1Kabaka omukazi wʼe Seeba bwe yawulira ettutumo lya Sulemaani nʼajja e Yerusaalemi okumugeza nʼebibuuzo ebikalubo, ngʼawerekeddwako ekibinja ekinene omwali eŋŋamira ezaali zeetise ebyakaloosa, ne zaabu nnyingi nnyo nʼamayinja agʼomuwendo omungi. Awo bwe yatuuka eri Sulemaani, nʼanyumya naye ku ebyo byonna ebyali ku mutima gwe.
2Sulemaani nʼaddamu ebibuuzo bye byonna, ne wataba nʼekimu ekyamulema okumunnyonnyola.
3
4nʼemmere eyaliibwanga ku mmeeza ye, nʼokutuula okwʼabakungu be, nʼabaweereza be mu byambalo byabwe, nʼenyambuka gye yayambukangamu okugenda okuwaayo ebiweebwayo mu yeekaalu ya Mukama, nʼaggwaamu omwoyo.
5Nʼagamba kabaka nti, “Bye nnawulira nga ndi mu nsi yange ku bikwata ku bikolwa byo nʼamagezi go bya mazima,
6naye nnali sibikkirizanga okutuusa bwe najja ne mbyelabirako nʼamaaso gange. Laba saabuulirwa wadde ekitundu ekyʼettutumo lyo; bye mpulidde bisingawo ku ebyo bye nnawulira.
7Abantu bo nga balina omukisa! Abaddu bo abakuweereza bulijjo ne bawulira amagezi go nga balina omukisa!
8
9Nʼalyoka awa kabaka ettani nnya nʼekitundu eza zaabu, nʼebyakaloosa bingi nnyo nnyini, nʼamayinja agʼomuwendo. Waali tewabangawo bya kaloosa bingi bwe bityo nga Kabaka omukazi wʼe Seeba bye yawa kabaka Sulemaani.
10Abasajja ba Kulamu nʼabasajja ba Sulemaani abaasuubulanga zaabu okuva e Ofiri baaleetanga nʼemitoogo nʼamayinja agʼomuwendo omungi.
11Kabaka nʼakozesa emitoogo egyo okuzimba amaddaala aga yeekaalu ya Mukama nʼagʼolubiri lwa kabaka, ate era nʼakolamu nʼennanga nʼentongooli zʼabayimbi. Waali tewabangawo bifaanana ngʼebyo mu nsi ya Yuda.
12Kabaka Sulemaani nʼawa Kabaka omukazi wʼe Seeba byonna bye yayagala, okusinga nʼebyo bye yali amuleetedde. Nʼoluvannyuma nʼaddayo mu nsi ye nʼekibinja kye.
13Obuzito bwa zaabu obwaleetebwanga eri Sulemaani buli mwaka bwaweranga ettani amakumi abiri mu ttaano,
14okwo nga tagasseeko eyʼobusuulu eyaweebwangayo abasuubuzi nʼabamaguzi. Ate era ne bakabaka abʼe Buwalabu ne bagavana abʼensi bamuleeteranga zaabu nʼeffeeza.
15Kabaka Sulemaani nʼaweesa engabo ennene ebikumi bibiri okuva mu zaabu omukubeekube, buli emu ku zo ngʼerimu kilo ssatu nʼekitundu eza zaabu omukubeekube.
16Nʼaweesa nʼengabo entono ebikumi bisatu okuva mu zaabu omukubeekube, buli emu ku zo ngʼerimu kilo emu ne desimoolo musanvu eza zaabu. Kabaka nʼaziteeka mu lubiri lwʼEkibira kya Lebanooni.
17Kabaka nʼakola entebe eyʼobwakabaka ennene nga ya masanga, nʼagibikkako zaabu ennongoose.
18Entebe ye eyʼobwakabaka yaliko amaddaala mukaaga, nʼakatebe kawumulizaako ebigere akaakolebwa mu zaabu, era yaliko nʼemikono eruuyi nʼeruuyi, nʼebibumbe byʼempologoma ennume bbiri nga ziyimiridde ku mabbali gʼemikono.
19Nʼempologoma kkumi na bbiri emmumbe zaali zisimbiddwa eruuyi nʼeruuyi ku madaala omukaaga. Tewaali eyakolebwa ngʼeyo mu bwakabaka obulala bwonna.
20Ebinywerwamu byonna ebya kabaka Sulemaani byali bya zaabu, nʼebintu byonna ebyali mu lubiri lwʼEkibira kya Lebanooni byali bya zaabu omulongoseemu. Tewaali kyakolebwa mu ffeeza kubanga mu biro bya Sulemaani effeeza yabanga ya muwendo gwa wansi.
21Kabaka yalina ebyombo ebyagendanga e Talusiisi nʼabasajja ba Kulamu, era buli myaka esatu byaleetanga zaabu nʼeffeeza, nʼamasanga, nʼenkoba ne bamuzinge okuva e Talusiisi.
22Kabaka Sulemaani yali mugagga nnyo era nga mugezi okusinga bakabaka bonna abʼensi.
23Bakabaka bonna baagendanga gyali okumwebuuzaako, nʼokuwulira amagezi Katonda ge yali atadde mu mutima gwe.
24Buli mwaka, buli eyajjanga, yaleetanga ekirabo, ebimu byali bintu bya ffeeza ne zaabu, nʼebirala nga byambalo, nʼebirala nga byakulwanyisa, nʼebirala nga byakaloosa, nʼembalaasi, nʼennyumbu.
25Sulemaani yalina ebisibo enkumi nnya omwaterekebwanga embalaasi nʼamagaali; nʼabavuzi abʼamagaali baali emitwalo ebiri be yateeka mu bibuga ebyʼamagaali, nʼabamu ku bo nga babeera naye mu Yerusaalemi.
26Era yafuganga bakabaka bonna okuva ku mugga Fulaati okutuuka ku nsi eya Abafirisuuti, nʼokutuuka ku nsalo ya Misiri.
27Kabaka nʼafuula ffeeza okuba ekya bulijjo ngʼamayinja mu Yerusaalemi era nʼemivule ne giba mingi ngʼemisukamooli egiri mu biwonvu.
28Sulemaani yasuubulanga embalaasi okuva mu Misiri nʼensi endala.
29Ebyafaayo ebirala byonna ebyabaawo mu mulembe gwa Sulemaani okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero, tebyawandiikibwa mu byafaayo bya nnabbi Nasani, ne mu kwolesebwa kwa Akiya Omusiiro, ne mu birooto ebyʼomulabi Iddo ebikwata ku Yerobowaamu mutabani wa Nebati?
30Sulemaani nʼafugira Isirayiri yenna mu Yerusaalemi okumala emyaka amakumi ana.
31Nʼafa era nʼaziikibwa mu kibuga kya kitaawe Dawudi, Lekobowaamu mutabani we nʼamusikira.