2 Samwiri 2:1-32 LGCB2014 - Bible AI

1 Oluvannyuma lwʼebyo Dawudi ne yeebuuza ku Mukama nti, “Nyambuke mu kimu ku bibuga bya Yuda?” Mukama nʼamuddamu nti, “Yambuka.” Nʼabuuza nate nti, “Ŋŋende mu kiruwa?” Mukama nʼamuddamu nti, “E Kebbulooni.”

2Awo Dawudi nʼagenda eyo ne bakyala be bombi, Akinoamu Omuyezuleeri ne Abbigayiri nnamwandu wa Nabali owʼe Kalumeeri.

3 Dawudi nʼatwala nʼabasajja abaali naye, buli muntu nʼamaka ge, ne basenga mu Kebbulooni ne mu byalo byakyo.

4Awo abantu ba Yuda ne bajja mu Kebbulooni, ne bafukirako eyo Dawudi amafuta okuba kabaka wʼennyumba ya Yuda.

4Dawudi nʼategeezebwa nti abantu abʼe Yabesugireyaadi be baaziika Sawulo,

5 nʼabatumira ababaka okubagamba nti, “Mukama abawe omukisa olwʼekisa nʼekitiibwa bye mwalaga Sawulo mukama wammwe ne mumuziika.

6Mukama abalage ekisa nʼokwagala, nange ndibalaga kyʼekimu olwʼekyo kye mukoze.

7Noolwekyo kyemunaava mubeera abʼamaanyi era abavumu, kubanga oluvannyuma olwʼokufa kwa Sawulo mukama wammwe, ennyumba ya Yuda enfuseeko amafuta okubeera kabaka waabwe.”

8 Mu biro ebyo, Abuneeri[3] mutabani wa Neeri, omuduumizi wʼeggye lya Sawulo, nʼatwala Isubosesi mutabani wa Sawulo e Makanayimu.

9Nʼamufuula kabaka wʼe Gireyaadi, owʼAbasuuli[4], owʼe Yezuleeri, owa Efulayimu, owa Benyamini era owa Isirayiri yenna.

10Isubosesi, mutabani wa Sawulo yali wa myaka amakumi ana we yatandika okufuga Isirayiri, era nʼafugira emyaka ebiri. Naye ennyumba ya Yuda ne bagoberera Dawudi.

11Ebbanga Dawudi lye yabeerera kabaka mu Kebbulooni ngʼafuga ennyumba ya Yuda lyali emyaka musanvu nʼemyezi mukaaga.

12 Abuneeri mutabani wa Neeri nʼabasajja ba Isubosesi mutabani wa Sawulo, ne bava e Makanayimu ne bagenda e Gibyoni.

13 Yowaabu[5] mutabani wa Zeruyiya nʼabasajja ba Dawudi ne bagenda okubasisinkana ku kidiba ekyʼe Gibyoni. Ekibinja ekimu ne kituula ku luuyi olumu olwʼekidiba, nʼekirala ne kituula ku luuyi olulala.

14Awo Abuneeri nʼagamba Yowaabu nti, “Abamu ku basajja bagolokoke beegezeemu mu maaso gaffe.” Yowaabu nʼamuddamu nti, “Kale bagolokoke.”

15Ne bagolokoka, kkumi na babiri ne babalibwa okuva ku ludda lwa Benyamini ne Isubosesi mutabani wa Sawulo, nʼababala kkumi na babiri okuva ku ludda lwa Dawudi.

16Buli omu nʼakwatagana ne gwe yali atunuuliganye naye, ne banyolegana emitwe, ne bafumitigana amafumu, ne bagwira wamu. Era ekifo ekyo mu Gibyoni ne kituumibwa Kerukasu-kazzulimu.

17Olutalo ne lweyongerera ddala, Abuneeri nʼabasajja be ne bawangulwa abasajja ba Dawudi.

18 Batabani ba Zeruyiya abasatu Yowaabu, Abisaayi, ne Asakeri baaliyo, era Asakeri yali muwenyusi wa misinde ngʼempeewo eyʼomu ttale.

19Asakeri nʼagoba Abuneeri emisinde, obutatunula ku mukono ogwa ddyo wadde ogwa kkono.

20Awo Abuneeri bwe yatunula emabega we, nʼabuuza nti, “Ye ggwe Asakeri?”

20Nʼaddamu nti, “Ye nze.”

21Abuneeri nʼamugamba nti, “Tunula ku mukono gwo ogwa ddyo oba ku mukono gwo ogwa kkono ogye ku omu ku bavubuka akuli okumpi ekyokulwanyisa kye.” Naye Asakeri nʼatalekaayo kumugoba.

22Abuneeri nʼaddamu okumulabula ngʼagamba nti, “Bwʼoleka okungoba! Lwaki ondeetera okukutta? Muganda wo Yowaabu nnaamudda wa?”

23Naye Asakeri ne yeeyongera bweyongezi okumugoba; Abuneeri kwe kumufumita mu lubuto nʼomuwunda gwʼeffumu, effumu ne liggukira mu mugongo, nʼagwa wansi era nʼafiirawo.

24Naye Yowaabu ne Abisaayi ne bagoba Abuneeri. Enjuba bwe yali eneetera okugwa, ne batuuka ku lusozi Amma, oluliraanye Giya mu kkubo eryʼeddungu eryʼe Gibyoni.

25Awo abasajja bʼe Benyamini ne beekola ekibinja kimu, ne badda ku luuyi lwa Abuneeri, ne bayimirira ku lusozi olumu.

26Abuneeri nʼakoowoola Yowaabu nʼayogera nti, “Ekitala kirirya ennaku zonna? Tolaba nti enkomerero ya byonna buliba bukyayi bwereere? Kale kiki ekikulobera okulagira abantu bo balekeraawo okucocca baganda baabwe?”

27Yowaabu nʼaddamu nti, “Katonda nga bwʼali omulamu, ne bwe watandikyogedde, obudde bwe bwandikeeredde ngʼabasajja balekeddaawo okugoba baganda baabwe.”

28Awo Yowaabu nʼafuuwa ekkondeere[6], abasajja bonna ne bayimirira, ne balekeraawo okugoba Isirayiri, era nʼokubalwanyisa.

29Ekiro ekyo kyonna Abuneeri nʼabasajja be ne batambula ne bayita mu Alaba, ne basomoka Yoludaani, ne batambula mu kiseera ekyʼoku makya kyonna ne batuuka e Makanayimu.

30Awo Yowaabu nʼaddayo ngʼalese okugoba Abuneeri, nʼakuŋŋaanya abasajja be. Bwe baababala, ne basanga ngʼabasajja kkumi na mwenda be baali bafudde, okwo nga tobaliddeeko Asakeri.

31Naye abasajja ba Dawudi baali basse Ababenyamini ebikumi bisatu mu nkaaga ku abo abaali ne Abuneeri.

32Ne batwala omulambo gwa Asakeri ne bamuziika ku biggya bya kitaawe e Besirekemu. Nʼoluvannyuma Yowaabu nʼabasajja be ne batambula ekiro kyonna, ne batuuka e Kebbulooni enkeera.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>