2 Samwiri 17:1-29 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Akisoferi nʼagamba Abusaalomu nti, “Leka nnonde abasajja omutwalo gumu mu enkumi bbiri, ŋŋende mpondere Dawudi ekiro kino.

2 Ndimulumba mu bukoowu bwe ne mu bunafu bwe ne mutiisatiisa, era nʼabantu bonna abali naye balidduka. Ndikuba kabaka yekka ne mutta,

3naye abantu abalala bonna ndibakomyawo gyʼoli. Okufa kwʼomusajja omu yekka gwʼonoonya, kulikomyawo abantu bonna nga tebaliiko mutawaana.”

4Ekigambo ekyo Abusaalomu nʼabakadde bonna aba Isirayiri ne bakisiima.

5Naye Abusaalomu nʼayogera nti, “Mumpitire ne Kusaayi Omwaluki, tuwulire kyʼanaayogera ku nsonga eyo.”

6Kusaayi bwe yajja eri Abusaalomu, Abusaalomu nʼamugamba nti, Akisoferi, amagezi gʼatuwadde ge gano. Tukole nga Akisoferi bwʼagambye? Oba nga si weewaawo, ggwe ogamba otya?

7Kusaayi nʼaddamu Abusaalomu nti, “Ago amagezi Akisoferi gʼabawadde si malungi ku mulundi guno.

8 Omanyi kitaawo nʼabasajja be nga basajja balwanyi era nga bakambwe ngʼeddubu erinyagiddwako abaana baalyo. Ate nʼekirala, kitaawo mulwanyi mumanyirivu; tayinza kusula na baserikale.

9Ne mu kiseera kino, ayinza okuba nga yeekwese mu mpuku oba mu kifo ekirala. Bwʼanaasooka okulumba abantu bo, buli anaakiwulira anaagamba nti, ‘Bangi ku bagoberezi ba Abusaalomu battiddwa.’

10 Olwo nʼomuntu omuzira mu bazira, alina omutima oguli ngʼomutima gwʼempologoma, anaayongoberera ddala, kubanga Isirayiri yenna bamanyi kitaawo nga musajja mulwanyi, era nʼabali naye basajja bazira.

11 “Naye nze amagezi ge nkuwa ge gano: kuŋŋaanya gyʼoli Isirayiri yenna okuva ku Ddaani okutuuka e Beeruseba, mu bungi bwabwe, ngʼomusenyu ogwʼoku nnyanja bwe guli obungi, ggwe mwene obakulembere mu lutalo.

12Tulimulumba yonna gyʼalisangibwa, ne tumugwako ngʼomusulo bwe gugwa ku ttaka. Ye newaakubadde abasajja abali naye, tewaliba nʼomu aliba omulamu.

13 Bwʼaliddukira mu kibuga, Isirayiri yenna, balireeta emiguwa, ne tukiwalulira mu mugga obutalekawo jjinja nʼerimu.”

14Awo Abusaalomu nʼabasajja bonna aba Isirayiri ne bakkiriziganya nti, “Ekiteeso Kusaayi Omwaluki kyʼaleese kirungi okusinga ekya Akisoferi.” Mukama yasiima okulemesa ekiteeso ekirungi ekya Akisoferi alyoke azikirize Abusaalomu.

15Naye Kusaayi nʼategeeza Zadooki ne Abiyasaali bakabona nti, “Akisoferi awadde Abusaalomu nʼabakadde ba Isirayiri amagezi bwe gati ne bwe gati, naye nze mbawabudde okukola bwe bati ne bwe bati.

16Kaakano muweereze mangu obubaka mutegeeze Dawudi nti, ‘Ekiro kya leero tosula ku misomoko egyʼomu ddungu; ssomoka, kabaka nʼabantu bonna abali naye baleme okumalibwawo.’ ”

17 Yonasaani ne Akimaazi baabeeranga ku Enerogeri. Baali balinda omuwala okujja okubategeeza byonna, nʼoluvannyuma bagende babuulire kabaka Dawudi; baali beewala okulabibwa nga bayingira mu kibuga.

18Naye waaliwo omuvubuka eyabalaba, nʼagenda nʼabuulira Abusaalomu. Amangwago bombi ne baddukira mu nnyumba eyʼomwami omu mu Bakulimu. Yalina oluzzi mu luggya lwe; ne bakka omwo.

19 Omukyala we nʼaddira ekisaanikira nʼasaanikira ku kamwa kʼoluzzi, nʼayiwako eŋŋaano nʼagisaasaanyizaako. Ne wataba nʼomu eyakitegeera.

20 Awo abasajja ba Abusaalomu bwe batuuka ewʼomukyala ku nnyumba, ne bamubuuza nti, “Akimaazi ne Yonasaani bali ludda wa?” Nʼabaddamu nti, “Basomose akagga akʼamazzi.” Abasajja ne babanoonyako naye ne batalaba muntu yenna, ne baddayo e Yerusaalemi.

21Abasajja bwe baagenda, abaali beekwese ne bava mu luzzi ne bagenda ne bategeeza kabaka Dawudi. Ne bamugamba nti, “Golokoka osomoke mangu omugga, kubanga Akisoferi ateeseteese bwʼati ne bwʼati.”

22Awo Dawudi nʼabantu bonna abaali naye ne bagolokoka ne basomoka Yoludaani; we bwakeerera nga tewali nʼomu atasomose Yoludaani.

23 Akisoferi bwe yalaba nga amagezi ge tegagobereddwa, ne yeebagala endogoyi ye, nʼagenda ewuwe mu kyalo kye waabwe. Nʼateekateeka ennyumba ye, nʼoluvannyuma ne yeetuga. Nʼaziikibwa mu ntaana ya kitaawe.

24Dawudi nʼagenda e Makanayimu, ne Abusaalomu nʼabasajja bonna aba Isirayiri ne basomoka Yoludaani.

25 Abusaalomu nʼalonda Amasa okuba omuduumizi wʼeggye mu kifo kya Yowaabu. Amasa yali mutabani wa Isira Omuyisimayiri eyawasa Abbigayiri muwala wa Nakasi muganda wa Zeruyiya nnyina Yowaabu.

26Abayisirayiri ne Abusaalomu ne basiisira mu nsi ya Gireyaadi.

27Dawudi bwe yatuuka e Makanayimu, Sobi mutabani wa Nakasi owʼe Labba ekyʼAbamoni, ne Makiri[21] mutabani wa Ammiyeri owʼe Lodebali, ne Baluzirayi Omugireyaadi owʼe Logerimu,

28ne bamuleetera ebyokwebikka, nʼebibya, nʼentamu, nʼeŋŋaano, ne sayiri, nʼobutta, nʼeŋŋaano ensiike, nʼebijanjaalo, nʼempindi, ne mpokya omusiike,

29nʼomubisi gwʼenjuki, nʼomuzigo, nʼendiga, ne bbongo, ne babiwa Dawudi nʼabantu be okulya. Ne boogera nti, “Abantu enjala ebaluma, era bakooye, nʼennyonta ebalumidde mu ddungu.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>