2 Samwiri 19:1-43 LGCB2014 - Bible AI

1 Yowaabu nʼategeezebwa nti, “Kabaka akaaba era akungubagira Abusaalomu.”

2 Ku lunaku olwo obuwanguzi ne bufuuka okukungubaga eri abantu bonna, kubanga baawulira nti, “Kabaka anakuwadde olwa mutabani we.”

3Abantu ne bebbirira ne bayingira mu kibuga, ngʼabantu abakwatiddwa ensonyi bwe bafaanana nga badduse mu lutalo.

4Kabaka nʼabikka amaaso ge nʼakaaba nʼeddoboozi ddene nti, “Mutabani wange Abusaalomu! Woowe Abusaalomu mutabani wange!”

5Awo Yowaabu nʼalaga mu nnyumba kabaka gye yali nʼamugamba nti, “Leero oswazizza abaweereza bo, abawonyezza obulamu bwo, nʼobulamu bwa batabani bo ne bawala bo, nʼobulamu bwa bakyala bo nʼabazaana bo.

6Oyagala abakukyawa ate nʼokyawa abakwagala. Leero okikakasizza ngʼabaduumizi nʼabaweereza si kintu gyʼoli. Era kindabikira nga singa Abusaalomu abadde mulamu, ffe ffenna nga tufudde leero, wandisanyuse.

7Kale nno golokoka ogende ogumye emyoyo gyʼabaweereza bo, kubanga nkulayirira eri Mukama, nga bwe wataabeewo musajja nʼomu anaasigala naawe ekiro kya leero. Ekyo kye kirisingako obubi okusinga obubi bwonna bwe wali olabye okuva mu buto bwo.”

8Awo kabaka nʼagolokoka, nʼaddira entebe ye nʼagiteeka mu mulyango ogwa wankaaki, bonna ne bajja gyʼali. Mu kiseera ekyo Abayisirayiri baali baddukidde buli muntu ewuwe.

9Abantu bonna mu bika byonna ebya Isirayiri baali bakaayana nga boogera nti, “Kabaka yatuwonya mu mukono gwʼabalabe baffe, nʼatuwonya ne mu mukono gwʼAbafirisuuti, kaakano adduse Abusaalomu nʼava mu nsi.

10Naye Abusaalomu gwe twalonda okutufuga afiiridde mu lutalo. Kaakano kiki ekitulobera okukomyawo kabaka?”

11Awo kabaka Dawudi nʼatumira Zadooki ne Abiyasaali bakabona nti, “Mubuuze abakadde ba Yuda nti, ‘Lwaki mmwe musembayo okukomyawo kabaka mu lubiri lwe, ebigambo nga byatuuse dda ku kabaka okuva mu Isirayiri yenna?

12Mmwe muli baganda bange, mubiri gwange era musaayi gwange, naye lwaki mmwe musembayo okukomyawo kabaka?’

13Ate mugambe ne Amasa nti, ‘Toli mubiri gwange era musaayi gwange? Katonda ankole bwʼatyo nʼokukirawo, bwʼotobeere muduumizi wa ggye lyange mu kifo kya Yowaabu okuva ne kaakano.’ ”

14 Nʼawamba emitima gyʼabantu bonna aba Yuda ne baba omuntu omu, ne baweereza obubaka eri kabaka nti, “Mukomeewo, ggwe nʼabaweereza bo bonna.”

15 Awo kabaka nʼaddayo nʼatuuka ku Yoludaani. Abantu ba Yuda ne bajja e Girugaali okusisinkana kabaka, nʼokumusomosa Yoludaani.

16Simeeyi mutabani wa Gera Omubenyamini owʼe Bakulimu nʼaserengeta mangu nʼabasajja ba Yuda okusisinkana kabaka Dawudi.

17 Yagenda nʼAbabenyamini lukumi, ne Ziba omuddu wʼennyumba ya Sawulo ne batabani be kkumi na bataano nʼabaweereza be amakumi abiri. Ne banguwa okulaga ku Yoludaani kabaka gye yali.

18Ne basomosa ennyumba ya Dawudi, era ne bakola ngʼokusiima kwe bwe kwali.

18Awo Simeeyi mutabani wa Gera nʼasomoka Yoludaani, nʼagwa bugazi mu maaso ga kabaka,

19nʼamwegayirira ngʼagamba nti, “Mukama wange ansonyiwe, aleme okujjukira ebisobyo bye nakola ku lunaku luli, mukama wange kabaka lwe yava mu Yerusaalemi. Kabaka aleme okukijjukira.

20 Kubanga nze omuweereza wo mmanyi nga nayonoona, naye leero mu nnyumba eya Yusufu nze nsoose okujja okusisinkana mukama wange kabaka.”

21 Awo Abisaayi mutabani wa Zeruyiya nʼayogera nti, “Lwaki Simeeyi tattibwa olwʼokukolimira omulonde wa Mukama?”

22Naye Dawudi nʼamuddamu nti, “Kiki ekitugatta nze nammwe batabani ba Zeruyiya, mulyoke mufuuke abalabe bange olwa leero? Lwaki omuntu yenna attibwa mu Isirayiri olwa leero, ate nga mmanyi nga nze kabaka wa Isirayiri leero?”

