1
2Nkuzimbidde yeekaalu eyʼekitiibwa, ekifo kyʼonoobeerangamu emirembe gyonna.”
3Awo kabaka nʼakyuka nʼatunuulira ekibiina kyonna ekya Isirayiri ekyali kiyimiridde awo, nʼabasabira omukisa.
4Nʼayogera nti,
5‘Okuva ku lunaku lwe naggya abantu bange mu nsi yʼe Misiri, tewali kibuga kye nnalonda mu bika byonna ebya Isirayiri okuzimba mu eyeekaalu olwʼerinnya lyange, wadde omuntu yenna okuba omukulembeze wʼabantu bange Isirayiri.
6Naye kaakano nnonze Yerusaalemi okubeeramu Erinnya lyange, era nnonze Dawudi okufuga abantu bange Isirayiri.’ ”
7“Kitange Dawudi yali akiteeseteese mu mutima gwe okuzimbira Erinnya lya Mukama Katonda wa Isirayiri eyeekaalu.
8Naye Mukama nʼagamba kitange Dawudi nti, ‘Newaakubadde nga kyali mu mutima gwo okuzimbira Erinnya lyange eyeekaalu, era wakola bulungi okuba nakyo mu mutima gwo,
9naye si ggwe olizimba yeekaalu eyo, wabula mutabani wo, owʼomubiri gwo nʼomusaayi gwo; yʼalizimbira Erinnya lyange eyeekaalu.’ ”
10“Kaakano, Mukama atuukirizza kye yasuubiza. Nsikidde Dawudi kitange, era ntudde ku ntebe eyʼobwakabaka bwa Isirayiri, nga Mukama bwe yasuubiza, era nzimbidde Erinnya lya Mukama Katonda wa Isirayiri eyeekaalu.
11Era omwo mwe ntadde essanduuko, omuli endagaano eya Mukama ggye yakola nʼabantu ba Isirayiri.”
12Awo Sulemaani nʼayimirira mu maaso gʼekyoto kya Mukama mu maaso gʼekibiina kyonna ekya Isirayiri, nʼayimusa emikono gye.
13Yali akoze ekituuti ekyʼekikomo, ekyali mita bbiri ne desimoolo ssatu obuwanvu nʼobugazi mita bbiri ne desimoolo ssatu, nʼobugulumivu mita emu ne desimoolo ssatu, era ngʼakitadde wakati mu luggya olwʼebweru era kye yali ayimiriddeko. Nʼafukamira mu maaso gʼekibiina kyonna ekya Isirayiri, nʼayimusa emikono gye eri eggulu.
14Nʼayogera nti,
15Otuukirizza ekyo kye wasuubiza omuddu wo Dawudi kitange, kubanga wasuubiza nʼakamwa ko, era okituukirizza nʼomukono gwo leero.”
16
17Kale nno, Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri ekigambo kyo kye wasuubiza Dawudi omuddu wo kituukirire.”
18
19Wuliriza okusaba kwʼomuddu wo nʼokwegayirira kwe, Ayi Mukama Katonda wange, owulire okusaba kwʼomuddu wo kwasaba gyʼoli.
20
21
22“Omuntu bwʼanaayonoonanga ku muliraanwa we, ne kimugwanira okulayira, era nʼajja nʼalayira mu maaso gʼekyoto mu yeekaalu eno,
23
24“Abantu bo Isirayiri bwe banaabanga bawanguddwa omulabe olwʼobutali butuukirivu bwabwe, naye ne bakyuka ne baatula erinnya lyo, ne basaba ne beegayiririra mu maaso go mu yeekaalu eno,
25kale owulirenga ngʼosinziira mu ggulu, osonyiwe ekibi kyʼabantu bo Isirayiri era obakomyewo mu nsi gye wabawa bo ne bajjajjaabwe.”
26“Eggulu bwe linaggalwangawo ne wataba nkuba, kubanga boonoonye gyʼoli, naye ne basaba nga batunuulidde ekifo kino, ne baatula erinnya lyo, ne bakyuka okuleka ekibi kyabwe ekibaweezesezza ekibonerezo,
27kale owulirenga ngʼosinziira mu ggulu, osonyiwe ekibi kyʼabaddu bo, abantu bo Isirayiri, obayigirize ekkubo eggolokofu, lye bateekwa okutambulirangamu, era obaweereze enkuba ku nsi gye wawa abantu bo, obusika bwo.”
28“Bwe wanaagwangawo enjala oba kawumpuli mu nsi, oba ne wabaawo okugengewala oba obukuku, oba enzige oba ebisaanyi, oba abalabe baabwe ne babazingiriza mu bibuga byabwe wadde ne bwʼanaabanga kawumpuli owʼengeri etya, oba bulwadde bwa ngeri ki,
29ne wabaawo okusaba oba okwegayirira okwʼengeri zonna okukoleddwa omuntu yenna, oba abantu bo bonna Isirayiri, nga buli omu ategedde endwadde ye, nʼobuyinike bwe, era ngʼayanjulurizza engalo ze eri yeekaalu eno,
30kale owulirenga ngʼosinziira mu ggulu gyʼobeera osonyiwe, era osasule buli muntu ngʼebikolwa bye bwe biri, kubanga ggwe wekka gwʼomanyi emitima gyʼabaana bʼabantu;
31
32“Era mu ngeri yʼemu, bwe wanaabangawo munnaggwanga atali wa ku bantu bo Isirayiri, ngʼava mu nsi eyʼewala, olwʼerinnya lyo ekkulu, nʼolwʼomukono gwo ogwʼamaanyi, nʼomukono gwo ogugoloddwa, bwʼanajjanga nʼasaba ngʼatunuulidde eyeekaalu eno,
33kale owulirenga ngʼosinziira mu ggulu gyʼobeera, okolere omunnaggwanga oyo kyonna kyʼanaakusabanga; abantu bonna abʼomu nsi balyoke bamanye erinnya lyo era bakutye, ngʼabantu bo Isirayiri bwe bakola, era bategeere nti ennyumba eno gye nzimbye etuumiddwa Erinnya lyo.”
34“Abantu bo bwe banaatabaalanga abalabe baabwe, yonna gyʼonoobasindikanga, ne basaba nga batunuulidde ekibuga kino kyʼolonze ne yeekaalu gye nzimbidde Erinnya lyo,
35kale owulirenga okusaba kwabwe nʼokwegayirira kwabwe, ngʼosinziira mu ggulu, obaddiremu.”
36
37
38era bwe beenenyanga nʼomutima gwabwe gwonna nʼemmeeme yaabwe yonna mu nsi eyʼokusibibwa kwabwe gye baatwalibwa, ne basaba nga batunuulidde ensi gye wawa bajjajjaabwe, nʼeri ekibuga kye walonda, nʼeri eyeekaalu gye nazimba ku lwʼErinnya lyo,
39kale, owulirenga okusaba kwabwe nʼokwegayirira kwabwe, ngʼosinziira mu ggulu, ekifo gyʼobeera obaddiremu, era osonyiwe abantu bo abakwonoonye.”
40
41
42