2 Ebyomumirembe 35:1-27 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Yosiya nʼakwata Embaga eyʼOkuyitako mu Yerusaalemi, era ne batta omwana gwʼendiga, ogwʼEmbaga eyʼOkuyitako ku lunaku olwʼekkumi nʼennya olwʼomwezi ogwʼolubereberye.

2Nʼalonda bakabona mu bifo ebyʼobuvunaanyizibwa bwabwe, nʼabakuutira mu kuweereza kwabwe mu yeekaalu ya Mukama.

3Nʼagamba Abaleevi abaayigirizanga Isirayiri yenna, era abaali abawonge eri Mukama nti, “Muteeke essanduuko entukuvu mu yeekaalu ya Sulemaani mutabani wa Dawudi, kabaka wa Isirayiri, gye yazimba. Si yaakwetikkanga ku bibegabega byammwe. Kaakano muweereze Mukama Katonda wammwe nʼabantu be Isirayiri,

4mweteeketeeke ngʼennyumba za bajjajjammwe bwe ziri mu masiga gammwe, nga mugoberera ebiragiro Dawudi kabaka wa Isirayiri ne Sulemaani mutabani we bye yawandiika.

5“Muyimirire awatukuvu mu bibinja ebyʼAbaleevi ebyʼennyumba za bajjajjammwe eza baganda bammwe abantu abaabulijjo.

6Mutte ennyana nʼabaana bʼendiga abʼEmbaga eyʼOkuyitako, mwetukuze, muteekereteekere baganda bammwe, nga mugoberera ebyo Mukama bye yalagira ngʼayita mu Musa.”

7Yosiya nʼagabira abantu abaabulijjo bonna abaaliwo endiga nʼembuzi emitwalo esatu okuba ebiweebwayo olwʼEmbaga eyʼOkuyitako, nʼente enkumi ssatu okuva mu byobugagga bwe.

8Abakungu be nabo, ku bwabwe ne bagabira abantu ne bakabona nʼabaleevi ebintu. Kirukiya, ne Zekkaliya ne Yekyeri abaddukanyanga emirimu gya yeekaalu ya Mukama ne bawa bakabona abaana bʼendiga nʼabʼembuzi enkumi bbiri mu lukaaga, nʼente ebikumi bisatu.

9Konaniya, ne Semaaya ne Nesaneri, baganda be, ne Kasabiya ne Yeyeri ne Yozabadi, abakulu bʼAbaleevi, nabo ne bawa Abaleevi abaana bʼendiga nʼente enkumi ttaano nga byʼebiweebwayo ebyʼEmbaga eyʼOkuyitako.

10Ne bateekateeka ebyʼokusinza, bakabona ne bayimirira mu bifo byabwe nʼAbaleevi mu bibinja byabwe nga kabaka bwe yalagira.

11Ne batta abaana bʼendiga abʼEmbaga eyʼOkuyitako, bakabona ne bamansira omusaayi gwe baggyanga mu bisolo, Abaleevi bye baabaaganga.

12Ne baawuula ebiweebwayo ebyokebwa balyoke babigabire abantu abaabulijjo mu bibinja byabwe mu nnyumba za bajjajjaabwe, babiweeyo eri Mukama, nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya Musa. Bwe batyo bwe baakola nʼente.

13Ne bookya ensolo ezʼEmbaga eyʼOkuyitako mu muliro nga bwe kyawandiikibwa, ne bafumba ebiweebwayo ebitukuvu mu ntamu, ne mu sefuliya ne mu nsaka, nʼoluvannyuma ne babigabira mangu buli muntu owabulijjo.

14Oluvannyuma lwʼebyo Abaleevi ne bakabona ne beeteekerateekera bo ne bakabona kubanga bakabona bazzukulu ba Alooni tebaalina bbanga olwʼomulimu ogwʼokuwaayo ebiweebwayo nʼamasavu gwe baakola okuzibya obudde. Abaleevi kyebaava beeteekerateekera bo ne bakabona batabani ba Alooni.

15Nʼabayimbi bazzukulu ba Asafu baali mu bifo byabwe nga Dawudi, ne Asafu, ne Kemani ne Yedusuni, omulabi wa kabaka, bwe baalagira. Nʼabaggazi baali ku buli luggi, nga tebava ku kuweereza kwabwe, kubanga baganda baabwe Abaleevi baabateekerateekera.

16Bwe kutyo okuweereza kwonna okwʼEmbaga eyʼOkuyitako nʼokuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto kya Mukama bwe kwali, Kabaka Yosiya kwe yalagira.

17Abayisirayiri abaaliwo mu kiseera ekyo, ne bakwata Embaga eyʼOkuyitako, ne bafumba nʼembaga eyʼEmigaati egitali mizimbulukuse, okumala ennaku musanvu.

18Waali tewabangawo Mbaga ya Kuyitako ngʼeyo mu Isirayiri okuva mu nnaku za Samwiri nnabbi, nga eyaliwo mu kiseera kya Yosiya, ne bakabona nʼAbaleevi, ne Yuda yonna ne Isirayiri abaaliwo, nʼabatuuze ba Yerusaalemi.

19Embaga eyʼOkuyitako eyo yakwatibwa mu mwaka gwa kkumi na munaana ogwʼokufuga kwa Yosiya.

20Oluvannyuma lwʼebyo byonna, Yosiya ngʼamaze okuteekateeka yeekaalu, Neeko kabaka wʼe Misiri nʼatabaala Kalukemisi ku mugga Fulaati, ne Yosiya nʼagenda amutabaale.

21Naye Neeko nʼamutumira ababaka ngʼamugamba nti, “Onvunaana ki gwe kabaka wa Yuda? Sitabaala gwe leero, wabula Kalukemisi ggwe nnwana naye, kubanga Katonda andagidde okwanguwa. Noolwekyo toziyiza Katonda, kubanga ali wamu nange. Bwʼotoobeerwe anaakuzikiriza.”

22Naye Yosiya nʼatamuwuliriza, ne yeebulizabuliza mu ggye nʼagenda okumutabaala. Nʼatawuliriza bigambo bya Neeko ebyava eri Katonda, naye nʼagenda okumulwanyisa mu lusenyi lwa Megiddo.

23Abalasi ne balasa kabaka Yosiya nʼagamba abaserikale be nti, “Munziggyeewo kubanga nfumitiddwa nnyo.”

24Awo ne bamuggya mu ggaali lye ne bamuteeka mu ggaali eddala lye yalina, ne bamuleeta e Yerusaalemi, era eyo gye yafiira. Nʼaziikibwa mu masiro ga bajjajjaabe. Yuda yonna ne Yerusaalemi ne bamukungubagira.

25Yeremiya nʼayiiya ennyimba ezʼokukungubagira Yosiya, era ne leero abayimbi bonna abasajja nʼabakazi bayimba nga bamujjukira mu nnyimba ezʼokukungubaga. Ennyimba ezo zaafuuka kijjukizo mu Isirayiri era zawandiikibwa mu kungubaga.

26Ebyafaayo ebirala ebyaliwo mu mirembe gya Yosiya, nʼebikolwa bye ebirungi, nga bwe byawandiikibwa mu tteeka lya Mukama,

27ne byonna okuva ku ntandikwa ye okutuuka ku nkomerero ye, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Isirayiri ne Yuda.

cle>