23 Awo kabaka nʼagamba Simeeyi nti, “Tojja kufa.” Era kabaka nʼamulayirira.

24Mefibosesi muzzukulu wa Sawulo naye nʼaserengeta okusisinkana kabaka; yali tanaabanga bigere bye newaakubadde okumwa ekirevu kye newaakubadde okwoza engoye ze, okuva ku lunaku kabaka lwe yagenderako okutuusa ku lunaku lwe yakomawo emirembe.

25Awo bwe yatuuka okuva e Yerusaalemi nʼasisinkana kabaka, kabaka nʼamubuuza nti, “Kiki ekyakulobera okugenda nange Mefibosesi?”

26Nʼaddamu nti, “Mukama wange, kabaka, okimanyi nga omuweereza wo mulema. Nagamba omuddu wange nti, ‘Ntekerateekera endogoyi, njebagale, ŋŋende ne kabaka,’ naye nʼambuzaabuza, nʼabulawo.

27Yajja eri mukama wange kabaka nʼayogera ku muddu wo ebya kalebule. Naye mukama wange kabaka ali nga malayika wa Katonda, noolwekyo kola nga bwʼosiima.

28Abʼennyumba ya jjajjange bonna baali basaanira kufa bufi mu maaso ga mukama wange kabaka, naye nange nʼomala gansaasira nʼonzikiriza okuba ku abo abatuula ku mmeeza yo. Kale kiki kye sifunye okuva eri kabaka?”

29Awo kabaka nʼamugamba nti, “Lwaki weeyongera okweyogerako? Ndagidde kaakano, ggwe ne Ziba mugabane ettaka eryo.”

30Mefibosesi nʼagamba kabaka nti, “Atwale lyonna, kubanga mukama wange kabaka akomyewo mirembe mu bwakabaka bwe.”

31 Baluzirayi Omugireyaadi naye nʼaserengeta okuva e Logerimu nʼagenda okusomosa kabaka, Yoludaani.

32Baluzirayi yali musajja mukadde nnyo, ngʼawezezza emyaka kinaana, era yali agabiridde kabaka ebyokulya we yabeerera e Makanayimu kubanga yali musajja mugagga nnyo.

33Awo kabaka nʼagamba Baluzirayi nti, “Somoka nange, tugende ffenna e Yerusaalemi, nʼakulabiriranga.”

34Naye Baluzirayi nʼaddamu kabaka nti, “Nnina ennaku meka okuba omulamu, ndyoke ŋŋende ne kabaka e Yerusaalemi?

35 Mpezezza emyaka kinaana, olowooza nkyayinza okwawula ekirungi nʼekibi? Olowooza nga omuddu wo akyayinza okutegeera kyʼalya ne kyʼanywa? Nkyayinza okuwuliriza amaloboozi gʼabasajja abayimba nʼabakyala abayimbi? Lwaki nzitoowerera mukama wange kabaka?

36Omuweereza wo anasomosa busomosa kabaka, Yoludaani, naye nga siraba kiki enkimpeesa empeera eyenkana awo.

37 Nkwegayiridde, kkiriza omuddu wo addeyo, nfiire mu kibuga kyange okumpi nʼebiggya bya kitange ne mmange. Naye omuddu wo Kimamu wuuyo. Leka asomoke ne kabaka, onoomukolera byonna nga bwʼonoosiima.”

38Kabaka nʼayogera nti, “Kale Kimamu anaasomoka nange, era ndimukolera nga bwʼolisiima; ne kyonna kyʼonooyagala nʼakikukolera.”

39 Awo abantu bonna ne basomoka Yoludaani, kabaka nʼasomoka nabo. Kabaka nʼanywegera Baluzirayi nʼamusabira omukisa, nʼaddayo ewuwe.

40Kabaka nʼagenda e Girugaali ne Kimamu nʼagenda naye; abantu bonna aba Yuda, nʼekimu kyakubiri ku bantu ba Isirayiri ne bawerekera kabaka.

41Oluvannyuma lwe bbanga ttono, abasajja bonna aba Isirayiri ne bagenda eri kabaka, ne bagamba kabaka nti, “Lwaki baganda baffe, abasajja aba Yuda, babba kabaka, ne bamutwala ye nʼennyumba ye, ne bamusomosa Yoludaani nʼabasajja be?”

42Abasajja bonna aba Yuda ne baddamu abasajja ba Isirayiri nti, “Ekyo twakikola kubanga tuli ba musaayi gumu naye. Kiki ekibatabudde mu nsonga eyo? Tulina bye tulidde ku bya kabaka? Oba mulowooza nga tulina ebirabo bye tugabanye?”

43 Awo abasajja ba Isirayiri ne baddamu abasajja ba Yuda nti, “Okusooka byonna, obwakabaka tubulinamu emigabo kkumi. Nʼekyokubiri, Dawudi wa ku luganda lwaffe nʼokusinga mmwe. Kale lwaki mwatunyooma? Si ffe twasooka okwogera ku kyʼokukomyawo kabaka waffe?” Naye ebigambo ebyʼabasajja ba Yuda ne biba bisongovu nnyo nʼokusinga ebigambo ebyʼabasajja ba Isirayiri.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>