1
2Sulemaani nʼaddaabiriza ebibuga Kulamu bye yali amuwadde, nʼabiwa Abayisirayiri okubibeerangamu.
3Sulemaani nʼalumba Kamasuzoba nʼakiwamba.
4Era nʼazimba ne Tadumoli mu ddungu, nʼebibuga byonna, ebyʼetterekero mu Kamasi.
5
6nʼekya Baalasi nʼebibuga bye byonna ebyʼamaterekero, nʼebibuga byonna ebyʼamagaali ge, nʼabavuga amagaali ge, ne kyonna kye yayagala okuzimba mu Yerusaalemi, mu Lebanooni ne mu nsi yonna gye yafuganga.
7Abantu bonna abaalekebwawo ku Bakiiti, nʼAbamoli, nʼAbaperezi, nʼAbakiivi, nʼAbayebusi, nga bano be bataali Bayisirayiri,
8be bazzukulu abaasigalawo, Abayisirayiri be bataazikiriza, Sulemaani nʼabafuula abaddu, ne leero.
9Naye Sulemaani nʼatafuula Bayisirayiri baddu be; bo baali baserikale be, nʼabaduumizi bʼeggye lye, nʼabaduumizi abʼamagaali ge nʼabeebagala embalaasi ze.
10Waaliwo nʼabakungu ba kabaka Sulemaani abʼoku ntikko, ebikumi bibiri mu ataano, abaafuganga abantu.
11Sulemaani nʼaggya muwala wa Falaawo mu kibuga kya Dawudi nʼamutwala mu lubiri lwe yamuzimbira ngʼagamba nti, “Mukyala wange tajja kubeera mu lubiri lwa Dawudi kabaka wa Isirayiri, kubanga ebifo essanduuko ya Mukama byʼetuusemu bitukuvu.”
12Awo Sulemaani nʼawangayo ebiweebwayo ebyokebwa, ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto kya Mukama kye yali azimbye mu maaso agʼolubalaza,
13nga bwe kyali kigwanirwa buli lunaku, okuwangayo ebiweebwayo ngʼetteeka lya Musa bwe lyali, erikwata ku ssabbiiti, nʼemyezi nga kye gijje giboneke, ne ku mbaga essatu eza buli mwaka, era ze zino: embaga eyʼemigaati egitazimbulukuswa, nʼembaga eya ssabbiiti, nʼembaga eyʼensiisira.
14Nʼalonda ebibinja ebya bakabona olwʼobuweereza bwabwe, nʼAbaleevi olwʼemirimu gyabwe egyʼokutenderezanga mu nnyumba, ngʼekiragiro kya Dawudi kitaawe kye yayogera ne mu kuyambangako bakabona mu mirimu egya buli lunaku. Ate era nʼalonda nʼabaggazi mu bibinja byabwe olwʼemiryango egyʼenjawulo kubanga bwʼatyo Dawudi omusajja wa Katonda bwe yalagira.
15Ne batava ku biragiro kabaka bye yali awadde bakabona, nʼAbaleevi ku bikwatagana nʼensonga yonna, wadde ku bikwatagana nʼebyetterekero lyʼebintu ebyʼomuwendo.
16Omulimu gwa Sulemaani ne guggwa bulungi okuva ku lunaku omusingi ogwa yeekaalu ya Mukama lwe gwa simibwa okutuusa yeekaalu lwe yaggwa, era nʼemalibwa bulungi.
17Awo Sulemaani nʼagenda e Eziyonigeba nʼe Erasi ebibuga ebyali ku lubalama lwʼennyanja mu nsi ya Edomu.
18Kulamu nʼamuweereza ebyombo, nga bigobebwa baduumizi be, abasajja abaali bamanyi ennyanja. Ne bagenda e Ofiri nʼabaddu ba Sulemaani nga babeegasseko, ne baaleetera kabaka Sulemaani ettani za zaabu kkumi na musanvu.