani, ne Abudoni mutabani wa Mikka, ne Safani omuwandiisi, ne Asaya omuddu wa kabaka, ngʼayogera nti,

21“Mugende mumbulize ku Mukama, nze nʼabasigadde mu Isirayiri ne mu Yuda, ku bikwata ku bigambo ebyʼomu kitabo ekizuuliddwa, kubanga obusungu bwa Mukama bungi nnyo nnyini era butubuubuukirako olwa bajjajjaffe abataagoberera kigambo kya Mukama okukikola nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kino.”

22Awo Kirukiya nʼabo kabaka be yali atumye ne bagenda eri Kuluda nnabbi omukazi, muka Sallumu mutabani wa Tokasi muzzukulu wa Kasula omuwanika wʼebyambalo. Yabeeranga mu Yerusaalemi mu kitundu ekyokubiri.

23Nʼabagamba nti, “Bwʼati bwʼayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Mutegeeze omusajja abatumye nti,

24bwʼati bwʼayogera Mukama nti, “Laba ndireeta ku kifo kino ne ku bantu baamu akabi, nʼebikolimo byonna ebyawandiikibwa mu kitabo, ekyasomeddwa mu maaso ga kabaka wa Yuda.

25Kubanga banvuddeko ne bookera bakatonda abalala obubaane, era bansunguwazizza nʼemirimu gyonna egyʼemikono gyabwe. Kyennaava mbasunguwalira ne wataba nʼomu akkakkanya busungu bwange.” ’

26Naye mugambe kabaka wa Yuda eyabatumye okujja okwebuuza ku Mukama nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti,

27“Kubanga omutima gwo gubadde mumenyefu ne weetoowaza mu maaso ga Katonda, bwe wawulidde ebigambo bye, ebikwata ku kifo kino nʼabo abakibeeramu, ne weetoowaza mu maaso gange, nʼoyuza ebyambalo byo, nʼokaabira mu maaso gange, nkuwulidde.

28Laba, ndikukuŋŋaanyiza eri bajjajjaabo, nʼofa mirembe, era amaaso go tegalirega ku kabi ke ndireeta ku kifo kino ne ku bantu baamu.” ’ ”

28Ne bazaayo obubaka eri kabaka.

29Awo kabaka nʼakuŋŋaanya abakadde bonna aba Yuda nʼabʼomu Yerusaalemi.

30Nʼayambuka mu yeekaalu ya Mukama, nʼabantu bonna aba Yuda, nʼabantu bʼe Yerusaalemi, ne bakabona, nʼabaleevi, nʼabantu bonna abʼekitiibwa nʼabatali ba kitiibwa. Nʼasoma ebigambo byonna ebyʼomu kitabo ekyʼendagaano, ekyazuulibwa mu yeekaalu ya Mukama.

31Kabaka nʼayimirira mu kifo kye, ne yeeyama mu maaso ga Mukama, okutambuliranga mu mpya za Mukama nʼokukwatanga amateeka ge, nʼebyo bye yategeeza, nʼebiragiro bye, nʼomutima gwe gwonna nʼomwoyo gwe gwonna, okutuukirizanga ebigambo ebyawandiikibwa mu kitabo.

32Oluvannyuma nʼalagira bonna abaali mu Yerusaalemi ne mu Benyamini okweyama. Abatuuze bʼomu Yerusaalemi ne bakola ngʼendagaano ya Katonda, Katonda wa bajjajjaabwe bwʼegamba.

33Yosiya nʼaggya ebyʼemizizo byonna ku butaka bwonna obwʼAbayisirayiri, nʼalagira bonna abaali mu Isirayiri okuweerezanga Mukama Katonda waabwe. Mu kufuga kwe kwonna, tebaava ku Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.

cle>