2 Ebyomumirembe 5:1-14 LGCB2014 - Bible AI

1 Bwʼatyo Sulemaani nʼamaliriza omulimu gwonna ogwa yeekaalu ya Mukama. Nʼalyoka aleeta ebintu kitaawe Dawudi bye yawonga, effeeza ne zaabu nʼebintu ebirala byonna ebyole, nʼabiteeka mu mawanika ga yeekaalu ya Katonda.

2Awo Sulemaani nʼakuŋŋaanya abakadde ba Isirayiri, nʼabakulu bʼebika, nʼabakulu bʼennyumba za bajjajja bʼabantu ba Isirayiri bagende baleete essanduuko eyʼendagaano ya Mukama okuva mu Sayuuni, ekibuga kya Dawudi.

3Abasajja bonna aba Isirayiri ne bakuŋŋaanira mu maaso ga kabaka mu kiseera ekyʼembaga mu mwezi ogwʼomusanvu.

4Abakadde bonna aba Isirayiri bwe baatuuka, Abaleevi ne basitula essanduuko,

5ne bagireeta, nʼEweema eyʼOkukuŋŋaanirangamu, nʼebintu byonna ebitukuvu ebyali mu weema. Bakabona nʼAbaleevi be baabisitula.

6Awo kabaka Sulemaani nʼekibiina kyonna ekya Isirayiri, abaali bakuŋŋaanye nga bamwetoolodde, nga bali mu maaso gʼessanduuko, ne bawaayo ssaddaaka ezʼendiga nʼente, ezitaabalibwa muwendo.

7 Awo bakabona ne baleeta essanduuko eyʼendagaano ya Mukama munda mu kifo kyayo mu watukuvu wa yeekaalu, mu Kifo Ekitukuvu Ennyo, ne bagiteeka wansi wʼebiwaawaatiro bya bakerubi.

8Bakerubi baayanjalanga ebiwaawaatiro byabwe okubuna ekifo ekyʼessanduuko, ne babikkanga essanduuko nʼemisituliro gyayo.

9Era emisituliro gyali miwanvu nnyo nga nʼokulengerebwa girengerebwa okuva mu watukuvu, naye nga tegirabika ngʼomuntu asinzidde ebweru; era ekyali eyo ne leero.

10 Essanduuko yalimu ebipande Musa bye yateekamu nga ali ku Kolebu, Mukama gye yakolera endagaano nʼAbayisirayiri, bwe baali bavudde mu Misiri.

11Awo bakabona bonna ne bava mu Kifo Ekitukuvu. Bonna abaaliwo baali beetukuzizza, obutayawula mu bibiina byabwe.

12 Abaleevi bonna abaali abayimbi, ngʼomwo mwe muli Asafu, Kemani, Yedusuni ne batabani baabwe nʼabʼeŋŋanda zaabwe nga bambadde bafuta ennungi, nga bakutte ebitaasa, nʼentongooli, nʼennanga, ne bayimirira ku luuyi olwʼebuvanjuba olwʼekyoto, wamu ne bakabona kikumi mu abiri abaafuuwanga amakondeere.

13 Awo abaafuuwanga amakondeere nʼabayimbi ne beegattira wamu mu ddoboozi eryʼawamu ne batendereza era ne beebaza Mukama. Ne batendereza Mukama nga bafuuwa amakondeere, nga bakuba nʼebitaasa, nʼebivuga ebirala nga bayimba nti, Awo yeekaalu ya Mukama nʼejjula ekire.

13“Mulungi, kubanga okwagala kwe okwenkalakkalira kubeerera emirembe nʼemirembe.”

14 Bakabona ne batasobola kukola mulimu gwabwe ogwʼobuweereza olwʼekire, kubanga ekitiibwa kya Mukama kyajjula yeekaalu ya Mukama.

le>