2 Samwiri 16:1-23 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Dawudi bwe yali ngʼatambuddeko ebbanga ttono nʼokuva awaali olusiisira, Ziba omuddu wa Mefibosesi nʼajja okumusisinkana. Yalina endogoyi bbiri eziriko amatandiiko, nga zeetisse emigaati ebikumi bibiri, nʼebirimba ebyʼezabbibu enkalu kikumi, nʼebirimba ebyʼebibala ebyʼekyeya kikumi, nʼekita kya wayini.

2Kabaka nʼabuuza Ziba nti, “Bino oleese bya ki?” Ziba nʼaddamu nti, “Endogoyi za ba mu nnyumba ya kabaka okwebagalanga, nʼemigaati nʼebibala bya bavubuka okulya, ne wayini, wʼabo abaliyongobera mu ddungu.”

3Kabaka nʼamubuuza nti, “Ate muzzukulu wa mukama wo ali ludda wa?” Ziba nʼamuddamu nti, “Yasigadde mu Yerusaalemi, kubanga yalowoozezza nti, ‘Leero ennyumba ya Isirayiri eneenziriza obwakabaka bwa jjajjange.’ ”

4Awo kabaka nʼagamba Ziba nti, “Byonna ebibadde ebya Mefibosesi, kaakano bibyo.” Ziba nʼayogera nti, “Neeyanzizza, era ŋŋanje mu maaso go, mukama wange kabaka.”

5Awo kabaka Dawudi bwe yali ngʼanaatera okutuuka e Bakulimu ne wajja omusajja owʼomu kika kyʼennyumba ya Sawulo erinnya lye Simeeyi mutabani wa Gera; nʼakolima nga bwʼasembera okumpi ne we baali.

6Nʼakasuukirira Dawudi nʼabakungu ba kabaka amayinja, naye abaserikale bonna nʼabakuumi ba Dawudi nga bamwetoolodde ku luuyi lwe olwa ddyo ne ku luuyi lwe olwa kkono.

7 Simeeyi nʼakolima, nga bwʼayogera nti, “Fuluma, vva wano, ggwe omusajja eyasaaba omusaayi, era ataliiko bwʼali!

8 Mukama akusasudde olwʼomusaayi gwonna gwe wayiwa mu nnyumba ya Sawulo, gwe waddira mu bigere. Mukama obwakabaka abugabidde mutabani wo Abusaalomu. Laba ekikutuusizza kwʼekyo, kubanga engalo zo zijjudde omusaayi!”

9 Awo Abisaayi mutabani wa Zeruyiya[20] nʼagamba kabaka nti, “Lwaki embwa eyo enfu ekolimira mukama wange kabaka? Leka ŋŋende mmutemeko omutwe.”

10 Naye kabaka nʼayogera nti, “Luganda ki lwe nnina nammwe, mmwe batabani ba Zeruyiya? Bwʼaba ngʼankolimira kubanga Mukama ye yamugambye nti, ‘Kolimira Dawudi,’ ani ayinza okubuuza nti, ‘Kiki ekikukoza bwʼotyo?’ ”

11 Awo Dawudi nʼagamba Abisaayi nʼabakungu be bonna nti, “Obanga mutabani wange, owʼomusaayi gwange agezaako okunzita, naye ate Omubenyamini oyo. Mumuleke, akolime, kubanga Mukama amulagidde.

12 Oboolyawo Mukama anaalaba okunakuwala kwange nʼansasula obulungi olwʼokukolima okwo.”

13Awo Dawudi nʼabasajja be ne bagenda ku lugendo lwabwe, naye Simeeyi nʼayitira ku lusozi okumwolekera nga bwʼakolima, nga bwʼamukasuukirira amayinja nʼenfuufu.

14Kabaka nʼabantu bonna abaali naye ne batuuka gye baali bagenda nga bakooye. Nʼaweereraweerera eyo.

15Mu kiseera kye kimu, Abusaalomu nʼabantu bonna aba Isirayiri ne bajja e Yerusaalemi, ne Akisoferi nʼajja naye.

16Awo Kusaayi Omwaluki, mukwano gwa Dawudi, nʼajja eri Abusaalomu nʼayogera nti, “Kabaka awangaale! Kabaka awangaale!”

17Abusaalomu nʼabuuza Kusaayi nti, “Bwʼotyo bwʼolaga okwagala eri mukwano gwo Kabaka Dawudi? Kiki ekyakulobedde okugenda ne mukwano gwo?”

18Kusaayi nʼaddamu Abusaalomu nti, “Nedda. Oyo Mukama gwʼanaalonda, nʼabantu bano, nʼabasajja bonna aba Isirayiri, nʼabanga wuwe era nʼabeeranga naye.

19Era nate nʼaweereza ani okuggyako mutabani we? Nga bwe naweerezanga kitaawo, bwe ntyo bwe nnaakuweerezanga.”

20Abusaalomu nʼagamba Akisoferi nti, “Tuwe ku magezi. Tunaakola tutya?”

21 Akisoferi nʼaddamu nti, “Weebake nʼabakyala ba kitaawo be yalekawo okulabirira olubiri. Isirayiri yenna bwe banaawulira ngʼofuuse ekyenyinyalwa eri kitaawo, banaddamu amaanyi.”

22Awo ne basimbira Abusaalomu eweema waggulu ku nnyumba ne yeebaka nʼabakyala ba kitaawe, nga Isirayiri yenna balaba.

23Mu biro ebyo okuteesa kwa Akisoferi, kwatwalibwanga okuba nga kuva eri Katonda, era Dawudi ne Abusaalomu bwe batyo bwe baatwalanga okuteesa kwe.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>