2 Samwiri 10:1-19 LGCB2014 - Bible AI

1 Mu kiseera ekyo kabaka wʼabaana ba Amoni[14] nʼafa, mutabani we Kamuni nʼamusikira.

2Dawudi nʼalowooza nga kyandibadde kirungi, okumukolera ebyekisa nga kitaawe bwe yali akoze. Awo Dawudi nʼamutumira ekibinja okugenda okumukubagiza olwʼokufa kwa kitaawe.

2Abasajja ba Dawudi bwe baatuuka mu nsi eyʼAbamoni,

3abakungu ba Amoni ne bagamba Kamuni mukama waabwe nti, “Olowooza nga Dawudi okukuweereza ababaka okukubagiza, aba assaamu kitaawo kitiibwa? Olowooza nga Dawudi tabasindise okujja okulawuna nʼokuketta ekibuga nʼokukiwamba?”

4 Awo Kamuni nʼakwata abasajja ba Dawudi nʼabamwako ekitundu kyʼebirevu byabwe nʼabasalira ebyambalo byabwe wakati okukoma ku manyuma gaabwe, nʼabagoba baddeyo ewaabwe.

5Dawudi bwe yategeezebwa ebyo, nʼatumira abasajja be ababaka, kubanga baali mu buswavu bungi, nʼabagamba nti, “Musigale e Yeriko ebirevu byammwe bimale okukula mulyoke mukomewo.”

6 Awo Abamoni bwe bategeera nga Dawudi bamufuukidde ekyenyinyalwa, ne bapangisa abaserikale abʼebigere Abasuuli emitwalo ebiri okuva e Besukekobu nʼe Zoba, nʼabalala abasajja lukumi okuva ewa kabaka wʼe Maaka, nʼabalala omutwalo gumu mu enkumi bbiri okuva e Tobu.

7Dawudi olwawulira ebyo, nʼasindika Yowaabu nʼeggye lyonna eryʼabasajja abalwanyi abazira.

8Abamoni ne bavaayo ne basimba ennyiriri awayingirirwa mu wankaaki wʼekibuga kyabwe, Abasuuli abʼe Zoba nʼabʼe Lekobu, nʼabasajja abʼe Tobu nʼe Maaka bo ne babeera mu ttale.

9Awo Yowaabu bwe yalaba ngʼolutalo lumutaayizza mu maaso nʼemabega, nʼalondamu abasajja abazira mu Isirayiri, nʼabasindika batabaale Abasuuli.

10Abaasigalawo nʼabakwasa Abisaayi muganda we okubaduumira, nʼabasindika batabaale Abamoni.

11Yowaabu nʼagamba muganda we nti, “Bwe munaalaba Abasuuli nga batuyitiridde amaanyi, munajja ne mutubeera. Abamoni bwe banaabayinga amaanyi, tunajja ne tubabeera.

12 Tuddemu amaanyi tulwane masajja olwʼabantu baffe, nʼolwʼebibuga bya Katonda waffe. Mukama akole nga bwʼasiima.”

13Awo Yowaabu nʼabasajja abaali naye ne bambuka okutabaala Abasuuli, Abasuuli ne babadduka.

14Abamoni bwe baalaba nga Abasuuli badduse, nabo ne badduka Abisaayi, ne bayingira mu kibuga. Yowaabu nʼalekeraawo okulwana nʼAbamoni, nʼaddayo e Yerusaalemi.

15Awo Abasuuli bwe baalaba nga bawanguddwa Isirayiri, ne beekuŋŋaanya.

16Kadadezeri nʼatumya Abasuuli okuva emitala wʼOmugga Fulaati, ne bagenda e Keramu nga bakulembeddwamu Sobaki omuduumizi wʼeggye lya Kadadezeri.

17Awo Dawudi bwe yakiwulira, nʼakuŋŋaanya Isirayiri yenna nʼasomoka Yoludaani nʼagenda e Keramu. Abasuuli ne basimba ennyiriri okwolekera Dawudi balwane naye.

18 Naye ne badduka mu maaso ga Isirayiri, Dawudi nʼatta abasajja lusanvu ku bavuzi bʼamagaali gʼembalaasi, era nʼemitwalo ena ku beebagala embalaasi, nʼafumita ne Sobaki omuduumizi wʼeggye lyabwe nʼafiirawo.

19Awo bakabaka bonna abaali abaddu ba Kadadezeri bwe baalaba nga bawanguddwa Isirayiri, ne beeweerayo ddala eri Abayisirayiri, era ne babawanga nʼobusuulu.

19Awo Abasuuli ne batya okuddamu okuyamba Abamoni.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>