2 Samwiri 14:1-33 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Yowaabu mutabani wa Zeruyiya nʼategeera nga omutima gwa kabaka gulumirwa Abusaalomu.

2 Yowaabu nʼatumya omukazi omugezigezi okuva e Tekowa, nʼamugamba nti, “Weefuule akungubaga, oyambale engoye ezʼokukungubaga, teweesiiga mafuta, obeere ngʼomukyala amaze ennaku ennyingi ngʼakungubagira omufu.

3Genda eri kabaka, omugambe ebigambo bino.” Yowaabu nʼamuwa ebigambo ebyʼokwogera.

4 Awo omukazi owʼe Tekowa nʼagenda eri kabaka, nʼavuunama amaaso ge ku ttaka, ne yeeyanza, nʼayogera nti, “Mbeera, ayi kabaka.”

5 Kabaka nʼamubuuza nti, “Nkubeere mu ki?” Nʼaddamu nti, “Ndi nnamwandu baze yafa.

6Nalina batabani bange babiri. Bombi baalwanira ku ttale ne wataba nʼomu abataasa, omu nʼatta munne.

7 Kaakano ekika kyonna kiyimukidde omuweereza wo, nga boogera nti, ‘Tuwe omusajja oyo asse muganda we, tumutte olwʼobulamu bwa muganda we gwe yatta, tutte nʼomusika.’ Mu ngeri eyo banaaba bazikizza etabaaza yokka gye nsigazza, obutalekaawo linnya lya baze wange newaakubadde obusika bwe ku nsi yonna.”

8Awo kabaka nʼagamba omukazi nti, “Ddayo eka, nzija kukola ku nsonga yo.”

9 Naye omukazi owʼe Tekowa nʼagamba kabaka nti, “Mukama wange kabaka, omusango ka gubeere ku nze, nʼennyumba ya kitange; kabaka nʼobwakabaka bwe buleme kubeerako musango.”

10Kabaka nʼaddamu nti, “Bwe wanaabeerawo omuntu yenna abaako kya kugamba, mundeetere, taddeyo nate kukutawanya.”

11 Omukazi nʼayogera nti, “Nkwegayiridde, kabaka, ondayirire eri Mukama Katonda wo, awalana eggwanga olwʼomusaayi era aziyiza obubi okweyongera ku bubi, mutabani wange aleme okuzikirizibwa.” Nʼamuddamu nti, “Mukama nga bwʼali omulamu, tewaliba luviiri olwa mutabani wo olulimuva ku mutwe.”

12Awo omukazi nʼagamba kabaka nti, “Nkwegayiridde, ka mbeeko ekigambo kye ŋŋamba mukama wange kabaka.” Nʼamuddamu nti, “Yogera.”

13Omukazi nʼayogera nti, “Kiki ekikukoza ekigambo bwe kityo abantu ba Katonda? Kabaka aba teyeesalira yekka omusango kubanga takomezaawo omwana we eyagobebwa?

14 Ffenna tuli baakufa, ngʼamazzi bwe gayiibwa ku ttaka, ne gatayinzika kuyooleka nate. Naye Katonda taggyawo bulamu, anoonya engeri gyʼanaayinza okukomyawo omuntu abuze.

15“Kale nno ekyo kye kyandeese eri kabaka, kubanga abantu bantiisizza, ne baleetera omuweereza wo okulowooza nti, Bwe nnaayogera ne kabaka, mpozzi aliddamu omuweereza we kyʼamusaba.

16 Oboolyawo kabaka anaawulira ensonga yange, nʼalokola omuzaana we mu mukono gwʼomusajja agezaako okunzikiriza nze nʼomwana wange okutuggyako obusika Katonda bwe yatuwa.”

17 “Era omuweereza wo yayogedde mu mutima gwe nti, ‘Ekigambo kya mukama wange kabaka kye kirimpummuza, kubanga mukama wange kabaka ali nga malayika wa Katonda mu kwawulamu ebirungi nʼebibi. Mukama Katonda wo abeere naawe.’ ”

18Awo kabaka nʼagamba omukazi nti, “Tobaako nʼekimu kyʼonkisa ku bye nnaakubuuza.” Omukazi nʼaddamu nti, “Mukama wange kabaka ambuuze.”

