1
2Amunoni nʼatawaana nnyo mu nsonga eyo nʼokulwala nʼalwala, kubanga Tamali yali mbeerera
3Naye Amunoni yalina mukwano gwe ennyo, eyayitibwanga Yonadabu mutabani wa Simeeya mukulu wa Dawudi, eyali omusajja omukujjukujju.
4Nʼabuuza Amunoni nti, “Kiki ekikutawanyanga buli nkya, ggwe omwana wa kabaka? Lwaki tombulira?” Amunoni nʼamugamba nti, “Njagala Tamali, mwannyina Abusaalomu muganda wange.”
5Yonadabu nʼamugamba nti, “Genda mu kitanda weefuule okuba omulwadde. Kitaawo bwʼanajja okukulaba mugambe nti, ‘Gamba mwannyinaze Tamali ajje ampe ku kyokulya. Mukkirize anteekereteekere ekyokulya nga mmulabako nʼamaaso, nʼoluvannyuma andiise.’ ”
6
7Awo Dawudi nʼatumya Tamali nʼamugamba nti, “Genda ewa muganda wo Amunoni mu nnyumba ye, omuteekereteekere ekyokulya.”
8Tamali nʼagenda ewa Amunoni nʼamusanga ngʼagalamidde ku kitanda kye. Tamali nʼaddira obuwunga nʼabukanda, nʼakola emigaati Amunoni ngʼalaba, nʼagifumba.
9
10Amunoni nʼagamba Tamali nti, “Ndeetera emmere eno mu kisenge kyange, ondiise.” Awo Tamali nʼaddira emigaati gyʼafumbye, nʼagitwalira Amunoni mwannyina mu kisenge kye.
11
12
13
14Naye nʼagaana okumuwuliriza, nʼamukwata olwʼempaka, kubanga yali amusinza amaanyi, ne yeebaka naye.
15Oluvannyuma Amunoni nʼamukyawa nnyo nnyini, okusinga ne bwe yamwagala, nʼamulagira nti, “Golokoka ofulume.”
16Tamali nʼamuddamu nti, “Nedda! Okungoba kibi okusinga ekikolwa kyʼonkoze.” Naye nʼagaana okumuwuliriza.
17Nʼayita omuddu eyʼamuweerezanga nʼamugamba nti, “Omukazi oyo muggye mu maaso gange, omuggalire ebweru.”
18
19
20Abusaalomu mwannyina nʼamubuuza nti, “Obadde ne mwannyoko Amunoni? Sirikawo mwannyinaze, oyo mwannyoko. Ekyo kireme okukunakuwaza.” Awo Tamali nʼabeeranga ne mwannyina Abusaalomu, nga mukazi munaku.
21Kabaka Dawudi bwe yakiwulira, nʼasunguwala nnyo.
22
23Bwe waayitawo emyaka ebiri nga kiseera kya kusala ebyoya byʼendiga, ngʼabasazi ba Abusaalomu bali e Baalukazoli, ekiriraanye Efulayimu, Abusaalomu nʼayita abaana ba kabaka bonna.
24Abusaalomu nʼagenda eri kabaka nʼamugamba nti, “Omuddu wo alina abasazi abʼebyoya byʼendiga baaleese. Nkusaba kabaka nʼabakungu be, mujje munjagulizeeko.”
25Kabaka nʼamuddamu nti, “Nedda, mwana wange. Ffenna bwe tunajja, tujja kuzitoowerera.” Abusaalomu nʼamwegayirira nga bwʼamuwaliriza, naye nʼagaana okugenda, wabula nʼamusabira omukisa.
26Awo Abusaalomu nʼamugamba nti, “Ggwe bwʼoba nga tojje, nkwegayiridde okkirize Amunoni agende naffe.” Kabaka nʼamubuuza nti, “Lwaki Amunoni agenda nammwe?”
27Naye Abusaalomu nʼamwegayirira nnyo okutuusa bwe yakkiriza Amunoni nʼabaana ba kabaka bonna okugenda naye.
28
29Awo abasajja ba Abusaalomu ne batta Amunoni nga Abusaalomu bwe yabalagira. Abaana ba kabaka bonna ne basituka ne beebagala buli muntu ennyumbu ye ne badduka.
30Bwe baali bakyali mu kkubo, amawulire ne gatuuka eri Dawudi nti, “Abusaalomu asse abaana ba kabaka bonna, era tewasigadde nʼomu.”
31Kabaka nʼagolokoka nʼayuza ebyambalo bye, ne yeebaka mu ttaka nʼabaddu be bonna abaaliwo ne bayuza ebyambalo byabwe.
32Naye Yonadabu mutabani wa Simeeya, mukulu wa Dawudi, nʼayogera nti, “Mukama wange kabaka aleme okulowooza nga basse abalangira bonna, Amunoni yekka yʼafudde. Era ekyo kye kyali ekigendererwa kya Abusaalomu okuva ku lunaku Amunoni lwe yakwata Tamali mwannyina.
33Noolwekyo mukama wange kabaka aleme okweraliikirira olwʼamawulire gʼafunye agagamba nti abaana ba kabaka bonna bafudde. Amunoni yekka ye afudde.”
34Kyokka Abusaalomu nʼadduka. Omuvubuka omukuumi nʼayimusa amaaso ge, nʼalengera abantu bangi mu kkubo eryʼebugwanjuba nga bakkirira ku mabbali gʼolusozi.
35Awo Yonadabu nʼagamba kabaka nti, “Laba abaana ba kabaka bajja; kituukiridde omuddu wo kye yayogedde.”
36Bwe yali yakamala okwogera, abaana ba kabaka ne bayingira nga bakuba ebiwoobe. Kabaka nʼabaddu be nabo ne bakaaba nnyo nnyini.
37Abusaalomu ye nʼaddukira eri Talumaayi mutabani wa Ammikuli, kabaka wʼe Gesuli, Dawudi nʼamukaabiranga buli lunaku.
38Abusaalomu nʼamala e Gesuli emyaka esatu.
39Naye omutima gwa Dawudi ne gwegomba okulaba ku Abusaalomu, kubanga yali akubagizibbwa olwʼokufa kwa Amunoni.