1
2
3Naye abasajja ne boogera nti, “Toteekwa kugenda naffe, kubanga ffe bwe tunadduka tebaatufeeko. Ekitundu ku ffe ne bwe tunaafa tebaafeeyo. Ggwe olimu abantu omutwalo gumu ku ffe ffenna. Ekisinga obulungi weeteeketeeke okutudduukirira ngʼosinziira mu kibuga.”
4Kabaka nʼaddamu nti, “Kye musiimye kye nnaakola.” Awo kabaka nʼayimirira ku mabbali ga wankaaki, ngʼeggye lyonna likumba okufuluma mu bibinja ebyʼekikumi nʼebyʼolukumi.
5Kabaka nʼalagira Yowaabu, ne Abisaayi ne Ittayi ngʼayogera nti, “Omuvubuka Abusaalomu mumukwate nʼekisa ku lwange.”
6
7Abasajja ba Isirayiri ne bakubibwa abasajja ba Dawudi, era bangi ne battibwa ku lunaku olwo. Baawera ngʼemitwalo ebiri.
8Olutalo ne lubuna ensi yonna, abantu bangi ne bafiira mu kibira okusinga nʼabattibwa nʼekitala.
9Awo Abusaalomu nʼasisinkana nʼabasajja ba Dawudi. Yali yeebagadde ennyumbu ye. Ennyumbu nʼeyita wansi wʼamatabi amangi agʼomwera omunene, omutwe gwa Abusaalomu ne gulaaliramu, nʼasigala ngʼalengejja mu bbanga, ennyumbu gye yali yeebagadde nʼegenda mu maaso.
10Omu ku basajja bwe yakiraba nʼategeeza Yowaabu nti, “Laba nnalengedde Abusaalomu ngʼawanikiddwa ku mwera.”
11Yowaabu nʼagamba omusajja eyajja okumubuulira nti, “Kiki, wamulabye? Kiki ekyakulobedde okumuttirawo? Nʼandikusasudde gulaamu kikumi mu kkumi na ttaano eza ffeeza ne nkuwa nʼolukoba olwʼobuzira.”
12Naye omusajja nʼamuddamu nti, “Ne bwe wandinsasudde kilo kkumi nʼemu eza ffeeza, sandigololedde mukono gwange ku mwana wa kabaka. Ffenna twawulidde kabaka ngʼabalagira ggwe, Abisaayi ne Ittayi nti, ‘Waleme okubaawo omuntu yenna anaakola Abusaalomu akabi ku lwange.’
13Kale singa mmusse ne ngwa mu mitawaana, tewandimpolerezza, kubanga omanyi nga tewali kigambo ekikwekebwa kabaka.”
14Yowaabu nʼayogera nti, “Sirina bbanga lya kukwonoonerako.” Nʼaddira obusaale busatu nʼabulasa mu kifuba kya Abusaalomu ngʼakyali mulamu mu mwera.
15Nʼabavubuka kkumi abaasitulanga ebyokulwanyisa bya Yowaabu ne beetooloola Abusaalomu ne bamukuba ne bamutta.
16Awo Yowaabu nʼafuuwa ekkondeere, eggye ne lireka okugoberera Isirayiri kubanga Yowaabu yabayimiriza.
17
18
19Akimaazi mutabani wa Zadooki nʼayogera nti, “Ka nziruke, ntwalire kabaka amawulire nga Mukama bwʼamulokodde mu mukono gwʼomulabe we.”
20Naye Yowaabu nʼamugamba nti, “Si ggwe onootwala amawulire leero. Oligatwala olunaku olulala olutali lwa leero, kubanga mutabani wa kabaka afudde.”
21Awo Yowaabu nʼagamba omusajja Omukusi nti, “Genda otegeeze kabaka byʼolabye.” Omukusi nʼavuunama mu maaso ga Yowaabu nʼadduka.
22Akimaazi mutabani wa Zadooki nʼagamba Yowaabu nate nti, “Nkwegayiridde, nzikiriza mmale gagoberera Omukusi.” Yowaabu nʼamuddamu nti, “Mutabani wange, kiki ekinaaba kikutwala ate nga tolina mawulire gʼonootwala aganakuweesa ekirabo?”
23Nʼayogera nti, “Ka mmale ga genda.” Awo Yowaabu nʼamugamba nti, “Dduka.” Akimaazi nʼaddukira mu kkubo eryʼolusenyi lwa Yoludaani nʼayisa Omukusi.
24
25Omukuumi nʼayogerera waggulu nʼategeeza kabaka. Awo kabaka nʼamugamba nti, “Bwʼaba ngʼali yekka ateekwa okuba ngʼaleeta mawulire malungi.” Omusajja nʼasembera.
26Omukuumi nʼalengera omusajja omulala ngʼajja adduka, nʼakoowoola omuggazi nti, “Laba omusajja omulala ajja adduka yekka.” Kabaka nʼayogera nti, “Naye ateekwa okuba ngʼaleeta mawulire malungi.”
27
28Awo Akimaazi nʼayogerera mu ddoboozi eryʼomwanguka ngʼagamba kabaka nti, “Byonna birungi.” Nʼavuunama mu maaso ga kabaka, ne yeeyala wansi nʼayogera nti, “Yeebazibwe Mukama Katonda wo, azikirizza abasajja abayimusizza omukono ku mukama wange kabaka.”
29Awo kabaka nʼabuuza nti, “Omuvubuka Abusaalomu ali bulungi?” Akimaazi nʼaddamu nti, “Yowaabu bwe yabadde ngʼanaatera okutuma omuddu wa kabaka, nange omuddu wo, nalabye oluyoogaano olunene, naye saategedde kyabadde wo.”
30Kabaka nʼamugamba nti, “Ggwe dda wabbali.” Nʼadda wabbali nʼayimirira awo.
31Awo Omukusi nʼatuuka, nʼayogera nti, “Wulira amawulire amalungi mukama wange kabaka. Mukama akulokodde leero mu mukono gwʼabo bonna abakuyimukiramu.”
32Kabaka nʼabuuza Omukusi nti, “Omuvubuka Abusaalomu mulamu?” Omukusi nʼaddamu nti, “Ekituuse ku muvubuka oyo, kituuke ku balabe ba mukama wange kabaka, nʼabo bonna abamuyimukiramu okumukola akabi.”
33Kabaka nʼafuna ensisi, nʼayambuka mu kisenge ekyali waggulu wa wankaaki, nʼakaaba. Nʼagenda nga bwʼayogera nti, “Mutabani wange Abusaalomu, mutabani wange, mutabani wange Abusaalomu. Singa nze nfudde mu kifo kyo, Abusaalomu, mutabani wange!”