19Kabaka nʼamubuuza nti, “Omukono gwa Yowaabu guli wamu naawe mu bigambo ebyo byonna?” Omukazi nʼamuddamu nti, “Nga bwʼoli omulamu mukama wange kabaka, tewali ayinza okukubuzaabuza ngʼadda ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono okukuggya ku kyʼoyogera mukama wange kabaka. Weewaawo, omuddu wo Yowaabu yeyandagidde, nʼampa nʼebigambo ebyo byonna.

20Omuddu wo Yowaabu, ekyo yʼakikoze okukyusa embeera eriwo kaakano. Naye mukama wange mugezigezi nga malayika wa Katonda amanyi byonna ebifa ku nsi.”

21Awo kabaka nʼagamba Yowaabu nti, “Kale, nzija kukikola. Genda okime omuvubuka Abusaalomu.”

22Awo Yowaabu nʼagwa bugazi ku ttaka ne yeeyanza, nʼasabira kabaka omukisa, nʼayogera nti, “Leero, omuddu wo ategedde ngʼalabye ekisa mu maaso go, mukama wange kabaka, kubanga kabaka azeemu okwegayirira okwʼomuddu we.”

23Yowaabu nʼagenda e Gesuli nʼakima Abusaalomu nʼamukomyawo e Yerusaalemi.

24Naye kabaka nʼawa ekiragiro nti, “Ateekwa kugenda mu nnyumba eyiye ku bubwe, tateekwa kulaba maaso gange.” Awo Abusaalomu nʼabeera mu nnyumba eyiye ku bubwe, nʼatalaba maaso ga kabaka.

25 Mu Isirayiri yonna temwali nʼomu eyatenderezebwa nga Abusaalomu olwʼendabika ye ennungi, kubanga okuviira ddala ku mutwe okutuuka ku bigere teyaliiko kamogo.

26Buli lwe yasalanga enviiri ze, lwe zali ngʼennyingi ku mutwe gwe, obuzito bwʼazo bwʼali nga kilo bbiri ne desimoolo ssatu ngʼebipimo bya kabaka bwe byali.

27Abusaalomu nʼazaalirwa abaana basatu aboobulenzi nʼowoobuwala omu. Omuwala ye yali Tamali nga mukyala mulungi nnyo ku maaso.

28Abusaalomu nʼabeera mu Yerusaalemi okumala emyaka ebiri nga talaba maaso ga kabaka.

29Awo Abusaalomu nʼatumya Yowaabu amutume eri kabaka, naye Yowaabu nʼatagendayo. Nʼamutumya omulundi ogwokubiri, naye era nʼagaana okugenda yo.

30Abusaalomu nʼagamba abaddu be nti, “Ennimiro ya Yowaabu eriraanye eyange, era alinamu sayiri. Mugende mugikumeko omuliro.” Awo abaddu ba Abusaalomu ne bagikumako omuliro ne bagyokya.

31Yowaabu nʼagolokoka nʼagenda eri Abusaalomu mu nnyumba ye nʼamubuuza nti, “Lwaki abaddu bo bookezza ennimiro yange?”

32 Abusaalomu nʼagamba Yowaabu nti, “Laba, nakutumya, nga ŋŋamba ojje wano nkutume eri kabaka okumubuuza nti, ‘Lwaki nava e Gesuli? Kyandisinze singa nasigala eyo.’ Kaakano njagala kugenda mu maaso ga kabaka, obanga nnina omusango, anzite.”

33 Awo Yowaabu nʼagenda eri kabaka, nʼamutegeeza ebigambo ebyo. Kabaka nʼatumya Abusaalomu, nʼajja, nʼavuunama amaaso ge wansi mu maaso ga kabaka. Kabaka nʼamunywegera.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>