1Abaagalwa, eno yʼebbaluwa eyookubiri gye mbawandiikira. Mu bbaluwa zombi ngezezzaako okubakubiriza mutegeerere ddala ebyo ebituufu era ebisaana.
2Mujjukire ebyo ebyayogerwa bannabbi abatukuvu nʼekiragiro kya Mukama waffe era Omulokozi waffe ekyaweebwa abatume bammwe.
3Ekisooka, mutegeerere ddala nga mu nnaku ezʼoluvannyuma abantu abagoberera okwegomba kwʼomubiri gwabwe balijja mu mmwe nga babasekerera,
4nga bwe bagamba nti, “Eyasuubiza nti alijja, aluwa? Kubanga kasookedde bajjajjaffe bafa, ebintu byonna biri nga bwe byabanga okuva ensi lwe yatondebwa!”
5Beefuula abatamanyi nti Edda Katonda yalagira bulagizi, era olwʼekigambo eggulu nʼensi ne bitondebwa. Olwʼekigambo kya Katonda ensi yatondebwa ngʼeggyibwa mu mazzi era nʼebeera wakati wʼamazzi.
6Era olwʼekigambo ekyo ensi eyo eyʼedda, amazzi gaagisaanyaawo nʼezikirira.
7Era olwʼekigambo ekyo, eggulu nʼensi ebiriwo kaakano bikuumibwa nga birindiridde okwokebwa omuliro ku lunaku olwʼokusalirako omusango, nʼokuzikirizibwa kwʼabo abatatya Katonda.
8Naye, abooluganda, temusaana, kwerabira nti mu maaso ga Mukama emyaka olukumi giri ngʼolunaku olumu, era nʼolunaku olumu luli ngʼemyaka olukumi.
9Mukama waffe taludde kutuukiriza ekyo kye yasuubiza ngʼabamu bwe balowooza. Wabula ye akyabagumiikiriza, nga tayagala muntu yenna kubula, naye bonna beenenye.
10Naye olunaku lwa Mukama waffe lulijja ngʼomubbi bwʼajja nga tewali nʼomu amanyi; eggulu lirivaawo nga liwuuma nnyo, nʼebiririko birizikirizibwa nʼomuliro, era ensi nʼebintu ebigirimu birisirikka.
11Kale obanga ebintu byonna bya kuzikirizibwa, mugwanidde kubeeranga bantu ba mpisa ntukuvu era abatya Katonda,
12nga mulindirira era nga mwegomba nnyo olunaku lwa Katonda okutuuka, olunaku obwengula bwonna
13Naye nga Katonda bwe yatusuubiza, tulindirira obwengula obuggya nʼensi empya omuli obutuukirivu.
14Kale, abaagalwa, nga bwe mulindirira ebintu ebyo okubaawo mufubenga nnyo okuba abalongoofu abataliiko kya kunenyezebwa nga mulina emirembe.
15Kyokka mulowoozenga ku kubonyaabonyezebwa okwʼobulokozi bwa Mukama waffe, nga ne muganda waffe omwagalwa Pawulo kye yabategeeza mu bbaluwa ze yabawandiikira mu magezi Katonda ge yamuwa.
16Weewaawo ebbaluwa ze zirimu bingi ebizibu okutegeera, kyokka buli lwʼawandiika aba ayogera ku nsonga ezo; wabula bo abatamanyi era abatali banywevu babinnyonnyola nga bwe bannyonnyola ebyawandiikibwa ebirala ne beereetako okuzikirira.
17Kale, mmwe abaagalwa, ebyo nga bwe mubitegedde, mwekuume muleme kukyamizibwa abantu abo abajeemu, si kulwa nga babaleetera okugwa ne muva we munyweredde.
18Mweyongere okukula mu kisa ne mu kutegeera Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo. Oyo aweebwenga ekitiibwa kaakano nʼemirembe gyonna. Amiina.