1
2Awo abantu ba Isirayiri bonna ne balekulira Dawudi ne bagoberera Seba mutabani wa Bikuli. Naye abantu ba Yuda bo ne basigala ne kabaka waabwe, okuva ku Yoludaani okutuuka e Yerusaalemi.
3Dawudi bwe yadda mu lubiri lwe e Yerusaalemi, nʼaddira abakyala be ekkumi be yali alese okulabirira olubiri nʼabasibira mu kkomera. Nʼabagabirira mu byokulya kwabwe, naye nʼatebaka nabo. Ne baggalirwa eyo okutuusa lwe baafa, nga bali nga bannamwandu.
4Awo kabaka nʼagamba Amasa nti, “Nkuŋŋaanyiza abasajja ba Yuda mu nnaku ssatu, naawe obeerewo.”
5Naye Amasa bwe yagenda okukola kyʼalagiddwa, nʼatwala ekiseera kiwanvu okusinga kabaka kye yali amuwadde.
6Dawudi nʼagamba Abisaayi nti, “Seba mutabani wa Bikuli alitukola akabi okusinga Abusaalomu bwe yakola. Noolwekyo twala abasajja ba mukama wo omugoberere aleme okuddukira mu bibuga ebiriko bbugwe, nʼatusimatuka.”
7Awo abasajja ba Yowaabu, nʼAbakeresi, nʼAbaperesi, nʼabaserikale abazira bonna, ne bava mu Yerusaalemi ne bagenda okunoonya Seba mutabani wa Bikuli nga baduumirwa Abisaayi.
8Bwe baatuuka ku lwazi olunene mu Gibyoni, Amasa nʼajja okubasisinkana. Yowaabu yali yeesibye ebyambalo bye ebyʼolutalo, ne mu kiwato nga yeesibye olukoba olwaliko ekitala ekyali mu kiraato kyakyo. Bwe yasituka, ne kisowoka mu kiraato kyakyo ne kigwa wansi.
9
10
11Omu ku basajja ba Yowaabu nʼayimirira okumpi nʼomulambo gwa Amasa nʼayogera nti, “Buli ayagala Yowaabu, era buli ali ku luuyi lwa Dawudi, agoberere Yowaabu.”
12Omulambo gwa Amasa ne gubeera mu musaayi gwe nga gukulukunyirizibwa omwo wakati mu luguudo. Ne wabaawo omusajja eyalaba nga buli eyatuukanga awali omulambo gwa Amasa ngʼayimirira; omusajja oyo nʼagusitula nʼaguggya mu luguudo nʼagutwala ebbali mu nsiko, nʼagusuulako olugoye.
13Awo omulambo gwa Amasa bwe gwaggyibwa mu kkubo abantu bonna ne beeyongerayo ne Yowaabu okugoberera Seba mutabani wa Bikuli.
14
15
16ne wavaayo omukazi owʼamagezi mu kibuga, nʼakoowoola ngʼayogera nti, “Muwulirize. Muwulirize! Mugambe Yowaabu ajje wano, mbeeko kye mmugamba.”
17Yowaabu nʼagenda okumpi ne we yali, omukazi nʼamubuuza nti, “Ggwe Yowaabu?”
18Nʼayongera nʼayogera nti, “Edda baayogeranga nti, ‘Bwʼoba ngʼolina kyʼobuuza genda mu Aberi,’ era ekyo kye kyʼamalanga ensonga.
19Ffe bantu abaagazi bʼemirembe era abeesigwa mu Isirayiri. Mwagala okuzikiriza ekibuga, nnyina wʼabaana mu Isirayiri. Lwaki oyagala okumira obusika bwa Mukama?”
20Yowaabu nʼaddamu nti, “Kikafuuwe, nze okumira ekibuga kino newaakubadde okukizikiriza.
21Si bwe kiri. Waliwo omusajja erinnya lye ye Seba, mutabani wa Bikuli, owʼomu nsi eyʼensozi eya Efulayimu, agolodde omukono gwe eri kabaka Dawudi. Bwe munaamuwaayo oyo omu yekka, nange nzija kulekayo okubalumba.”
22
23Yowaabu yali muduumizi wa ggye lya Isirayiri, ne Benaya mutabani wa Yekoyaada nga yʼakulira Abakeresi, nʼAbaperesi.
24
25
26ne Ira Omuyayiri nga ye kabona wa Dawudi.