1Nze Simooni Peetero omuddu era omutume wa Yesu Kristo mpandiikira abo abaafuna okukkiriza okwʼomuwendo nga ffe, mu butuukirivu bwa Katonda waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo,
2ekisa nʼemirembe byeyongerenga mu mmwe nga mutegeera Katonda ne Yesu Mukama waffe.
3Kubanga mu maanyi gʼobwakatonda bwe, mwetwaweerwa ebintu byonna olwʼobulamu buno nʼokutya Katonda mu kumanya oyo eyatuyita olwʼekitiibwa kye nʼobulungi bwe ye.
4Ebyo bye byatuweesa ebisuubizo ebyʼomuwendo ebikulu, mu byo mulyoke mugabanire awamu obuzaaliranwa bwʼobwakatonda, muwone okuzikirira okuva mu kwegomba okubi okwʼomu nsi.
5Noolwekyo mufubenga nnyo, okukkiriza kwammwe mukwongereko obulungi, ne ku bulungi mwongereko okutegeera,
6ne ku kutegeera mwongereko okwefuganga, ne ku kwefuganga mwongereko obugumiikiriza, ne ku bugumiikiriza mwongereko okutya Katonda,
7ne ku kutya Katonda mwongereko okufaayo ku booluganda abalala bonna ne ku kufaayo ku booluganda bonna abalala mwongereko okwagalananga.
8Kubanga bwe muba nʼebyo ne byeyongera obungi, bibafuula ba mugaso era ababala ebibala olwʼokutegeera Mukama waffe Yesu Kristo.
9Oyo atalina ebyo muzibe wa maaso era awunaawuna, era yeerabidde bwe yanaazibwako ebibi bye ebyʼedda.
10Kale, abooluganda mweyongerenga okunywerera mu kulondebwa kwammwe ne mu kuyitibwa kwammwe. Kubanga bwe munaakolanga bwe mutyo temulyesittala nʼomulundi nʼogumu.
11Era mulyanirizibwa nʼessanyu lingi nnyo mu bwakabaka bwa Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo.
12Noolwekyo, ebyo nzija kubibajjukizanga buli kiseera, newaakubadde nga mubimanyi, era nga ddala munyweredde mu mazima ge mwategeera.
13Era ndowooza nti Kiŋŋwanira nga nkyali mu mubiri guno, okubakubirizanga nga nneeyongera okubibajjukiza.
14Kubanga mmanyi nga nnaatera okuva mu mubiri guno, nga Mukama waffe Yesu Kristo bwe yantegeeza.
15Kyenva nfuba ennyo okukola kyonna kye nsobola, ne bwe ndivaawo mube ngʼebyo byonna mubijjukira.
16Kubanga tetwagoberera ngero bugero ezaagunjibwa wabula twabategeeza ebyo bye twalabirako ddala, ebyʼamaanyi nʼokukomawo kwa Mukama waffe Yesu Kristo, era nʼobukulu bwe.
17Kubanga Katonda Kitaffe yamuwa ekitiibwa nʼettendo, eddoboozi bwe lyawulikika okuva mu ggulu mu kitiibwa ekingi ekimasamasa nti,
18Ffe bwe twali awamu naye ku lusozi olutukuvu, twawulirira ddala eddoboozi eryo eryava mu ggulu.
19Kyetuvudde tweyongera okukakasa ebyo bannabbi bye baategeeza, era bwe munaabigonderanga munaabanga mukoze bulungi. Kubanga biri ngʼettaala eyaka mu kizikiza okutuusa obudde lwe bukya, emunyeenye eyʼenkya nʼeryoka eyaka mu mitima gyammwe.
20Okusooka mukimanye nga buli bunnabbi obuli mu byawandiikibwa, tewali ayinza kubunnyonnyola ku bubwe yekka.
21Kubanga bannabbi tebaayogeranga byabwe ku bwabwe, wabula baategeezanga ebyo Katonda bye yabalagiranga nga Mwoyo Mutukuvu bwe yabibawanga.