2 Samwiri 12:1-31 LGCB2014 - Bible AI

1 Awo Mukama nʼatuma Nasani eri Dawudi amugambe nti, “Waaliwo abasajja babiri mu kibuga ekimu, omu nga mugagga, omulala nga mwavu.

2Omugagga yalina ebisibo byʼendiga bingi nʼente nnyingi;

3naye omwavu nga taliiko bwʼali wabula yalina omwana gwʼendiga gumu nga muluusi gwe yagula. Nʼalabirira omwana gwʼendiga ogwo, ne gukula nʼabaana be, ne gugabananga ku mmere ye, ne gunyweranga wamu naye, era nʼaguleranga. Gwali ngʼomwana we owoobuwala gyʼali.

4“Lwali lumu ne wajja omutambuze eri nnaggagga, naye nnaggagga oyo nʼatayagala kuddira emu ku ndiga ze oba nte ze okuteekerateekera omutambuze oyo ekyokulya. Kyeyava addira omwana gwʼendiga guli ogwʼomwavu nʼaguteekerateekera omugenyi we.”

5Awo Dawudi nʼasunguwalira nnyo omusajja nnaggagga, nʼayogera nti, “Mukama nga bwʼali omulamu, omusajja akoze ekintu bwe kityo ateekwa

6 okusasula emirundi ena olwʼekikolwa ekyo, kubanga talina kusaasira, era asaanira attibwe.”

7 Nasani nʼagamba Dawudi nti, “Omusajja oyo ye ggwe. Bwʼati bwʼayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Nakufukako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri, ne nkulokola mu mukono gwa Sawulo,

8ne nkuwa ennyumba ya mukama wo, ne nkukwasa ne bakyala ba mukama wo, ne nkuwa ennyumba ya Isirayiri ne Yuda; ebyo singa byali tebimala nandikwongedde bingi nʼokusingawo.

9 Kiki ekikunyoomezza ekigambo kya Mukama, nʼokukola nʼokola ekibi bwe kityo mu maaso ge? Watta Uliya Omukiiti nʼekitala, nʼotwala mukyala we nʼomufuula owuwo.’

10 Wamutta nʼekitala ekyʼAbaana ba Amoni. Noolwekyo ekitala tekiriva mu nnyumba yo, kubanga onnyoomye nʼotwala mukyala wa Uliya Omukiiti nʼomufuula owuwo.

11“Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, ‘Laba, ndireeta ekikolimo mu nnyumba yo, ne nzirira bakyala bo ngʼolaba ne mbawa muliraanwa wo, ne yeebaka nabo emisana.

12Wakikola mu kyama, naye nze ndikikola mu maaso ga Isirayiri yenna, emisana.’ ”

13 Awo Dawudi nʼagamba Nasani nti, “Nnyonoonye Mukama.” Nasani nʼaddamu nti, “Kale, Mukama aggyeewo ekyonoono kyo era toofe.

14 Naye olwʼekikolwa ekyo, oleetedde abalabe ba Mukama okumunyooma, omwana anaakuzaalirwa kyanaava afa.”

15 Nasani bwe yaddayo eka, Mukama nʼalwaza nnyo omwana muka wa Uliya gwe yazaala.

16Dawudi ne yeegayirira Katonda ku lwʼomwana, nʼasiiba, nʼagenda mu nnyumba ye nʼamala ekiro kyonna nga yeebase wansi.

17Abakadde abʼennyumba ye ne bagendanga gyʼali, okumuwaliriza asituke, alye ne ku mmere, naye nʼagaana.

18Ku lunaku olwʼomusanvu omwana nʼafa. Naye abaddu ba Dawudi ne batya okumutegeeza nti omwana afudde, nga bagamba, nti, “Omwana bwe yali omulamu twagezaako okwogera naye, nʼatatuwuliriza, olwo binaabeera bitya bwe tunaamubuulira nti omwana afudde? Ayinza okutabukira ddala.”

19Naye Dawudi nʼalaba abaddu be nga boogera obwama, nʼategeera nti omwana afudde. Nʼababuuza nti, “Omwana afudde?” Ne baddamu nti, “Afudde.”

20 Awo Dawudi nʼava wansi, nʼanaabako, ne yeerongoosa, nʼakyusa ebyambalo bye, nʼalaga mu nnyumba ya Mukama nʼasinza. Oluvannyuma nʼaddayo mu nnyumba ye, nʼasaba emmere, nʼalya.

21Abaddu be ne bamubuuza nti, “Kiki ekyo kyʼokola? Omwana bwe yali omulamu, wasiiba nʼokaaba, naye kati afudde, ogolokose, olya!”

22 Nʼaddamu nti, “Omwana we yabeerera omulamu, nʼasiiba ne nkaaba, nga ndowooza nti, ‘Ani amanyi, Mukama ayinza okunsaasira, omwana nʼaba mulamu?’

23Naye kaakano afudde, kiki ekinsiibya? Nkyayinza okumukomyawo? Nze ndigenda gyʼali, naye ye talikomawo gye ndi.”

24 Awo Dawudi nʼakubagiza mukyala we Basuseba, ne yeetaba naye, nʼaba olubuto, nʼazaala omwana wabulenzi, ne bamutuuma Sulemaani, Mukama nʼamwagala,

25era olwʼokwagala okwo, Mukama kyeyava atuma Nasani nnabbi nʼamutuuma Yedidiya, amakulu nti ayagalibwa Mukama.

26 Mu biro ebyo Yowaabu nʼalwana nʼabaana ba Amoni, nʼawamba Labba ekibuga kyabwe ekikulu.

27Yowaabu nʼatumira Dawudi nti, “Nnumbye Labba, era nʼamazzi gaabwe ngasazeeko.

28Kaakano kuŋŋaanya eggye lyonna, otabaale ekibuga ekikulu, okiwambe, nga sinnaba kukitwala, ne kituumibwa erinnya lyange.”

29Awo Dawudi nʼakuŋŋaanya eggye lyonna nʼayolekera Labba, nʼakirumba era nʼakiwamba.

30 Nʼaddira engule eyali eya kabaka waabwe, obuzito bwayo kilo asatu mu nnya eza zaabu, nga mu yo baateekamu amayinja agʼomuwendo, nʼagyetikkira ku mutwe gwe. Nʼatwala nʼomunyago mungi ddala okuva mu kibuga.

31Nʼaggya abantu abaali mu kibuga, nʼabatwala okuba abapakasi; ne bakozesanga emisomeeno, nʼensuuluulu, nʼembazzi, nʼabalala ne babumbanga amatoffaali. Mu ngeri yʼemu nʼakozesanga abantu abʼebibuga byonna ebyʼabaana ba Amoni. Oluvannyuma Dawudi nʼeggye lye lyonna, ne baddayo e Yerusaalemi.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>