1Awo abantu bʼensi eyo ne balonda Yekoyakaazi mutabani wa Yosiya, nʼasikira kitaawe mu Yerusaalemi.
2Yekoyakaazi yali wa myaka amakumi abiri mu esatu bwe yalya obwakabaka, nʼafugira mu Yerusaalemi emyezi esatu.
3Kabaka wʼe Misiri yamugoba ku ntebe eyʼobwakabaka mu Yerusaalemi, nʼasalira Yuda obusuulu obwa ttani ssatu nʼobutundu buna obwa ffeeza ne kilo amakumi asatu mu nnya eza zaabu.
4Kabaka wʼe Misiri nʼafuula Eriyakimu muganda wa Yekoyakaazi okuba kabaka wa Yuda ne Yerusaalemi, nʼakyusa nʼerinnya lye, nʼamutuuma Yekoyakimu, naye nʼatwala Yekoyakaazi muganda we nga musibe e Misiri.
5Yekoyakimu yali wa myaka amakumi abiri mu etaano bwe yalya obwakabaka, nʼafugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemi. Nʼakola ebitali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama Katonda we.
6Awo lumu Nebukadduneeza kabaka wʼe Babulooni nʼamulumba, nʼamusiba mu masamba, nʼamutwala e Babulooni.
7Nebukadduneeza nʼatwala nʼebintu ebyali mu yeekaalu ya Mukama e Babulooni, nʼabiteeka mu ssabo lye.
8Ebyafaayo ebirala ebyabaawo ku mulembe gwa Yekoyakimu, ebyʼekivve bye yakola, ne byonna bye yavunaanibwa, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Isirayiri ne Yuda. Yekoyakini mutabani we nʼamusikira.
9
10
11Zeddekiya yali wa myaka amakumi abiri mu gumu bwe yalya obwakabaka, nʼafugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemi.
12Nʼakola ebitali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama Katonda we, nʼateetoowaza mu maaso ga nnabbi Yeremiya, eyayogeranga ekigambo kya Mukama.
13Nʼajeemera ne kabaka Nebukadduneeza eyamulayiza mu maaso ga Katonda. Nʼakakanyaza ensingo ye nʼomutima gwe, nʼatakyuka kudda eri Mukama Katonda wa Isirayiri.
14Ate ne bakabona abakulu bonna nʼabantu, ne bataba beesigwa ne bagoberera ebyʼobukaafiiri ebyʼamawanga amalala, ne bagwagwawaza yeekaalu ya Mukama, gye yali atukuzizza mu Yerusaalemi.
15Awo Mukama Katonda wa bajjajjaabwe nʼayogera nabo ngʼayita mu babaka be, ngʼasaasira abantu be nʼekifo mu abeera.
16Naye ne baduuliranga ababaka ba Katonda, ne banyoomanga nʼebigambo bye, ne basekereranga bannabbi be, okutuusa obusungu bwa Katonda bwe bwabuubuukira ku bantu be awatali kubasaasira.
17Kyeyava aweereza kabaka wʼAbakaludaaya okubalumba, nʼatta nʼekitala abavubuka baabwe mu nnyumba awasinzizibwa, nʼatalekaawo muvubuka nʼomu newaakubadde abawala abato, newaakubadde abasajja abakulu wadde abakadde ennyo. Bonna Katonda yabawaayo mu mukono gwa Nebukadduneeza.
18Ne yeetikka ebintu ebinene nʼebitono byonna okuva mu yeekaalu ya Katonda, nʼebyʼobugagga ebyʼomu yeekaalu ya Mukama, nʼamawanika ga kabaka nʼabakungu be.
19Ne bookya yeekaalu ya Katonda ne bamenyaamenya ne bbugwe wa Yerusaalemi, ne bookya nʼembiri zonna, ne bazikiriza nʼebintu ebyʼomuwendo byonna.
20Nʼabo abaawona ekitala, nʼabatwala mu buwaŋŋanguse e Babulooni, ne babeera baddu be nʼaba batabani be okutuusa ku kufuga kwʼobwakabaka bwʼObuperusi.
21Ensi nʼekuuma ssabbiiti zaayo, ekiseera kyonna kye yamala mu kubonaabona kwayo okutuusa emyaka ensanvu bwe gyagwako, ngʼekyo kituukiriza ekigambo Mukama kye yayogera mu Yeremiya.
22Mu mwaka ogwʼolubereberye ogwa Kuulo kabaka wa Buperusi, Mukama nʼakoma ku mutima gwa Kuulo kabaka wa Buperusi ngʼekigambo Mukama kye yayogerera mu Yeremiya bwe kyali, okulangirira mu bwakabaka bwe bwonna, nʼokuwandiika nti,
23“Bwʼatyo bwʼayogera Kuulo kabaka wa Buperusi nti,