2 Ebyomumirembe 7:1-22 LGCB2014 - Bible AI

1 Awo Sulemaani bwe yamaliriza esaala ye, omuliro ne guva mu ggulu ne gwokya ekiweebwayo ekyokebwa ne ssaddaaka era nʼekitiibwa kya Mukama ne kijjula eyeekaalu.

2Bakabona ne batayinza kuyingira mu yeekaalu ya Mukama kubanga ekitiibwa kya Mukama kyajjula eyeekaalu ya Mukama.

3 Awo Abayisirayiri bonna bwe baalaba omuliro nga gukka, nʼekitiibwa kya Mukama nga kiri ku yeekaalu, ne bavuunama ku lubalaza ngʼamaaso gaabwe gatunudde wansi ne basinza era ne beebaza Mukama nga boogera nti,

3“Mulungi, era okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”

4Awo kabaka nʼabantu bonna, ne baweerayo ssaddaaka mu maaso ga Mukama.

5Kabaka Sulemaani nʼawaayo ssaddaaka eyʼente ezawera emitwalo ebiri, nʼendiga nʼembuzi emitwalo kkumi nʼebiri. Awo kabaka nʼabantu bonna ne bawonga eyeekaalu ya Mukama.

6Bakabona ne bayimirira mu bifo byabwe, nʼAbaleevi nabo mu bifo byabwe nga bakutte ebivuga bya Mukama, kabaka Dawudi bye yali akoze olwʼokutenderezanga Mukama, buli lwe yeebazanga Mukama ngʼagamba nti, “Okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.” Ku luuyi olwaddirira Abaleevi, bakabona ne bafuuwa amakondeere, Isirayiri yenna nʼayimirira.

7 Sulemaani nʼatukuza oluggya olwa wakati olwali mu maaso ga yeekaalu ya Mukama, era eyo nʼaweerayo ebiweebwayo ebyokebwa nʼamasavu agʼebiweebwayo olwʼemirembe kubanga ku kyoto ekyʼekikomo kye yali akoze kwali tekugyako biweebwayo byokebwa nʼebiweebwayo ebyobutta, nʼebitundu nʼamasavu.

8 Era mu kiseera kyekimu Sulemaani nʼakuuma embaga eyo okumala ennaku musanvu, ne Isirayiri yenna wamu naye, nʼekibiina ekinene ennyo okuva awayingirirwa e Kamasi okutuuka ku kagga akʼe Misiri.

9Ku lunaku olwʼomunaana ne bakuba olukuŋŋaana, kubanga baali bajjagulizza okuwongebwa kwʼekyoto ennaku musanvu, nʼembaga ennaku endala musanvu.

10 Ku lunaku olwʼamakumi abiri mu esatu olwʼomwezi ogwʼomusanvu, Kabaka Sulemaani nʼasindika abantu baddeyo ewaabwe, era ne bagenda nga basanyufu era nga bajaguza mu mitima gyabwe olwʼobulungi bwa Mukama bwe yalaga Dawudi ne Sulemaani nʼabantu be Isirayiri.

11 Awo Sulemaani bwe yamaliriza eyeekaalu ya Mukama, nʼolubiri lwa kabaka, era ngʼamalirizza nʼebyo byonna bye yali ateeseteese mu mutima gwe okukola mu yeekaalu ya Mukama ne mu lubiri lwa kabaka,

12Mukama nʼamulabikira mu kiro nʼamugamba nti,

12“Mpulidde okusaba kwo, era neerobozza gye ndi ekifo kino okuba eyeekaalu eyʼokuweerangamu ssaddaaka.”

13“Bwe nnaggalangawo eggulu enkuba ne tatonnya, oba ne ndagira enzige okulya ensi oba ne nsindikira abantu bange kawumpuli,

14 abantu bange abatuumiddwa erinnya lyange bwe baneetowazanga, ne basaba, ne banoonya amaaso gange, ne bakyuka okuleka amakubo gaabwe amakyamu, kale nnaawuliranga nga nsinziira mu ggulu ne nsonyiwa ekibi kyabwe era ne mponya ensi yaabwe.

15Era amaaso gange ganaazibukanga, nʼamatu gange ganaawuliranga esaala ezinaawebwangayo mu kifo kino.

16Nnonze era neewongedde yeekaalu eno, Erinnya lyange libeerenga omwo ennaku zonna. Amaaso gange nʼomutima gwange binaabeeranga omwo ekiseera kyonna.”

17 “Bwʼonootambuliranga mu maaso gange nga Dawudi kitaawo bwe yakola, nʼokola bye nkulagira byonna, nʼokuuma ebiragiro byange nʼamateeka gange,

18ndinyweza entebe eyʼobwakabaka bwo, nga bwe nalagaana ne Dawudi kitaawo bwe nayogera nti, ‘Tolirema kuba na musika alifuga Isirayiri.’ ”

19“Naye bwe munaakyuka ne muva ku mateeka gange nʼebiragiro byange bye mbawadde, ne mugenda okuweereza bakatonda abalala ne mubasinza,

20 ndisiguukulula Isirayiri okuva mu nsi yange, gye mbawadde, era sirifaayo na ku yeekaalu eno gye neewongera olwʼErinnya lyange. Ndigifuula ekisekererwa era ekinyoomebwa mu mawanga gonna.

21 Newaakubadde nga yeekaalu eno eyatiikiridde nnyo, abaliyitawo bonna balyewuunya, nga boogera nti, ‘Lwaki Mukama akoze ekifaanana bwe kiti ku nsi eno ne ku yeekaalu eno?’

22Abantu baliddamu nti, ‘Kubanga baava ku Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe eyabaggya mu Misiri, ne bagoberera bakatonda abalala, nga babasinza era nga babaweereza, kyavudde abaleetako emitawaana gino gyonna, ginnamuzisa.’ ”

le>