2 Peetero 2:1-22 LGCB2014 - Bible AI

1Naye waaliwo ne bannabbi abʼobulimba mu bantu, era nga bwe walibaawo abayigiriza abʼobulimba mu mmwe. Baliyingiza mu nkiso enjigiriza enkyamu etwala abantu mu kuzikirira. Balyegaana ne Mukama waffe, ne beereetako okuzikirira okwa mangu.

2Abantu bangi baligoberera empisa zaabwe ezʼobukaba ne bavumaganyisa ekkubo eryʼamazima;

3balibafunamu amagoba mangi nga bakozesa ebigambo ebyʼobulimba olwʼomululu gwabwe. Abo Katonda yabasalira dda omusango era nʼokuzikirizibwa kwabwe tekubuusibwabuusibwa.

4Katonda teyasaasira bamalayika abaayonoona, wabula yabasuula mu lukonko oluwanvu olujjudde ekizikiza, gye bali, nga basibiddwa mu njegere nga balindirira olunaku olwʼokusalirwako omusango.

5Nʼensi eyʼedda teyagisaasira, nʼaleeta amataba ku nsi okuzikiriza abo abataamutya, nʼalokolako Nuuwa eyabuulira obutuukirivu wamu nʼabalala musanvu.

6Era yasalira omusango abaali mu bibuga byʼe Sodomu nʼe Ggomola bwe yabazikiriza, ne bisirikka mu muliro, bwʼatyo nʼalaga ebyo ebigenda okutuuka ku buli atatya Katonda.

7Kyokka nʼawonya Lutti, omutuukirivu, eyalumwanga ennyo olwʼobulamu obwʼabantu abo abajeemu.

8Olwʼokubanga yababeerangamu, buli lunaku, yalabanga era nʼawuliranga ebikolwa ebyʼobujeemu bye baakolanga, ekyo ne kimuleetera okunyolwa mu mwoyo gwe omutuukirivu.

9Mukama amanyi okuwonya nʼokuggya mu kugezesebwa abamutya, nʼabonereza abatali bakkiriza okutuusa ku lunaku olwʼokusalirako omusango,

10nʼokusingira ddala abo abagoberera okwegomba kwabwe okwʼomubiri ne banyooma abakulembeze baabwe.

10Tebaliiko kye batya, beerowoozaako bokka, era tebakwatibwa na nsonyi kuvuma baakitiibwa.

11Kyokka bo bamalayika newaakubadde be basinga abayigiriza abo amaanyi nʼobuyinza, bwe batwala ensonga ezo eri Mukama waffe tebakozesa lulimi luvuma.

12Abantu bali bavuma ne bye batategeera, bali ngʼensolo obusolo ezitaliimu magezi ezikwatibwa okuttibwa ne zizikirizibwa; era nabo okufaanana ngʼensolo ezo, bagenda kuzikirizibwa.

13Abantu abo bagenda kubonerezebwa olwʼebibi bye bakola. Kubanga buli lunaku bagoberera okwegomba kwabwe olwʼokwesanyusa, era abantu abo bakwasa mmwe ensonyi era babaswaza bwe beegatta nammwe mu mbaga zammwe, nga bakola effujjo mu masanyu gaabwe.

14Balina amaaso agajjude obukaba, tebalekaayo kukola kibi buli kiseera boonoona era basendasenda abatali banywevu, bajjudde omululu. Baana abaakolimirwa,

15abaakyama ne bava mu kkubo okufaanana nga Balamu mutabani wa Beyoli, eyayagala empeera eyʼobutali butuukirivu.

16Kyokka endogoyi etayogera, Katonda bwe yagyogeza nʼemumanya olwʼobujeemu bwe nʼeziyiza eddalu lya nnabbi oyo.

17Abantu abo nzizi ezitaliimu mazzi. Bali ngʼebire ebitwalibwa embuyaga, era baterekeddwa ekifo ekyʼekizikiza ekikutte be zigizigi.

18Boogera ebigambo ebyʼokwekuluntaza era ebitaliimu nsa. Mu kwegomba kwʼomubiri ne mu bukaba bwabwe basendasenda abo abali okumpi nʼokubadduka abakyatambulira mu kibi.

19Babasuubiza eddembe, so nga bo bennyini baddu ba bikolwa ebibi ebyʼokuzikirira. Kubanga omuntu afuuka muddu wʼekyo ekimufuga.

20Era abantu bwe bategeera Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo, ne badduka okuva mu bintu ebyo ebyʼensi ebyonoona era ebitwala abantu mu kuzikirira, ate ne bava awo ne babiddamu, bibasibira ddala era obulamu bwabwe bufuuka bubi nnyo okusinga bwe bwali okusooka.

21Ekyandisinze be bantu abo obutategeerera ddala kkubo lya Mukama waffe eryʼobutuukirivu, eriggya abantu mu kuzikirira, okusinga lwe bamala okulitegeera, ate ne bava ku biragiro ebitukuvu bye baaweebwa.

22Olugero olwagerebwa kyeluva lutuukirira ku bo olugamba nti, “Embwa eridde ebisesemye byayo,” na luno nti: “Embizzi eva okunaazibwa ezzeeyo okwekulukuunya mu bitosi.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>