4ⓡ Ate era Abusaalomu yayongerangako ne kino nti, “Singa nnondebwa okuba omukulembeze mu nsi, olwo buli muntu alina ensonga anajjanga gye ndi, ne mukolera ku nsonga ye.”
14Awo Dawudi nʼagamba abakungu be bonna abaali naye e Yerusaalemi nti, “Mugolokoke tudduke kubanga bwe tutaakole bwe tutyo tewaabeewo nʼomu ku ffe anaawona Abusaalomu. Tuteekwa okuvaawo amangu nga bwe kisoboka, aleme okutusaangiriza wano okusaanyaawo ekibuga nʼekitala.”
15Abakungu ba kabaka ne bamuddamu nti, “Abaddu bo beetegefu okukola kyonna, mukama waffe kabaka kyʼanaaba asazeewo.”
16Awo Kabaka nʼasitula nʼennyumba ye yonna ne bamugoberera, naye nʼalekawo abakyala be kkumi okulabirira olubiri.
17Kabaka nʼabantu bonna abaagenda naye, bwe baatambulako akabanga, ne batuuka mu kifo ekimu ewalako nʼolubiri ne bayimirira awo.
18Abasajja be bonna ne bamukulemberamu, nʼAbakeresi bonna nʼAbaperesi bonna, nʼAbagitti olukaaga bonna abaali bamugoberedde okuva e Gaasi ne bakumba nga bamukulembeddemu.
19Awo kabaka nʼagamba Ittayi Omugitti nti, “Lwaki otugoberera? Ddayo obeere ne kabaka Abusaalomu. Oli munnaggwanga eyagobebwa ewaabwe.
20ⓩ Wajja jjuuzi. Lwaki leero nkutambuza eno nʼeri, nga ssinamanya gye ndaga? Ddayo nʼabantu bo. Ekisa nʼemirembe bibeerenga naawe.”
21ⓐ Naye Ittayi nʼaddamu kabaka nti, “Mukama nga bwʼali omulamu, era mukama wange kabaka nga bwʼali omulamu, buli mukama wange kabaka gyʼanaagendanga, oba bulamu oba kufa, omuddu wo anaabeeranga wamu naawe.”
22Dawudi nʼagamba Ittayi nti, “Kale yitawo ogende mu maaso.” Awo Ittayi Omugitti nʼabasajja be bonna nʼabantu baabwe abaali naye ne bayitawo.
23Abʼomu byalo bonna ne bakaaba nnyo bwe baalaba abantu nga bayitawo. Kabaka naye nʼasomoka akagga Kidulooni, abantu bonna ne bayitawo ne boolekera eddungu.
24ⓑ Zadooki awamu nʼAbaleevi bonna abaali awamu naye, abaasitulanga essanduuko eyʼendagaano ya Mukama, baagenda ne kabaka. Essanduuko ya Katonda ne bagissa wansi, Abiyasaali naye nʼayambuka okuwaayo ssaddaaka okutuusa abantu bonna bwe baggwa mu kibuga.
25ⓒ Awo kabaka nʼagamba Zadooki nti, “Zzaayo essanduuko ya Katonda mu kibuga. Bwe ndiraba ekisa mu maaso ga Mukama, alinkomyawo, ne ngirabako nʼekifo Mukama kyʼabeeramu.
26Naye bwʼalisalawo nti, ‘Ssiri musanyufu naawe,’ ndimweteefuteefu ankole nga bwʼasiima.”
27Ate era kabaka nʼagamba Zadooki nti, “Toli mulabi? Ddayo mu kibuga mirembe, ne mutabani wo Akimaazi ne mutabani wa Abiyasaali, Yonasaani. Ggwe ne Abiyasaali muddeeyo ne batabani bammwe.
28Ndirindirira ekigambo ekiriva gye muli, we tulisomokera okulaga mu ddungu.”
29Awo Zadooki ne Abiyasaali ne bazzaayo essanduuko ya Katonda e Yerusaalemi ne basigala eyo.
30ⓓ Naye Dawudi nʼalinnyalinnya nʼalaga ku lusozi olwʼEmizeeyituuni ngʼakaaba, nʼomutwe ngʼagubisse era ngʼali mu bigere[18]. Abantu bonna abaali awamu naye nabo baali beebisse emitwe era nga bakaaba.
31ⓔ Dawudi nʼategeezebwa nti, “Akisoferi ali omu ku abo abeekobaana ne Abusaalomu.” Dawudi nʼasaba nti, “Ayi Mukama Katonda nkwegayiridde, fuula amagezi ga Akisoferi obusirusiru.”
32ⓕ Awo Dawudi bwe yatuuka ku ntikko yʼolusozi, abantu gye baasinzizanga Katonda, Kusaayi Omwaluki[19] yaliyo okumusisinkana, ekkooti ye ngʼeyulise nʼomutwe gwe nga gujjudde enfuufu.
34Naye bwʼonoddayo mu kibuga, nʼogamba Abusaalomu nti, ‘Ndibeera omuddu wo, ayi kabaka; nga bwe naweerezanga kitaawo mu biro ebyʼedda, bwe ntyo bwe nnaakuweerezanga,’ onooba ombedde mu nsonga eyʼokulemesa Akisoferi, afuuse omuwi wʼamagezi owa Abusaalomu.
35Zadooki ne Abiyasaali tebaliiyo? Kale bategeeze ekigambo kyonna kyʼonoowulira mu lubiri.
36Batabani baabwe ababiri, Akimaazi mutabani wa Zadooki ne Yonasaani mutabani wa Abiyasaali nabo bali eyo, era abo boonoontumiranga bwe wanaabangawo ensonga yonna.”
37ⓖ Awo Kusaayi mukwano gwa Dawudi nʼatuuka e Yerusaalemi, nga Abusaalomu ayingira ekibuga.