2 Samwiri 11:1-27 LGCB2014 - Bible AI

1 Awo mu biro ebyo, ekiseera bakabaka mwe bagendera okutabaala, Dawudi nʼasindika Yowaabu nʼabasajja be nʼeggye lyonna erya Isirayiri. Ne bazikiriza abaana ba Amoni ne bazingiza nʼekibuga kya Labba. Naye Dawudi nʼasigala mu Yerusaalemi.

2 Olunaku olumu, mu ssaawa ezʼolweggulo, Dawudi nʼagolokoka, nʼatambulatambula ku kasolya akʼolubiri lwe. Nʼasinziira waggulu eyo nʼalengera omukazi ngʼanaaba, era omukyala yali mulungi omubalagavu.

3 Dawudi nʼatuma omuntu okugenda okumunoonyerezaako. Ne bakomawo ne bamutegeeza nti, “Oyo ye Basuseba muwala wa Eriyaamu mukyala wa Uliya Omukiiti.”

4 Awo Dawudi nʼamutumya, nʼajja gyʼali, ne yeebaka naye. Yali mu kiseera ekyʼokwelongoosa obutali bulongoofu bwe. Oluvannyuma nʼaddayo ewuwe.

5Omukyala nʼaba olubuto, nʼatumira Dawudi nti, “Ndi lubuto.”

6Awo Dawudi nʼatumira Yowaabu nti, “Mpeereza Uliya Omukiiti.” Yowaabu nʼaweereza Uliya eri Dawudi.

7Uliya bwe yagenda gyʼali, Dawudi nʼabuuza Yowaabu nʼabaserikale bwe baali, nʼolutalo bwe lwali.

8 Awo Dawudi nʼagamba Uliya nti, “Serengeta mu nnyumba yo, onaabe ku bigere.” Uliya nʼafuluma olubiri, kabaka nʼamuweereza ekirabo.

9Naye Uliya nʼataserengeta wuwe, nʼasula ku mulyango gwʼolubiri nʼabaddu ba mukama we, Dawudi.

10Dawudi bwe yategeezebwa nti, “Uliya teyazeeyo waka we,” nʼabuuza Uliya nti, “Waakava olugendo, kiki ekikulobedde okuddayo eka ewuwo?”

11Uliya nʼaddamu Dawudi nti, “Essanduuko ne Isirayiri ne Yuda baasigadde mu weema, ne mukama wange Yowaabu nʼabaddu ba mukama wange basiisidde ku ttale. Kale nnyinza ntya okugenda mu nnyumba yange okulya nʼokunywa, nʼokwebaka ne mukyala wange? Mazima nga bwʼoli omulamu, sijja kukola kigambo bwe kityo.”

12Awo Dawudi nʼagamba Uliya nti, “Sigalawo olunaku olulala olabe obanga enkya siikusindike kuddayo.” Bwatyo Uliya nʼasigalawo olunaku olwo nʼolwʼenkya.

13 Dawudi nʼayita Uliya alye naye ekyekiro, nʼamutamiiza akawungeezi akʼolunaku olwo, Uliya nʼagenda nʼagalamira ku mukeeka gwe nʼabaddu ba mukama we, nʼataddayo wuwe.

14 Enkeera Dawudi nʼawandiikira Yowaabu ebbaluwa nʼagiwa Uliya agitwale.

15Yawandiika mu bbaluwa nti, “Uliya muteeke mu maaso ddala olutalo we luli olwʼamaanyi, mumwabulire, afumitibwe afe.”

16Awo Yowaabu bwe yali ngʼataayizza ekibuga, nʼaddira Uliya nʼamuteeka mu kifo kye yamanya nga waaliyo abalabe abʼamaanyi.

17Abasajja abʼekibuga bwe baafuluma okulwana ne Yowaabu, abamu ku basajja ba Dawudi ne battibwa, ne Uliya Omukiiti yali omu ku abo abattibwa.

18Awo Yowaabu nʼaweereza Dawudi amawulire gonna agafudde mu lutalo,

19nʼalagira gwe yatuma nti, “Bwʼonoomala okutegeeza kabaka amawulire gonna agafudde mu lutalo,

20nʼalabika nga munyiivu, nʼabuuza nti, ‘Lwaki mwasemberedde nnyo ekibuga nga mulwana? Temwamanya nga bajja kulasa nga basinziira ku Bbugwe?

21 Ani eyatta Abimereki mutabani wa Yerubbesesi? Teyali mukazi e Sebezi eyamukanyugako ejjinja eddene, kwe baseera emmere eyʼempeke, ngʼasinziira ku bbugwe, nʼafiirawo? Lwaki mwasembedde okumpi ennyo ne bbugwe?’ Awo onoomutegeeza nti, ‘Omuddu wo Uliya Omukiiti naye afudde.’ ”

22Awo omubaka nʼagenda nʼategeeza Dawudi byonna Yowaabu bye yamutuma okwogera.

23Omubaka nʼagamba Dawudi nti, “Abasajja batusinzizza amaanyi ne batulumba ku ttale, naye ne tubagoba okutuusa ku wankaaki owʼekibuga.

24Naye abalasi basinzidde ku bbugwe ne balasa abaddu, era abamu ku baddu ba kabaka baafudde, nʼomuddu wo Uliya Omukiiti naye mwe yafiiridde.”

25Dawudi nʼagamba omubaka nti, “Ggamba Yowaabu nti, ‘Ekigambo ekyo kireme okukubuza emirembe, kubanga ekitala olumu kitta omu nʼolulala ne kitta omulala. Munyiikirire okulumba ekibuga mukiwambe.’ Era Yowaabu mugambe agume omwoyo.”

26Awo mukyala wa Uliya bwe yawulira nti bba afudde, nʼamukungubagira.

27 Okukungubaga bwe kwaggwa, Dawudi nʼamutumya, nʼamuleeta mu nnyumba ye, nʼafuuka mukyala we, nʼamuzaalira omwana owoobulenzi. Naye ekigambo ekyo Dawudi kye yakola ne kitasanyusa Mukama.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>