2 Samwiri 1:1-27 LGCB2014 - Bible AI

1 Oluvannyuma lwʼokufa kwa Sawulo, Dawudi nʼagenda nʼabeera e Zikulagi nʼamalayo ennaku bbiri, ngʼamaze okusaanyaawo Abamaleki.

2Awo olwatuuka ku lunaku olwokusatu, ne wajja omusajja ngʼava mu lusiisira lwa Sawulo, ngʼayuzizza ebyambalo bye, nga ne mu mutwe gwe mulimu enfuufu. Bwe yatuuka awali Dawudi, nʼavuunama ngʼamuwa ekitiibwa.

3Dawudi nʼamubuuza nti, “Ova wa?” Nʼamuddamu nti, “Ndi kaawonawo okuva mu lusiisira lwa Isirayiri.”

4Dawudi nʼayogera nti, “Ntegeeza ebyabaddewo.” Nʼayogera nti, “Abantu badduse mu lutalo, era bangi ku bo bafudde. Sawulo ne Yonasaani mutabani we nabo bafudde.”

5Awo Dawudi nʼagamba omuvubuka eyamutegeeza amawulire ago nti, “Otegedde otya nga Sawulo ne mutabani we Yonasaani nabo bafudde?”

6Omuvubuka nʼamugamba nti, “Bwe nnali awo ku lusozi Girubowa, ne ndaba Sawulo nga yeesigamye ku ffumu lye era nʼamagaali nʼabeebagala embalaasi ebyʼomulabe nga bamucocca.

7Awo bwe yakyusa amaaso ge nʼandaba, nʼankowoola, ne muddamu nti, ‘Nkukolere ki?’

8Nʼambuuza nti, ‘Ggwe ani?’ Ne muddamu nti, ‘Ndi Mwamaleki.’

9Nʼalyoka aŋŋamba nti, ‘Nnyimirirako onzite! Ndi mu masaŋŋanzira agʼokufa newaakubadde nga ndabika ngʼakyalimu obulamu.’

10 Kyennava muyimirirako ne mutta, kubanga nʼategeera nga takyalamye. Ne ntwala engule eyali ku mutwe gwe nʼekikomo ekyali ku mukono gwe, era biibino mbireetedde mukama wange.”

11Awo Dawudi nʼabasajja bonna be yali nabo, ne bayuza ebyambalo byabwe.

12Ne bakaaba, ne bakungubaga ne basiiba okutuusa akawungeezi ku lwa Sawulo ne Yonasaani mutabani we; ne ku lwʼeggye lya Mukama, ne ku lwʼennyumba ya Isirayiri; kubanga bonna baali bafudde nʼekitala.

13Awo Dawudi nʼagamba omuvubuka eyamutegeeza amawulire ago nti, “Ova wa?” Nʼaddamu nti, “Ndi mwana wa munnaggwanga, Omwameleki.”

14 Dawudi nʼamugamba nti, “Lwaki tewatya kuzikiriza omuntu Mukama gwe yafukako amafuta?”

15Awo Dawudi nʼayita omu ku basajja be, nʼamugamba nti, “Mutte.” Nʼamufumita nʼamutta.

16 Dawudi nʼamugamba nti, “Omusaayi gwo gubeere ku mutwe gwo, kubanga akamwa ko ye mujulirwa ngʼoyogera nti, ‘Nnatta oyo Mukama gwe yafukako amafuta.’ ”

17Dawudi nʼakungubagira Sawulo ne Yonasaani mutabani we,

18 nʼalagira abantu ba Isirayiri bayigirizibwe oluyimba olwʼomutego olwʼokukungubaga olwawandiikibwa mu kitabo kya Yasali. Olugamba nti,

19“Ekitiibwa kyo, ayi Isirayiri, kifiiridde ku nsozi zo! Abʼamaanyi nga bagudde!

20 “Temukyogeranga mu Gaasi, Temukyatuliranga mu nguudo za Asukulooni,[1] Abawala bʼAbafirisuuti baleme okusanyuka, Abawala bʼabatali bakomole baleme okujaguza.

20

21 “Mmwe ensozi za Girubowa, muleme okugwibwako omusulo newaakubadde enkuba, newaakubadde ennimiro okumeramu ensigo. Kubanga eyo engabo[2] eyʼabʼamaanyi gye yanyoomerwa nʼengabo ya Sawulo, gye yafuukira ngʼetafukibwangako mafuta.

22Omutego gwa Yonasaani tegwaddanga mabega nʼekitala kya Sawulo tekyaddanga nga kikalu, olwʼokubuna omusaayi gwʼabattibwanga, nʼamasavu gʼabʼamaanyi.

22

23 “Sawulo ne Yonasaani, mu bulamu bwabwe baali baagalwa nnyo era baali baakisa, ne mu kufa tebaayawukana. Baali bangu okusinga empungu, era baali bʼamaanyi nʼokusinga empologoma.

23

24“Mmwe abawala ba Isirayiri, mukaabire Sawulo, eyabambaza engoye ezinekaaneka ezʼokwesiima, eyabambaza ebyambalo ebyatonebwa ne zaabu.

24

25“Abʼamaanyi nga bagudde wakati mu lutalo! Yonasaani attiddwa ku nsozi zammwe.

26Nnumwa nnyo ku lwa muganda wange Yonasaani, kubanga wali mukwano gwange ddala. Okwagala kwe wanjagala kwali kwa kitalo, nga kwa kitalo nʼokusinga okwʼabakyala.

26

27“Abʼamaanyi nga bagudde, nʼebyokulwanyisa nga bizikiridde!”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>